Skip to content

Abaefeso 4

4
Obumu bw'Omubiri gwa Kristo
(4:1-16)
1Kyenva mbeegayirira nze omusibe mu Mukama waffe okutambulanga nga bwe kusaanira okuyitibwa kwe mwayitibwa,#Bak 1:10 2n'obukkakkamu bwonna n'obuwombeefu, n'okugumiikiriza, nga muzibiikirizagananga mu kwagalana,#Bak 3:12 3nga munyiikiranga okwekuuma obumu bw'Omwoyo mu kusibibwa n'emirembe.#Bak 3:14,15 4Omubiri guli gumu, n'Omwoyo omu, era nga nammwe bwe mwayitibwa mu kusuubira okumu okw'okuyitibwa kwammwe;#Bar 12:5 5Mukama waffe omu, okukkiriza kumu, okubatiza kumu,#Yok 10:16, 1 Kol 8:6 6Katonda omu, Kitaawe wa bonna, afuga byonna, ayita mu byonna, era ali mu byonna.#1 Kol 12:6 7Naye buli muntu mu ffe yaweebwa ekisa ng'ekigera ky'ekirabo kya Kristo bwe kiri.#Bar 12:3,6, 1 Kol 12:11 8Kyava ayogera nti,
“Bwe yalinnya waggulu, n'anyaga okunyaga,
N'awa abantu ebirabo.”#Zab 68:18, Bak 2:15
9(Naye ekigambo ekyo nti, “Yalinnya,” kitegeeza ki wabula okugamba nti era yakka mu njuyi eza wansi ez'ensi?#Yok 3:13 10Eyakka era ye wuuyo eyalinnya waggulu ennyo okusinga eggulu lyonna, alyoke ajjuze byonna). 11Era oyo n'awa abalala okubeera abatume, n'abalala bannabbi, n'abalala ababuulizi, n'abalala abalunda n'abayigiriza.#1 Kol 12:28, Bik 21:8 12Olw'okuteekateeka abatukuvu, olw'omulimu ogw'okuweereza, n'olw'okuzimba omubiri gwa Kristo, #1 Peet 2:5, 2 Tim 3:17 13okutuusa lwe tulituuka fenna mu bumu obw'okukkiriza, n'obw'okutegeera Omwana wa Katonda, lwe tulituuka okuba omuntu omukulu okutuuka mu kigera eky'obukulu obw'okutuukirira kwa Kristo.#Bak 1:28 14Tulemenga okubeera nate abaana abato, nga tuyuugana nga tutwalibwanga buli mpewo ey'okuyigiriza, mu bukuusa bw'abantu, mu nkwe, olw'okugoberera okuteesa okw'obulimba.#1 Kol 14:20, Beb 13:9 15Naye, bwe twogeranga amazima mu kwagalana, tulyoke tukule okutuuka mu ye mu byonna, gwe mutwe, Kristo.#Bef 1:22; 5:23, Bak 1:18 16Mu oyo omubiri gwonna bwe gugattibwa obulungi ne gunywezebwa awamu buli nnyingo ng'ereeta ebyayo, ng'okukola mu kigera okwa buli kitundu bwe kuli, omubiri gweyongera okukula olw'okwezimba mu kwagalana.#Bak 2:19
Abakkiriza obutadda mu bibi
(4:17-24)
17Kyenva njogera kino ne ntegeeza mu Mukama waffe, mmwe mulemenga okutambula nate, era ng'ab'amawanga bwe batambula mu birowoozo byabwe ebitaliimu,#Bar 1:21, Bak 2:4,6 18nga balina ekizikiza mu magezi gaabwe, nga baabooleddwa okuva mu bulamu bwa Katonda olw'obutategeera obuli mu bo, obuleetebwa okukakanyala okw'omutima gwabwe.#Bef 2:12, Bak 1:21, 1 Peet 1:14 19Baafuuka bakakanyanyavu, ne beewaayo mu bwenzi, okukolanga eby'obugwagwa bwonna mu kwegomba.#Bak 3:5 20Naye mmwe temwayiga bwe mutyo Kristo; 21nsuubira nga mwamuwulira, ne muyigirizibwa mu ye ng'amazima bwe gali mu Yesu. 22Mweggyeko omuntu ow'edda agoberera embeera z'obulamu bwammwe ez'edda, eyayonooneka olw'okwegomba okw'obulimba; #Bar 8:13, Bak 3:9, Bag 6:8 23era muzzibwe abaggya mu mwoyo ogw'ebirowoozo byammwe.#Bar 12:2 24Mwambale omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu butukuvu obw'amazima.#Lub 1:26
Obulamu obw'obutuukirivu
(4:25-32)
25Kale mwambule obulimba, mwogerenga amazima buli muntu ne munne, kubanga tuli bitundu bya bannaffe fekka na fekka.#Zek 8:16, Bak 3:8 26Musunguwalenga so temwonoonanga, enjuba eremenga okugwa nga mukyalina obusungu, #Zab 4:4, Yak 1:19,20 27so temuwanga bbanga Setaani. 28Eyabbanga alemenga okubba nate, naye waakiri afubenga, ng'akola ebirungi n'emikono gye, alyoke abeerenga n'eky'okumuwa eyeetaaga.#1 Bas 4:11 29Buli kigambo ekivundu kireme okuvanga mu kamwa kammwe, naye ekirungi bwe kinaabangawo olw'okuzimba nga omuntu bwe yeetaaga, abawulira kibawenga ekisa.#Bef 5:4, Bak 3:16,17; 4:6 30So temunakuwazanga Mwoyo Mutukuvu owa Katonda, eyabateesaako akabonero okutuusa olunaku olw'okununulibwa.#Bef 1:13, Is 63:10 31Okukaawa kwonna n'obusungu n'obukambwe n'okukaayana n'okuvuma bibavengako, awamu n'ettima lyonna,#Bak 3:8 32era mubeerenga n'obulungi mwekka na mwekka, abakwatibwa ekisa, nga musonyiwagananga, era nga Katonda bwe yabasonyiwa mu Kristo.#Mat 6:14; 18:22-35, Bak 3:12,13