2 Samwiri 22
22
Oluyimba lwa Dawudi olw'obuwanguzi
(Zab 18)
1Awo Dawudi n'ayimbira Mukama oluyimba luno, ku lunaku Mukama kwe yamuwonyeza mu mukono gw'abalabe be bonna ne mu gwa Sawulo; nga agamba nti,#Kuv 15:1, 1 Byom 16:7 2Mukama lwe lwazi lwange era ekigo kyange; era omulokozi wange, owange nze;#Ma 32:4, Zab 28:8; 31:3; 71:3; 91:2; 144:2
3Katonda olwazi lwange, oyo gwe nneesiganga;
Engabo yange, era amaanyi ag'obulokozi bwange, ekigo kyange ekiwanvu, era ekiddukiro kyange;
Omulokozi wange, ggwe omponya obukambwe.#Lub 15:1, 1 Sam 2:1, 2 Sam 22:31,32,47, Zab 9:9; 46:7,11; 59:16; 62:2, Yer 16:19, Luk 1:69, Beb 2:13
4Naakaabiranga Mukama,
asaanidde okutenderezebwa,
Bwe ntyo bwe nnaalokokanga eri abalabe bange.#Zab 48:1; 96:4
5Kubanga amayengo ag'okufa ganzingiza,
N'entiisa ey'okuzikirira nenkwata.#Zab 42:7, Yon 2:3
6Emiguwa egy'emagombe gyansiba,
Okulumwa okw'okufa kwankwata.#Zab 116:3
7Bwe nnalaba ennaku ne nkaabira Mukama,
Weewaawo, n'akaabira Katonda wange.
N'awulira eddoboozi lyange ng'ayima mu Yeekaalu ye,
Okukaaba kwange ne kutuuka mu matu ge.#Zab 116:4; 120:1, Yon 2:2
8Ensi yayuuguuma n'ekankana.
Emisingi gy'eggulu ne ginyeenyezebwa
Ne gikankanyizibwa, kubanga asunguwadde.#Balam 5:4, Zab 77:18; 97:4
9Omukka ne gunyooka okuva mu nnyindo ze,
N'omuliro ogwava mu kamwa ke;
Ne guwandula amanda agookya.#Zab 97:3, Kaab 3:5, Kub 11:5
10Yakutamya eggulu n'akka,
Ekizikiza ekikutte ne kiba wansi w'ebigere bye.#Kuv 20:21, 1 Bassek 8:12, Zab 97:2; 144:5, Is 64:1
11Ne yeebagala kerubi n'adduka;
Weewaawo, yalabikira ku biwawaatiro by'empewo.#Zab 104:3
12Yeebikka ekizikiza,
ebire ebikutte, ebijjudde amazzi, ne bimwetooloola.
13Okumasamasa okwali mu maaso ge
Ne kukoleeza amanda ag'omuliro.
14Mukama n'abwatuka ng'ayima mu ggulu,
Ali waggulu ennyo n'aleeta eddoboozi lye.#Yob 37:4, Zab 29:3; 104:7, Is 30:30
15N'alasa obusaale n'abasaasaanya;
N'aweereza okumyansa n'abagoba.#Ma 32:23, Zab 7:13; 77:17; 144:6, Kaab 3:11
16Awo ensalosalo ez'ennyanja ne ziryoka zirabika,
Emisingi gy'ensi ne gyeruka,
Olw'okunenya kwa Mukama,
N'olw'okufuuwa omukka ogw'omu nnyindo ze.#Kuv 15:8, Zab 104:5
17Yasinziira waggulu n'ankwata;
N'anzigya mu mazzi amangi;#Zab 144:7
18N'amponya eri omulabe wange ow'amaanyi,
Neri abo abaankyawa; kubanga bansinza amaanyi.
19Bannumba ku lunaku kwe nnalabira ennaku;
Naye Mukama ye yantaasa.
20Yanfulumya n'andeeta mu kifo ekigazi;
Namponya kubanga yansanyukira.#Zab 31:8; 118:5
21Mukama yampa empeera ng'obutuukirivu bwange bwe bwali;
Naansasula ng'ebikolwa byange ebirungi bwebyali.#1 Sam 26:23, Zab 7:8; 24:4
22Kubanga nnakuumanga amakubo ga Mukama,
So sivanga ku Katonda wange ne nkola ebibi.
23N'akwata ebiragiro bye byonna,
era sivanga ku mateeka ge.
