Malaki 3
3
Omubaka wa Katonda
1“Laba, ntuma omubaka wange, naye alirongoosa ekkubo mu maaso gange, era Mukama gwe munoonya alijja mu Yeekaalu ye nga tebamanyiridde; n'omubaka we gwe musanyukira, laba, ajja,” bw'ayogera Mukama w'eggye#Is 40:3, Mat 11:10, Mak 1:2, Luk 1:76; 7:27 2Naye ani ayinza okugumiikiriza olunaku olw'okujja kwe? Era ani aliyimirira ye bw'alirabika? Kubanga aliŋŋaanga omuliro gw'oyo alongoosa effeeza, era nga sabbuuni ow'aboozi.#Is 4:4, Yo 2:11 3Alituula ng'oyo alongoosa effeeza n'agimalamu amasengere, era alirongoosa batabani ba Leevi, era alibasengejja ng'ezaabu n'effeeza; okutuusa lwe baliwaayo eri Mukama ebiweebwayo mu butuukirivu.#Is 1:25, Zek 13:9 4Awo ekiweebwayo ekya Yuda ne Yerusaalemi ne kiryoka kisanyusa Mukama nga mu nnaku ez'edda era nga mu myaka egyayitawo.#Ez 20:40 5“Era ndibasemberera okusala omusango; era ndiba mujulirwa mwangu eri abalogo, n'eri abenzi, n'eri abalayira eby'obulimba; n'eri abo abalyazaamaanya empeera y'omupakasi. Nnamwandu n'atalina kitaawe, n'abawonya era n'abo abagoba munnaggwanga obutamuwa bibye, so tebantya, bw'ayogera Mukama w'eggye.#Leev 19:13, Ma 24:17, Yer 29:23 6Kubanga nze Mukama sijjululuka; mmwe, batabani ba Yakobo, kyemuva mulema okumalibwawo.”#Zab 102:27, Kung 3:22
Okuwangayo ekitundu ekimu eky'ekkumi
7Okuva ku nnaku za bajjajjammwe, nga mukyuka n'emukyama okuva ku biragiro byange, so temubikwatanga. Mudde gye ndi, nange nadda gye muli, bw'ayogera Mukama w'eggye. Naye mwogera nti, “Tunadda tutya”#Zek 1:3, Bik 7:51 8Omuntu alinyaga Katonda? Naye mmwe munnyaga nze. Naye mwogera nti, “Twakunyaga tutya?” Mwannyagako ebitundu eby'ekkumi n'ebiweebwayo.#Nek 13:10 9Mukolimiddwa ekikolimo ekyo; kubanga munnyaga nze, eggwanga lino lyonna. 10Muleete ekitundu eky'ekkumi ekiramba mu ggwanika, ennyumba yange ebeeremu emmere, era munkeme nakyo, bw'ayogera Mukama w'eggye, mulabe oba nga siribaggulirawo ebituli eby'omu ggulu, ne mbafukira omukisa, ne wataba na bbanga we guligya.#Lub 7:11, Nge 3:9,10, 2 Kol 9:6-8 11Ndiziyiza ebiwuka obutazikiriza birime byammwe, so n'omuzabbibu gwammwe tegulikunkumula bibala byagwo mu nnimiro entuuko nga tezinnatuuka, bw'ayogera Mukama w'eggye. 12Era amawanga gonna galibayita ba mukisa, kubanga muliba ensi esanyusa, bw'ayogera Mukama w'eggye.#Is 62:4, Zef 3:19
Mukama asuubiza okuba ow'ekisa
13“Ebigambo byammwe byabanga biwaganyavu gyendi, bw'ayogera Mukama. Era mwayogera nti, ‘Twakwogerako tutya?’#Mal 2:17 14Mwayogera nti, ‘Okuweereza Katonda kwa bwereere, era kigasa ki okukwata ebyo bye yatukuutira, n'okutambula nga abakungubaga mu maaso ga Mukama w'eggye?#Yob 21:15, Zef 1:12 15Era kaakano ab'amalala be tuyita ab'omukisa; weewaawo, abo abakola obubi tebakoma ku kuba bulungi kwokka; naye bwe bakema Katonda bawonyezebwa.’ ”#Zab 95:9
Ebisuubizo eri eggwanga (3:16—4:6)
16Awo abo abatya Mukama ne boogeragana bokka na bokka; Mukama n'awuliriza, n'awulira bye boogera, ekitabo eky'okujjukiza ne kibawandiikirwa mu maaso ge abo abatya Mukama era ne balowooza erinnya lye.#Kuv 32:32, Ma 6:6,7 17“Era baliba bange, bw'ayogera Mukama w'eggye, ku lunaku lwe ndikolerako, baliba kintu kya nvuma; era ndibasonyiwa ng'omusajja bw'asonyiwa mutabani we amuweereza.#Kuv 19:5, Bik 17:31, 1 Peet 2:9 18Awo lwe mulidda ne mwawula omutuukirivu n'omubi, oyo aweereza Katonda n'oyo atamuweereza.”
Айни замон обунашуда:
Malaki 3: LBR
Лаҳзаҳои махсус
Паҳн кунед
Нусха
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: