Malaki 2

2
1“Kale nno, mmwe bakabona, ekiragiro kino kyammwe.#Mal 1:6 2Bwe mutakkirize kuwulira era bwe mutakkirize kukissa ku mwoyo okuwa erinnya lyange ekitiibwa, bw'ayogera Mukama w'eggye, kale ndiweereza ku mmwe ekikolimo ekyo, era ndikolimira emikisa gyammwe; weewaawo, mmaze okugikolimira, kubanga temukissa ku mwoyo.#Leev 26:14, Ma 28:15, Mal 3:9 3Laba, ndinenya abaana bammwe, era ndisiiga obusa ku maaso gammwe, obusa obwa ssaddaaka zammwe; nammwe muliggibwawo wamu nabwo.#Kuv 29:14, Yo 1:17, Nak 3:6 4Awo mulimanya nga nze nnaweereza ekiragiro kino gye muli, endagaano yange ebeere ne Leevi, bw'ayogera Mukama w'eggye.#Kubal 3:45; 25:12,13, Nek 13:29 5Endagaano yange naye, yabanga ndagaano ey'obulamu n'emirembe; era nnabimuwa ebyo alyoke atye, n'antya n'atekemukira erinnya lyange.#Is 54:10 6Okuyigiriza okw'amazima kwabanga mu kamwa ke, so n'obutali butuukirivu tebwalabika mu mimwa gyabwe. Yatambulanga nange mu mirembe n'obugolokofu, n'akyusanga bangi okuleka obutali butuukirivu.#Dan 12:3, Yak 5:20 7Kubanga emimwa gya kabona gyandinywezezza okumanya, era abantu bandinoonyeza okuyigirizibwa okuva mu kamwa ke, kubanga ye mubaka wa Mukama w'eggye.#Leev 10:11, Ma 17:9, Kag 1:13 8Naye mmwe mukyuse mukyamye muvudde mu kkubo; mwesittazizza bangi olw'okuyigiriza kwammwe; mwonoonye endagaano ya Leevi, bw'ayogera Mukama w'eggye.#1 Sam 2:17, Ez 22:26 9Nange kyenvudde mbafuula abanyoomebwa, abataliimu ka buntu mu maaso g'abantu bonna, kubanga mufubye obutakwata makubo gange, naye ne mulaga obutali bwenkanya mu kuyigiriza kwammwe.”#Ma 1:17; 16:19, 1 Sam 2:30
Ebibi bya Isiraeri
(2:10—3:15)
Abantu abakuusa
10Fenna tetulina kitaffe omu? Si Katonda omu eyatutonda? Lwaki tetuli ba mazima buli muntu eri muganda we, nga twonoona endagaano, ya bajjajjaffe?#Ma 4:35,39, Is 33:1, 1 Kol 8:6, Bef 4:6 11Yuda si wa mazima, era bakola eky'omuzizo mu Isiraeri ne mu Yerusaalemi; kubanga Yuda ayonoonye obutukuvu bwa Mukama bw'ayagala, era awasizza omuwala wa katonda omunnaggwanga.#Ezer 9:2 12Mukama azikirize okuva mu weema ya Yakobo, omusajja akola bw'atyo, yenna awa obujulizi, oba addamu, oba awaayo ekiweebwayo eri Mukama w'eggye. 13Era na kino nakyo mukikola, mubikka ekyoto kya Mukama n'amaziga n'okukaaba n'okussa ebikkowe, kubanga n'okussaayo takyassaayo nate mwoyo eri ekiweebwayo, wadde okukkiriza mu mukono gwammwe kye mumuleetera ng'asiimye. 14Mwebuuza nti, “Lwaki?” Kubanga Mukama yabanga mujulirwa eri ggwe n'eri omukazi ow'omu buvubuka bwo, gwe wakuusakuusa, newakubadde nga ye munno era omukazi gwe walagaana naye endagaano. 15Era teyakola omu? Newakubadde nga yalina omwoyo ogwafikkawo? Era yakolera ki omu? Yali anoonya ezzadde eriritya Katonda. Kale mwekuumenga omwoyo gwammwe, so tewabangawo akuusakuusa omukazi ow'omu buvubuka bwe.#Lub 2:24 16“Kubanga nkyawa okugoba abakazi, bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri, n'oyo abikka ekyambalo kye n'ekyejo, bw'ayogera Mukama w'eggye. Kale mwekuumenga omwoyo gwammwe muleme okukuusakuusanga.”#Mak 10:9,11
Olunaku olw'okusalirako omusango luli kumpi
17Mwakooya Mukama n'ebigambo byammwe. Era naye mwogera nti, “Twamukooya tutya?” Kubanga mwogera nti, “Buli muntu akola obubi aba mulungi mu maaso ga Mukama, era abasanyukira;” oba nga mwebuuza nti, “Katonda omwenkanya ali ludda wa?”#Is 5:20; 43:24, Mal 3:1,15, 2 Peet 3:4

Айни замон обунашуда:

Malaki 2: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in