24Saalina musango mu maaso ge
Ne nneekuuma mu butali butuukirivu bwange.#Lub 6:9; 17:1, Yob 1:1
25Mukama kyavudde ansasula ng'obutuukirivu bwange bwe bwali,
Era nga obulongoofu bwange bwe bwali mu maaso ge.
26Awali ow'ekisa oneeraganga wa kisa,
Awali omuntu eyatuukirira obeera mutuukirivu;#Mat 5:7, Yak 2:13
27Awali omulongoofu obeera mulongoofu;
Oli mukambwe eri ababi.
28Olokola abo abeetoowaze:
Nokkakanya abamalala.#Zab 72:12,13, Is 2:11,12,17, Luk 1:51
29Kubanga ggwe ttabaaza yange, ayi Mukama:
Era Mukama ayakira mu kizikiza kyange.#Yob 29:3, Zab 27:1
30Ku lulwo nyanguwa okulumba eggye,
Ku lwa Katonda wange nsobola okubuuka ekigo.
31Katonda ono ekkubo lye lyatuukirira;
Ebisuubizo bya Mukama byesigibwa;
Oyo ye ngabo eri abo bonna abamwesiga.#Ma 32:4, 2 Sam 22:3, Zab 5:12; 12:6; 33:20; 59:11, Nge 30:5, Mat 5:48
32Kubanga ani Katonda wabula Mukama?
Oba ani lwazi wabula Katonda waffe?#Ma 4:35, 1 Sam 2:2
33Katonda ono kye kiddukiro kyange eky'amaanyi;
Era afuula ekkubo lyange ery'e ddembe.#2 Sam 22:2
34Yafuula ebigere byange nga eby'ennangaazi,
era n'anteeka mu bifo ebigulumivu nga ndi mugumu.#Ma 32:13; 33:29, Is 58:14
35Ayigiriza emikono gyange okulwana;
Emikono gyange ne gisobola okuweta omutego ogw'ekikomo.#Zab 144:1
36Ompadde engabo ey'obulokozi bwo,
Era n'obuyambi bwo bungulumizizza.
37Waagaziya ekkubo lyange,
Ebigere byange ne bitaseerera.#Nge 4:12
38Nayigganya abalabe bange ne mbazikiriza;
So saakyuka nate nga tebannamalibwawo.
39Era mbafumise ne mbamalirawo ddala ne batayinza kusituka:
Weewaawo, bagudde wansi w'ebigere byange.
40Kubanga onsibye amaanyi ag'okulwana;
Owangudde abo abannumba.#Zab 44:5
41Abalabe bange banziruse,
Ne nzikiriza abo abankyawa.#Kuv 23:27, Mak 12:36, 2 Peet 1:21
42Baanoonya ow'okubayamba, ne wataba abawonya.
Baakoowoola Mukama, kyokka n'atabaddamu.#1 Sam 28:6, Nge 1:28, Is 1:15, Mi 3:4
43Awo ne mbasekulirasekulira ddala ne bafuuka ng'enfuufu.
Nembasambirira ng'ebisooto eby'omu luguudo ne mbasaasaanya.#2 Bassek 13:7, Is 10:6
44Omponyezza empaka z'abantu bange;
N'onfuula omufuzi w'amawanga;
Abantu be ssimanyangako kati bampeereza.#2 Sam 8:1-14
45Bannaggwanga balinjeemulukukira;
Nga kye bajje bawulire ebigambo baliŋŋondera.#Ma 33:29, Zab 66:3; 81:15
46Bannaggwanga baggwaamu amaanyi,
Era ne bajja nga bakankana nga bava mu bifo byabwe bye beekwekamu.#Mi 7:17
47Mukama mulamu;
era lwazi lwange atenderezebwe;
Agulumizibwe Katonda ow'olwazi olw'obulokozi bwange;#Ma 32:15, Zab 89:26; 95:1
48Ye Katonda ampalanira eggwanga,
N'ampangulira amawanga ngafuge.#Zab 144:2
49Amponya mu balabe bange;
Weewaawo, ongulumizizza okusinga abo abannumba;
Nomponya eri omusajja omukambwe.#Bar 15:9
50Kyennaava nkwebaza,
ayi Mukama, mu mawanga,
Ne nnyimba okutendereza erinnya lyo.
51Katonda ye awa kabaka obuwanguzi;
era amukwatirwa ekisa,
oyo gwe yafukako amafuta,
eri Dawudi, n'ezzadde lye emirembe gyonna.#2 Sam 7:12, Zab 89:20,29; 144:10
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.