Awo bwe baamala okulya, Yesu n'agamba Simooni Peetero nti, “Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala okukira bano?” N'amugamba nti, “Weewaawo, Mukama wange; ggwe omanyi nga nkwagala.” N'amugamba nti, “Liisanga abaana b'endiga bange.” N'amugamba nate omulundi ogwokubiri nti, “Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala?” N'amugamba nti, “Weewaawo, Mukama wange; ggwe omanyi nga nkwagala.” N'amugamba nti, “Lundanga endiga zange.” N'amugamba omulundi ogwokusatu nti, “Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala?” Peetero n'anakuwala kubanga amugambye omulundi ogwokusatu nti, “Onjagala?” N'amugamba nti, “Mukama wange ggwe omanyi byonna; ggwe otegeera nga nkwagala.” Yesu n'amugamba nti, “Liisanga endiga zange.