Skip to content

2 Samwiri 10

10
Dawudi awangula Abamoni n'Abasuuli
1Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo kabaka w'abaana ba Amoni n'afa, Kanuni mutabani we n'afuga mu kifo kye.#1 Byom 19:1-19 2Dawudi n'ayogera nti, “N'akola Kanuni mutabani wa Nakasi eby'ekisa, nga kitaawe bwe yankolera nange eby'ekisa.” Awo Dawudi n'atuma abaddu be okumukubagiza olwa kitaawe. Abaddu ba Dawudi ne batuuka mu nsi ey'abaana ba Amoni. 3Naye abakulu b'abaana ba Amoni ne bagamba Kanuni mukama waabwe nti, “Olowooza nga Dawudi amussaamu ekitiibwa kitaawo n'akutumira ab'okukukubagiza? Dawudi takutumidde baddu be okukebera ekibuga n'okukiketta n'okukimenya?”#2 Sam 3:25 4Awo Kanuni n'atwala abaddu ba Dawudi n'abamwako ekitundu ky'ebirevu byabwe n'abasalira ebyambalo byabwe wakati, okukoma ku makugunyu gaabwe, n'alyoka abasindika baddeyo. 5Dawudi ekyo bwe baakimubuulira, n'abatumira abantu okubasisinkana, kubanga abasajja abo baali bakwatiddwa nnyo ensonyi okudda ewaabwe. Kabaka n'agamba nti, “Musigale e Yeriko okutuusa ebirevu byammwe nga bimaze okukula, mulyoke mukomewo.” 6Awo abaana ba Amoni bwe baalaba nga beebeekyayisizza Dawudi; ne batuma ne bapangisa Abasuuli ab'e Besulekobu, n'Abasuuli ab'e Zoba, abaatambula n'ebigere emitwalo ebiri (20,000), ne kabaka w'e Maaka ng'alina abasajja lukumi (1,000), n'abasajja ab'e Tobu omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000).#Yos 13:11,13, Balam 1:3; 18:28, 2 Sam 8:3 7Awo Dawudi bwe yakiwulira, n'atuma Yowaabu n'eggye lyonna ery'abasajja ab'amaanyi.#2 Sam 23:8 8Awo abaana ba Amoni ne bafuluma ne basimba ennyiriri awayingirirwa mu mulyango; n'Abasuuli ab'e Zoba n'ab'e Lekobu n'abasajja ab'e Tobu ne Maaka baali bokka ku ttale. 9Awo Yowaabu bwe yalaba olutalo nga luli mu maaso ge n'emabega we, n'ayawulamu abasajja bonna aba Isiraeri abalonde n'abasimba ennyiriri okwolekera Abasuuli; 10abantu bonna abalala n'abakwasa mu mukono gwa Abisaayi muganda we, n'abasimba ennyiriri okwolekera abaana ba Amoni. 11N'ayogera nti, “Abasuuli bwe banannema, ggwe on'ombeera; naawe abaana ba Amoni bwe banaakulema, nange najja ne nkuyamba. 12Kale ddamu amaanyi twerage masajja olw'abantu baffe n'olw'ebibuga bya Katonda waffe; era Mukama akole nga bw'asiima.”#1 Sam 3:18, 1 Kol 16:13 13Awo Yowaabu n'abantu abaali naye ne basembera ku lutalo okulwana n'Abasuuli; ne badduka mu maaso ge. 14Awo abaana ba Amoni bwe baalaba Abasuuli nga badduse, era nabo ne badduka mu maaso ga Abisaayi, ne bayingira mu kibuga. Awo Yowaabu n'alyoka ava ku baana ba Amoni n'addayo e Yerusaalemi. 15Awo Abasuuli bwe baalaba nga bagobeddwa mu maaso ga Isiraeri, ne bakuŋŋaana. 16Awo Kadadezeri n'atuma n'aggyayo Abasuuli abaali emitala w'Omugga; ne bajja e Keramu, Sobaki omukulu w'eggye lya Kadadezeri ng'abakulembedde. 17Ne babuulira Dawudi; n'akuŋŋaanya Isiraeri yenna, n'asomoka Yoludaani n'ajja e Keramu. Abasuuli ne basimba ennyiriri okwolekera Dawudi ne balwana naye. 18Abasuuli ne badduka mu maaso ga Isiraeri; Dawudi n'atta ku Basuuli abasajja ab'omu magaali lusanvu (700), n'abeebagala embalaasi emitwalo ena (40,000), n'afumita Sobaki omukulu w'eggye lyabwe n'afiira eyo. 19Awo bakabaka bonna abaali abaddu ba Kadadezeri bwe baalaba nga bagobeddwa mu maaso ga Isiraeri, ne batabagana ne Isiraeri, ne babaweereza. Awo Abasuuli ne batya okweyongera nate okuyamba abaana ba Amoni.