Skip to content

2 Samwiri 23

23
Ebigambo bya Dawudi eby'enkomerero
1Era bino bye bigambo bya Dawudi eby'enkomerero. Dawudi mutabani wa Yese ayogera,
Omusajja eyagulumizibwa ennyo,
Katonda wa Yakobo gwe yafukako amafuta,
Era eyayiya zabbuli za Isiraeri ezisanyusa;#1 Sam 16:12,13, 2 Sam 7:8,9, 1 Bassek 2:1-9, Zab 78:70,71; 89:19,20
2Omwoyo gwa Mukama gwogerera mu nze,
Ekigambo kye kiri ku lulimi lwange.#Mak 12:36, 2 Peet 1:21
3Katonda wa Isiraeri yayogera,
Lwazi lwa Isiraeri yaŋŋamba;
Omuntu afuga abantu n'obutuukirivu,
Afuga ng'atya Katonda,#Lub 20:11, 2 Sam 22:2,3, 2 Byom 19:7,9
4Ali ng'akasana k'oku makya,
ak'enjuba ng'evaayo,
Akaaka ku ggulu okutali bire;
ne katangalijja ku muddo,
enkuba ng'ekedde.#Balam 5:31, Zab 72:6, Nge 4:18, Kos 6:5
5Mazima ennyumba yange bw'eri bw'etyo eri Katonda;
Kubanga yalagaana nange endagaano ey'olubeerera,
Eteredde mu byonna era ey'enkalakkalira;
Kubanga bwe bulokozi bwange bwonna era bye nneegomba byonna,
ajja kubituukiriza.#2 Sam 7:15,16, Zab 89:29, Is 55:3
6Naye abatatya Katonda bonna baliba ng'amaggwa agasindikirizibwa,
Kubanga tegayinza kukwatibwa na ngalo;
7Naye omuntu agakwasaako,
kyuma na lunyago lwa ffumu;
ne gokerwa awo, obutasigalawo na limu.
Abalwanyi ba Dawudi abaatiikirivu
(1 Byom 11:10-41)
8Gano ge mannya g'abasajja ba Dawudi abalwanyi abaatiikirivu be yalina! asooka ye Yosebubasu-sebesi Omutakemoni, omukulu w'Abasatu. Era yali ayitibwa Adino Omwezeni, kubanga yalwana n'abasajja lunaana (800) be yatta omulundi gumu.#1 Byom 11:11-47, 1 Byom 27:2 9Ow'okubiri ku basatu (3) abo ab'amaanyi ye Ereazaali, mutabani wa Dodayi, Dodayi mutabani wa Akoki. Yali ne Dawudi bwe baasoomooza Abafirisuuti abaali bakuŋŋaanidde eyo okulwana, Abaisiraeri bonna ne badduka.#1 Byom 27:4 10Naye ye n'asituka n'atta Abafirisuuti, okutuusa omukono gwe lwe gwakoowa era ne gusannyalalira ku kitala. Mukama n'awa obuwanguzi obw'amaanyi ku lunaku olwo. Abaisiraeri ne bakomawo awali Ereazaali, lwa kunyaga obunyazi.#1 Sam 11:13; 19:5 11Amuddirira ye Samma mutabani wa Agee Omukalali. Awo Abafirisuuti baali bakuŋŋaanidde e Lehi awali omusiri ogujjude ebijanjaalo, Abaisiraeri ne badduka Abafirisuuti abo. 12Naye ye n'ayimirira wakati mu musiri n'agukuuma n'atta Abafirisuuti; Mukama n'aleeta okuwangula okunene. 13Awo abasatu ku bakulu asatu (30) ne baserengeta ne bajja eri Dawudi mu mpuku y'e Adulamu, mu kiseera eky'amakungula ng'ekibinja ky'Abafirisuuti kisiisidde mu kiwonvu ky'e Lefayimu.#1 Sam 22:1, 2 Sam 5:18 14Era Dawudi yali mu mpuku mu biro ebyo n'Abafirisuuti ab'omu kigo baali mu Besirekemu.#1 Sam 22:4,5 15Awo Dawudi n'ayagala okunywa ku mazzi, n'agamba nti, “Kale singa wabaddewo andeetera ku mazzi ag'okunya agava mu luzzi olw'e Besirekemu, oluli ku wankaaki!” 