Yokaana 21

21
Ebisembayo n'obuvunaanyizibwa bwa Peetero
(21:1-25)
Yesu alabikira abayigirizwa omusanvu
1Oluvannyuma lw'ebyo Yesu ne yeeraga nate mu bayigirizwa be ku nnyanja ey'e Tiberiya; yabeeraga bw'ati: 2Simooni Peetero, ne Tomasi ayitibwa Didumo, ne Nassanayiri ow'e Kaana eky'e Ggaliraaya, n'abaana ba Zebbedaayo, n'abayigirizwa ba Yesu abalala babiri bonna baali wamu. #Yok 1:45 3Simooni Peetero n'abagamba nti, “Ŋŋenda kuvuba.” Ne bamugamba nti, “Naffe tugenda naawe.” Ne bagenda, ne basaabala mu lyato; ekiro ekyo ne batakwasa kintu. 4Naye bwali bukya Yesu n'ayimirira ku ttale: naye abayigirizwa ne batamanya nga ye Yesu.#Yok 20:14, Luk 24:16 5Awo Yesu n'abagamba nti, “Abaana, mulina eky'okuliira?” Ne bamuddamu nti, “Tetulina.”#Luk 24:41 6N'abagamba nti, “Musuule obutimba ku luuyi olwa ddyo olw'eryato, munaakwasa.” Awo ne basuula, kale nga tebakyayinza kubuwalula olw'ebyennyanja ebingi.#Luk 5:4-7 7Awo omuyigirizwa oyo Yesu gwe yayagalanga n'agamba Peetero nti, “ Ye Mukama waffe.” Awo Simooni Peetero bwe yawulira nga ye Mukama waffe ne yeesiba olugoye (kubanga yali bwereere) ne yeesuula mu nnyanja.#Yok 13:23 8Naye abayigirizwa abalala ne bajjira mu lyato ettono (kubanga baali tebali wala n'ettale, naye emikono nga bikumi bibiri 200) nga bawalula obutimba obulimu ebyennyanja. 9Awo bwe baavaamu ne batuuka ku ttale, ne balaba omuliro ogw'amanda nga guli awo n'ebyennyanja nga biteekeddwako, n'omugaati. 10Yesu n'abagamba nti, “Muleete ku byennyanja bye mukwasizza kaakano.” 11Awo Simooni Peetero n'asaabala, n'awalulira obutimba ku ttale, nga bujjudde ebyennyanja ebinene, kikumi mu ataano mu bisatu (153) naye newakubadde nga byali bingi bwe bityo, obutimba tebwakutuka. 12Yesu n'abagamba nti, “Mujje mulye ekyenkya.” So mu bayigirizwa ne mutaba muntu eyayaŋŋanga okumubuuza nti, “Ggwe ani,” kubanga baamanya nti ye Mukama waffe. 13Yesu n'ajja, n'addira omugaati, n'abawa, n'ebyennyanja bw'atyo.#Yok 6:11 14Guno gwe mulundi ogwokusatu Yesu gwe yalabikira abayigirizwa be, ng'amaze okuzuukira mu bafu. #Yok 20:19,26
Yesu awa Peetero obuvunaanyizibwa
15Awo bwe baamala okulya, Yesu n'agamba Simooni Peetero nti, “Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala okukira bano?” N'amugamba nti, “Weewaawo, Mukama wange; ggwe omanyi nga nkwagala.” N'amugamba nti, “Liisanga abaana b'endiga bange.”#Yok 1:42 16N'amugamba nate omulundi ogwokubiri nti, “Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala?” N'amugamba nti, “Weewaawo, Mukama wange; ggwe omanyi nga nkwagala.” N'amugamba nti, “Lundanga endiga zange.”#1 Peet 5:2,4 17N'amugamba omulundi ogwokusatu nti, “Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala?” Peetero n'anakuwala kubanga amugambye omulundi ogwokusatu nti, “Onjagala?” N'amugamba nti, “Mukama wange ggwe omanyi byonna; ggwe otegeera nga nkwagala.” Yesu n'amugamba nti, “Liisanga endiga zange.#Yok 13:38; 16:30 18Ddala ddala nkugamba nti Bwe wali omuvubuka, weesibanga n'ogenda gy'oyagala yonna: naye bw'olikaddiwa, oligolola emikono gyo, omulala alikusiba, alikutwala gy'otoyagala.”#Mat 16:22; 26:39 19Yayogera bw'atyo, ng'alaga okufa kw'alifa okugulumiza Katonda. Bwe yamala okwogera bw'atyo, n'amugamba nti, “Ngoberera.”#Yok 13:36 20Peetero bwe yakyuka, n'alaba omuyigirizwa Yesu gwe yayagalanga ng'agoberera; era oyo ye yagalamira mu kifuba kye ku mmere ey'ekyeggulo, n'agamba nti, “Mukama wange, ani anaakulyamu olukwe?”#Yok 13:23 21Awo Peetero bwe yalaba oyo n'agamba Yesu nti, “Mukama wange, ate ono aliba ki?” 22Yesu n'amugamba nti, “Bwe njagala abeerewo okutuusa we ndijjira, ofaayo ki? Ggwe goberera nze.” 23Awo ekigambo ekyo ne kibuna mu b'oluganda nti omuyigirizwa oyo talifa: so nga Yesu teyamugamba nga talifa; naye nti, “Bwe njagala abeerewo okutuusa we ndijjira, ofaayo ki?”
24Oyo ye muyigirizwa eyategeeza bino, n'awandiika bino; naffe tumanyi ng'okutegeeza kwe kwa mazima.#Yok 15:27
Ebifundikira
25Nate waliwo ebirala bingi Yesu bye yakola, nabyo bwe biwandiikibwa kinnakimu ndowooza nti n'ensi zonna tezandigiddemu bitabo ebyandiwandiikiddwa.#Yok 20:30

Айни замон обунашуда:

Yokaana 21: LBR

Лаҳзаҳои махсус

Паҳн кунед

Нусха

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in