Yokaana 8

8
Yesu n'omukazi eyakwatibwa mu bwenzi
1Naye Yesu n'agenda ku lusozi olwa Zeyituuni.#Luk 21:37 2N'akeera mu makya n'ajja nate mu Yeekaalu, abantu bonna ne bajja gy'ali; n'atuula, n'abayigiriza. 3Abawandiisi n'Abafalisaayo ne baleeta omukazi gwe bakutte ng'ayenda; ne bamussa wakati, 4ne bamugamba nti, “Omuyigiriza, omukazi ono bamukutte ng'ayenda bamusisinkanirizza. 5Naye mu mateeka Musa yatulagira okubakubanga amayinja abakola bwe batyo. Kale ggwe oyogera otya ku ye?”#Leev 20:10, Ma 22:22-24 6Baayogera bati nga bamukema, babe n'ekigambo kye banaamuloopa. Naye Yesu n'akutama, n'awandiika n'engalo ku ttaka.#Mat 22:15 7Naye bwe baayongera okumubuuza, ne yeegolola n'abagamba nti, “Mu mmwe atayonoonangako, ye aba asooka okumukuba ejjinja.” 8N'akutama nate, n'awandiika n'engalo ku ttaka. 9Nabo bwe baawulira ekigambo ekyo ne bafuluma ebweru musoolesoole, abakadde be baasooka, okutuusa ku b'enkomerero; Yesu n'asigalawo yekka, n'omukazi we yali wakati.#Mat 22:22, Bar 2:22 10Yesu ne yeegolola, n'amugamba nti, “Omukyala, bazze wa? Tewali asaze kukusinga?” 11Naye n'agamba nti, “Mpaawo muntu, Mukama wange.” Yesu n'agamba nti, “Nange sisala kukusinga, genda; okuva leero toyonoonanga lwa kubiri.”#Yok 5:14
Yesu ye kitangaala ky'ensi
12Awo Yesu n'ayogera nabo nate, n'agamba nti, “Nze musana gw'ensi: angoberera taatambulirenga mu kizikiza, naye anaabanga n'omusana ogw'obulamu.”#Is 49:6, Yok 1:5,9; 12:46 13Awo Abafalisaayo ne bamugamba nti, “Ggwe weetegeeza wekka; okutegeeza kwo si kwa mazima.” 14Yesu n'addamu n'abagamba nti, “Newakubadde nga nneetegeeza nzekka, okutegeeza kwange kwa mazima; kubanga mmanyi gye nnava, ne gye ŋŋenda; naye mmwe temumanyi gye nva, newakubadde gye ŋŋenda.#Yok 5:31 15Mmwe musala omusango ng'omubiri bwe guli; nze sisalira muntu musango.#Yok 7:24; 12:47 16Naye newakubadde nga nze nsala omusango, okusala kwange kwa mazima; kubanga nze siri omu, naye nze ne Kitange eyantuma.#Yok 8:29 17Era naye ne mu mateeka gammwe kyawandiikibwa nti okutegeeza kw'abantu ababiri kwa mazima.#Ma 17:6; 19:15 18Nze nneetegeeza nzekka, ne Kitange eyantuma ategeeza ebyange.”#Yok 14:7 19Awo ne bamugamba nti, “Kitaawo ali ludda wa?” Yesu n'addamu nti, “Nze temummanyi, newakubadde Kitange. Singa mummanyi nze, ne Kitange mwandimumanye.” 20Ebigambo ebyo yabyogerera mu ggwanika, bwe yali ng'ayigiriza mu Yeekaalu; so tewaali eyamukwata, kubanga ekiseera kye kyali nga tekinnaba kutuuka.#Yok 7:30; 13:1, Luk 22:53
Temuyinza kujja nze gye ndaga
21Awo Yesu n'abagamba nate nti, “Nze ŋŋenda, nammwe mulinnoonya, mulifiira mu kibi kyammwe; nze gye ŋŋenda, mmwe temuyinza kujjayo.”#Yok 7:35 22Awo Abayudaaya ne bagamba nti, “Agenda kwetta, kubanga agamba nti, Nze gye ŋŋenda mmwe temuyinza kujjayo?”#Yok 7:35 23N'abagamba nti, “Mmwe muli ba ku nsi; nze ndi wa mu ggulu. Mmwe muli ba mu nsi muno; nze siri wa mu nsi muno.#Yok 3:31 24Kyennava mbagamba nti Mulifiira mu bibi byammwe. Kubanga bwe mutakkiriza nga nze wuuyo, mulifiira mu bibi byammwe.” 25Awo ne bamugamba nti, “Ggwe ani?” Yesu n'abagamba nti, “Nga bwe nnabagambanga okuva ku lubereberye.#Yok 8:14 26Nnina bingi eby'okuboogerako n'okubasalira omusango; naye oli eyantuma ye wa mazima; nange bye nnawulira gy'ali bye biibyo bye njogera eri ensi.”#Yok 8:38; 12:49 27Tebaategeera ng'abagambye ku Kitaffe. 28Awo Yesu n'agamba nti, “Bwe mulimala okuwanika Omwana w'omuntu ne mulyoka mutegeera nga nze wuuyo, so nze siriiko kye nkola ku bwange, naye nga Kitange bwe yanjigiriza, bwe njogera bwe ntyo.#Yok 3:14; 12:32 29N'oli eyantuma ali nange; Kitange tandekanga nzekka; kubanga nkola bulijjo by'asiima.”#Yok 8:16, Mat 27:46 30Bwe yayogera ebigambo ebyo, abantu bangi ne bamukkiriza.#Yok 7:31; 10:42; 12:11
