Skip to content

2 Samwiri 9

9
Dawudi ne Mefibosesi
1Dawudi n'abuuza nti, “Wakyaliwo omuntu asigaddewo ku b'omu nnyumba ya Sawulo, mmukolere eby'ekisa ku lwa Yonasaani?”#1 Sam 18:3; 20:14,15,42 2Awo waaliwo ku nnyumba ya Sawulo omuddu erinnya lye Ziba, ne bamuyita okugenda eri Dawudi; kabaka n'abuuza nti, “Ggwe Ziba?” N'addamu nti, “ Omuddu wo ye wuuyo.”#2 Sam 16:1-4; 19:17,29 3Kabaka n'amubuuza nti, “Tewakyali wa nnyumba ya Sawulo mmukolere eby'ekisa kya Katonda?” Ziba n'addamu kabaka nti, “ Wakyaliwo omwana wa Yonasaani, eyalemala ebigere.”#2 Sam 4:4 4Kabaka n'amubuuza nti, “ Ali ludda wa?” Ziba n'agamba kabaka nti, “Laba, ali mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeri mu Lodebali.” 5Awo kabaka Dawudi n'atumya Mefibosesi ne bamuggya mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeri mu Lodebali. 6Awo Mefibosesi mutabani wa Yonasaani muzzukulu wa Sawulo n'ajja eri Dawudi n'avuunama amaaso ge ne yeeyanza. Dawudi n'amuyita nti, “Mefibosesi,” n'addamu nti, “Nze nzuuno omuddu wo.”#2 Sam 16:4; 19:24,25,30; 21:7 7Dawudi n'amugamba nti, “Totya; kubanga nja kukolera eby'ekisa ku lwa Yonasaani kitaawo, era ndikuddiza ebyalo byonna ebya Sawulo jjajjaawo; era onoolyanga emmere ku mmeeza yange ennaku zonna.”#2 Sam 9:1; 19:28; 21:7, 1 Bassek 2:7 8Ne yeeyanza n'ayogera nti, “Omuddu wo nze ani ggwe okundowozaako kubanga ninga embwa enfu.” 9Awo kabaka n'ayita Ziba, omuddu wa Sawulo, n'amugamba nti, “Byonna ebyabanga ebya Sawulo n'eby'ennyumba ye yonna mbiwadde omwana wa mukama wo. 10Naawe onoomulimiranga emmere, ggwe ne batabani bo n'abaddu bo; era onooyingizanga ebibala omwana wa mukama wo abenga ne by'anaalyanga; naye Mefibosesi omwana wa mukama wo anaalyanga emmere ennaku zonna ku mmeeza yange.” Era Ziba yalina abaana kkumi na bataano (15) n'abaddu abiri (20).#2 Sam 19:17,28 11Awo Ziba n'agamba kabaka nti, “Mukama wange kabaka nga bw'alagidde omuddu we, bw'atyo omuddu wo bw'anaakolanga.” Bw'atyo Mefibosesi naaliranga ku mmeeza ya kabaka ng'omu ku baana ba kabaka. 12Era Mefibosesi yalina omwana omuto omulenzi, erinnya lye Mikka. Ne bonna abaabeera mu nnyumba ya Ziba baali baddu ba Mefibosesi.#1 Byom 8:34 13Awo Mefibosesi n'abeera mu Yerusaalemi; kubanga bulijjo yaaliranga ku mmeeza; era yalemala ebigere bye byombi.#2 Sam 4:4