Malaki 4
4
Olunaku lwa Mukama
1“Kubanga, laba, olunaku lujja, lwokya ng'ekikoomi; n'ab'amalala bonna, n'abo bonna abakola obubi, baliba bisasiro; awo olunaku olujja lulibookera ddala,” bw'ayogera Mukama w'eggye, obutabalekerawo kikolo newakubadde ettabi.#Is 47:14, Mal 3:2, Mat 3:12, 2 Bas 1:7,8 2Naye mmwe abatya erinnya lyange enjuba ey'obutuukirivu eribaviirayo ng'erina okuwonya mu biwaawaatiro byayo, kale mulifuluma ne muligita ng'ennyana ez'omu kisibo.#Zab 84:11, Is 53:5, Luk 1:78, Yok 8:12; 12:46 3Era mulirinnyirira ababi, kubanga baliba vvu wansi w'ebigere byammwe, ku lunaku lwe ndikolerako, bw'ayogera Mukama w'eggye.
Eriya alikulembera okujja kw'olunaku lwa Mukama
4Mujjukire amateeka ga Musa omuddu wange, amateeka n'ebiragiro ge nnamulagiririra ku Kolebu, olwa Isiraeri yenna.#Kuv 20:3-17, Ma 4:9,10 5“Laba, ndibatumira Eriya nnabbi olunaku olukulu olw'entiisa olwa Mukama nga terunnaba kutuuka.#Yo 2:31, Mal 3:1, Mat 11:14 6Era alikyusa omutima gwa bakitaabwe eri abaana, n'omutima gw'abaana eri bakitaabwe; nneme okujja ne nkuba ensi n'ekikolimo.”#Is 11:4, Luk 1:17
Айни замон обунашуда:
Malaki 4: LBR
Лаҳзаҳои махсус
Паҳн кунед
Нусха
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: