Abaefeso 3
3
Pawulo yabikkulirwa ekyama ky'Enjiri eri ab'amawanga
(3:1-13)
1Olw'ensonga eno, nze Pawulo, omusibe wa Yesu Kristo ku lwammwe ab'amawanga,#Baf 1:7,13, Bak 1:24 2nsuubira nga mwawulira obuwanika obw'ekisa kya Katonda kye nnaweebwa ku lwa mmwe, #Bak 1:25 3n'engeri ekyama ekyo gye kyantegeezebwamu mu kubikkulirwa, nga bwe n'awandiika edda mu bigambo ebitono.#Bef 1:9,10, Bak 1:26 4Bwe munaasoma bino munaamanya okutegeera kwange okw'ekyama kya Kristo. 5Ekyo ekitaategeezebwa baana b'abantu, mu mirembe egy'edda nga kaakano bwe kibikkuliddwa abatume be abatukuvu ne bannabbi mu Mwoyo. 6Eno y'engeri ab'amawanga gye babeera, abasikira awamu, era ab'omubiri ogumu, era abassa ekimu mu byasuubizibwa mu Kristo Yesu olw'Enjiri. #Bef 2:13,18,19 7Olw'Enjiri eno, nnafuulibwa omuweereza waayo, ng'ekirabo eky'ekisa kya Katonda bwe kiri kye nnaweebwa ng'okukola kw'amaanyi ge bwe kuli.#Bak 1:25,29 8Nze, omuto okusinga abato ab'omu batukuvu bonna, nnaweebwa ekisa kino, okubuuliranga ab'amawanga obugagga bwa Kristo obutanoonyezeka;#1 Kol 15:9,10, Bef 1:7, Bag 1:16 9n'okumulisizanga bonna balabe entegeka ye kyama kino bwe kiri, ekyakwekebwa okuva edda n'edda lyonna mu Katonda eyatonda byonna.#Bar 16:25, Bak 1:26,27 10Kaakano ng'ayita mu kkanisa, Katonda ayagala amanyise amagezi ge amangi, eri abaamasaza n'ab'obuyinza mu bifo eby'omu ggulu. #1 Peet 1:12, Bar 11:33, Bak 1:26 11Ekyo yakitegeka okuva edda nedda, n'akituukiririza mu Kristo Yesu Mukama waffe.#Bef 1:11 12Mu ye mwe tuggya obuvumu, n'obugumu okumusemberera olw'okumukkiriza. #Yok 14:6, Beb 4:16, Bar 5:2 13Kyenva nsaba mmwe mulemenga okuddirira olw'ebibonoobono byange ku lwammwe, ebyo kye kitiibwa kyammwe.#Bak 1:24
Okusaba kwa Pawulo
(3:14-21)
14Kyenva nfukaamirira Kitaffe,#1 Kol 14:20, Beb 13:9 15buli kika eky'omu ggulu n'eky'oku nsi kwe kiggya erinnya,#Bef 1:22; 5:23, Bak 1:18 16abawe mmwe, ng'obugagga bw'ekitiibwa kye bwe buli, okunywezebwa n'amaanyi mu Mwoyo gwe mu muntu ow'omunda.#Bef 1:7; 6:10, Bak 1:11 17Kristo atuulenga mu mitima gyammwe olw'okukkiriza; mubeerenga n'emmizi, munywezebwenga mu kwagala,#Yok 14:23, Bak 1:23; 2:7 18mulyoke muweebwe amaanyi okukwatanga n'amagezi awamu n'abatukuvu bonna obugazi n'obuwanvu n'obugulumivu n'okugenda wansi bwe biri,#Bak 2:2 19n'okutegeera okwagala kwa Kristo okusinga okutegeerwa, mulyoke mujjulire ddala n'okutuukirira kwonna okwa Katonda. #Bak 2:3
20Kale oyo ayinza okukola ennyo okusingira ddala byonna bye tusaba oba bye tulowooza, ng'amaanyi bwe gali agakolera mu ffe, #Bak 1:29 21aweebwenga ekitiibwa mu kkanisa ne mu Kristo Yesu okutuusa emirembe n'emirembe egitaggwaawo. Amiina.
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.