16Abasajja abo abasatu ab'amaanyi ne bawaguza mu ggye ly'Abafirisuuti ne basena amazzi mu luzzi olw'e Besirekemu, olwali ku wankaaki, ne bagatwalira Dawudi; naye Dawudi n'agaana okuganywako, naye n'agayiwa ku ttaka okuba ekiweebwayo eri Mukama. 17N'agamba nti, “Kikafuuwe, ayi Mukama, nze okunywa amazzi gano, kubanga kiri ng'okunywa omusaayi gw'abasajja bano abawaddeyo obulamu bwabwe okugakima!” Kyeyava agaana okuganywako. Ebyo abasajja abasatu (3) ab'amaanyi bye baakola.#Leev 17:14 18Ne Abisaayi muganda wa Yowaabu, era mutabani wa Zeruyiya ye yali omukulu w'abasajja asatu (30) ab'amaanyi. Y'agalula effumu lye okulwana n'abasajja bisatu (300) n'abafumita n'abatta, n'aba n'erinnya mu asatu (30). 19Bw'atyo n'aba nga ye asinga ekitiibwa mu bo, era n'afuuka omukulembeze waabwe, wabula n'ataba mututumufu nga bali abasatu (3). 20Ne Benaya mutabani wa Yekoyaada omwana w'omusajja omuzira ow'e Kabuzeeri, eyakola eby'amaanyi, n'atta batabani ba Aliyeri owa Mowaabu bombi; era lumu mu biseera eby'omuzira yekka mu bunnya n'atta empologoma;#2 Sam 8:18; 20:23, 1 Byom 27:5 21era yatta Omumisiri, omusajja omulungi. Omumisiri yali akutte effumu mu mukono gwe; Benaya nga alina omuggo n'aserengeta eri Omumisiri, n'asika effumu n'aliggya mu mukono gw'Omumisiri n'amutta. 22Ebyo Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola n'aba n'erinnya mu basatu abo ab'amaanyi. 23Yasinga ekitiibwa abo asatu (30) naye teyatuuka ku basatu abo ab'olubereberye. Dawudi n'amufuula omukulu w'abakuumi.
24Abalala ku basajja asatu (30) be bano: Asakeri muganda wa Yowaabu; Erukanani mutabani wa Dodo Omubesirekemu;#2 Sam 2:18, 1 Byom 27:7 25Samma Omukalodi; Erika Omukalodi;#1 Byom 27:8 26Kerezi Omupaluti, Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa;#1 Byom 27:9,10 27Abiyezeeri Omwanasosi, Mebunnayi Omukussai;#1 Byom 27:11,12 28Zalumoni Omwakowa, Makalayi Omunetofa;#1 Byom 27:13 29Kerebu mutabani wa Baana Omunetofa, Ittayi mutabani wa Libayi ow'e Gibeya eky'abaana ba Benyamini;#1 Byom 27:15 30Benaya Omupirasoni, Kiddayi ow'oku bugga obw'e Geyaasi;#Balam 12:13,15, 1 Byom 27:14 31Abi-aluboni Omwalubasi, Azumavesi Omubalukumi; 32Eriyaba Omusaaluboni, batabani ba Yaseni, Yonasaani; 33Samma Omukalali, Akiyamu mutabani wa Salali Omwalali; 34Erifereti mutabani wa Akasubayi omwana w'omu Maakasi, Eriyamu mutabani wa Akisoferi Omugiro;#2 Sam 11:3; 15:12 35Kezulo Omukalumeeri, Paalayi Omwalubi; 36Igali mutabani wa Nasani ow'e Zoba, Bani Omugaadi;#2 Sam 8:3 37Zereki Omwamoni, Nakalayi Omubeerosi, abaasitulanga eby'okulwanyisa bya Yowaabu mutabani wa Zeruyiya; 38Ira Omuyisuli, Galebu Omuyisuli; 39ne Uliya Omukiiti; bonna awamu baali asatu mu musanvu (37).#2 Sam 11:3,6