Abaddu n'abatali baddu
31Awo Yesu n'agamba Abayudaaya bali abaamukkiriza nti, “Bwe munywerera mu kigambo kyange, nga muli bayigirizwa bange ddala; 32era mulitegeera amazima, n'amazima galibafuula ba ddembe.” 33Ne bamuddamu nti, “Ffe tuli zzadde lya Ibulayimu, so tetufugibwanga muntu yenna; oyogera otya ggwe nti, Mulifuuka ba ddembe?”#Mat 3:9, Nek 9:36 34Yesu n'abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti Buli muntu yenna akola ebibi, ye muddu w'ekibi.#Bar 6:16,20, 1 Yok 3:8 35Omuddu tabeerera mu nnyumba mirembe na mirembe: omwana abeerera emirembe n'emirembe.#Bag 4:30 36Kale Omwana bw'alibafuula ab'eddembe, muliba ba ddembe ddala.#Bar 6:18,22 37Mmanyi nti muli zzadde lya Ibulayimu: naye musala amagezi okunzita, kubanga ekigambo kyange tekyeyabya mu mmwe. 38Nze njogera bye nnalaba eri Kitange: kale nammwe mukola bye mwawulira eri kitammwe.” 39Ne baddamu ne bamugamba nti, “Ibulayimu ye kitaffe.” Yesu n'abagamba nti, “Singa mubadde baana ba Ibulayimu, mwandikoze ebikolwa bya Ibulayimu. 40Naye kaakano musala amagezi okunzita omuntu ababuulidde eby'amazima, bye nnawulira eri Katonda: Ibulayimu teyakola bw'atyo. 41Mmwe mukola emirimu gya kitammwe.” Ne bamugamba nti, “Ffe tetuli baana beebolereze; tulina Kitaffe omu, ye Katonda.” 42Yesu n'abagamba nti, “Singa Katonda ye Kitammwe, mwandinjagadde nze: kubanga nnava eri Katonda, ne njija, so sajja ku lwange nzekka, naye oyo ye yantuma. 43Kiki ekibalobedde okutegeera enjogera yange? Kubanga temuyinza kuwulira kigambo kyange. 44Mmwe muli bakitammwe Setaani, era mwagala okukola okwegomba kwa kitammwe. Oyo okuva ku lubereberye ye mussi, so teyanywerera mu mazima, kubanga amazima tegaali mu ye. Bw'ayogera obulimba, ayogera ekiva mu bibye; kubanga ye mulimba era kitaawe w'obulimba. 45Naye kubanga njogera amazima, temunzikiriza. 46Ani ku mmwe annumiriza ekibi? Bwe njogera amazima kiki ekibalobedde okunzikiriza? 47Owa Katonda awulira ebigambo bya Katonda: mmwe kyemuva mulema okuwulira, kubanga temuli ba Katonda.”
Yesu yaliwo nga Ibulayimu tanabawo
48Abayudaaya ne baddamu ne bamugamba nti, “Tetwogera bulungi ffe nti Ggwe oli Musamaliya, era oliko dayimooni?” 49Yesu n'addamu nti, “Siriiko dayimooni; naye nze nzisaamu ekitiibwa Kitange, nammwe temunzisaamu kitiibwa. 50Naye nze sinoonya kitiibwa kyange; w'ali anoonya era asala omusango.” 51Ddala ddala mbagamba nti Omuntu bw'akwata ekigambo kyange taliraba kufa emirembe n'emirembe 52Abayudaaya ne bamugamba nti, “Kaakano tutegedde ng'oliko dayimooni. Ibulayimu yafa ne bannabbi; naawe ogamba nti, Omuntu bw'akwata ekigambo kyange, talirega ku kufa emirembe n'emirembe. 53Ggwe mukulu okukira jjajjaffe Ibulayimu eyafa? Ne bannabbi baafa: weeyita ani?”#Yok 4:12 54Yesu n'addamu nti, “Bwe nneegulumiza nzekka, okugulumira kwange kuba kwa busa: angulumiza ye Kitange: mmwe gwe mwogerako nti ye Katonda wammwe: 55so temumutegeeranga, naye nze mmumanyi; bwe nnaagamba nti Simumanyi, nnaaba mulimba nga mmwe, era nkwata ekigambo kye.#Yok 7:28 56Ibulayimu jjajjammwe yasanyuka okulaba olunaku lwange; n'alulaba n'asanyuka.” 57Awo Abayudaaya ne bamugamba nti, “Tonnaba kuweza myaka ataano (50), naye Ibulayimu wamulaba?” 58Yesu n'abagamba nti, “ Ddala ddala mbagamba nti Ibulayimu nga tannaba kuzaalibwa, nze nga wendi.” 59Awo ne baddira amayinja okumukuba: naye Yesu ne yeekweka, n'afuluma mu Yeekaalu.#Yok 10:31

Айни замон обунашуда:

Yokaana 8: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy