2 Samwiri 20
20
Okujeema kwa Seba
1Awo omusajja Omubenyamini ataliimu nsa erinnya lye Seba mutabani wa Bikuli, n'afuuwa ekkondeere n'ayogera nti, “Tetulina mugabo mu Dawudi so tetulina busika mu mutabani wa Yese; Abaisiraeri mwenna, buli muntu addeyo ewaabwe!”#Ma 13:13, 1 Bassek 12:16 2Awo Abaisiraeri bonna ne baabulira Dawudi, ne bagoberera Seba mutabani wa Bikuli. Kyokka ab'omu kika kya Yuda ne banywerera ku kabaka waabwe, ne bagenda naye okuva ku Yoludaani okutuuka mu Yerusaalemi.
3Awo Dawudi n'ajja mu nnyumba ye e Yerusaalemi; kabaka n'addira abakazi ekkumi (10) abazaana be, be yali alese okukuuma ennyumba, n'abateeka mu kkomera gye yabalisizanga, naye n'ategatta nabo. Awo ne basibibwa okutuusa ku lunaku kwe baafiira nga tebalina babbaabwe.#2 Sam 15:16; 16:21,22
4Awo kabaka n'agamba Amasa nti, “Kuŋŋaanya abasajja ba Yuda ennaku ssatu nga tezinnayitawo, naawe ojje nabo.”#2 Sam 17:25; 19:13 5Awo Amasa n'agenda okukuŋŋaanya ab'ekika kya Yuda; naye n'asussa mu nnaku kabaka zeyamuwa. 6Dawudi n'agamba Abisaayi nti, “Seba mutabani wa Bikuli ajja kutukola akabi akasinga aka Abusaalomu ke yakola; Kale nno twala abaddu ba mukama wo omuwondere aleme okugenda mu bibuga ebiriko enkomera n'awona.”#2 Sam 11:11; 18:2, 1 Bassek 1:33 7Awo abasajja ba Yowaabu, Abakeresi n'Abaperesi, n'abasajja abalala bonna ab'amaanyi, ne bava mu Yerusaalemi ne bagenda ne Abisaayi okuwondera Seba mutabani wa Bikuli.#2 Sam 8:18; 15:18 8Bwe baatuuka ku jjinja eddene eriri e Gibyoni, Amasa n'ajja okubasisinkana. Yowaabu yali ayambadde ebyambalo bye eby'entalo ng'asibye mu kiwato kye olukoba, nga kuliko n'ekitala mu kiraato kyakyo. Bwe yavaayo n'ajja, ne kisowokamu ne kigwa. 9Yowaabu n'agamba Amasa nti, “Oli mirembe, muganda wange?” Yowaabu n'akwata Amasa ku kirevu n'omukono gwe ogwa ddyo okumunywegera.#Mak 14:45 10Naye Amasa n'atassaayo mwoyo eri ekitala ekyali mu mukono gwa Yowaabu; n'amufumisa ekyo olubuto n'ayiwa ebyenda bye wansi n'atamufumita lwa kubiri; Amasa n'afa. Yowaabu ne Abisaayi ne bawondera Seba mutabani wa Bikuli.#1 Bassek 2:5 11Awo omu ku basajja ba Yowaabu n'ayogera nti, “Ayagala Yowaabu era ali ku luuyi lwa Dawudi agoberere Yowaabu.” 12Amasa yali agalamidde nga yeekulukuunya mu musaayi gwe wakati mu luguudo. Buli eyayitangawo n'amulaba, ng'ayimirira. Omusajja wa Yowaabu bwe yalaba ng'abantu bonna bayimirira, n'aggya Amasa mu luguudo, n'amutwala mu nsiko, n'amubikkako ekyambalo. 13Awo bwe yaggibwa mu luguudo, abantu bonna ne beyongerayo nga bagoberera Yowaabu, okuwondera Seba mutabani wa Bikuli. 14Awo Seba n'ayita mu bika byonna ebya Isiraeri n'atuuka mu Aberi ne mu Besumaaka, n'Ababeri bonna ne bakuŋŋaana nabo ne bamugoberera.#2 Bassek 15:29 15Abasajja ba Yowaabu ne bazingiza Seba nga ali mu Aberi eky'e Besumaaka, ne batuuma entuumo ye ttaka okwetooloola bbugwe we kibuga; awo abasajja ba Yowaabu ne bakoona bbugwe bamusuule wansi. 16Awo omukazi ow'amagezi n'ayogerera waggulu ng'ayima mu kibuga nti, “Muwulire! muwulire! mbeegayiridde, mugambe Yowaabu nti, ‘Sembera wano njogere naawe.’ ” 17N'amusemberera; omukazi n'amubuuza nti, “Ggwe Yowaabu?” N'addamu nti, “Nze nzuuyo.” N'alyoka amugamba nti, “Wulira ebigambo eby'omuzaana wo.” N'addamu nti, “Mpulira.” 18Awo omukazi n'agamba nti, “Ab'edda baagambanga nti, ‘Tugende twebuuze amagezi e Yaberi.’ Era baamalirangayo ebibasobedde. 19Nze ndi omu ku abo abaagala emirembe era abeesigwa mu Isiraeri. Oyagala okuzikiriza ekibuga ekizadde mu Isiraeri? Lwaki oyagala okusaanyaawo abantu ba Mukama?”#1 Sam 26:19 20Yowaabu n'addamu n'ayogera nti, “Kikafuuwe, kikafuuwe nze okusaanyawo oba okuzikiriza ekibuga! 21Ekyo si bwe kiri wabula waliwo omusajja erinnya lye Seba, mutabani wa Bikuli, ow'omu nsi ey'ensozi eya Efulayimu ajeemedde kabaka Dawudi. Kale mumuweeyo oyo yekka, olwo nja kuleka ekibuga.” Omukazi n'agamba Yowaabu nti, “Tujja kukasukira omutwe gwe nga tugubusa bbugwe.” 22Awo omukazi n'agenda eri abantu bonna n'abawa amagezi. Ne basalako Seba mutabani wa Bikuli omutwe ne bagukasukira Yowaabu. Awo Yowaabu n'afuuwa ekkondeere, basajja be ne baleka ekibuga, buli omu n'addayo ewaabwe ne Yowaabu n'addayo e Yerusaalemi eri kabaka.#Mub 9:14,15
Abakungu ba Dawudi
23Awo Yowaabu ye yali omukulu w'eggye lyonna erya Isiraeri; ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yali omukulu w'Abakeresi n'Abaperesi.#2 Sam 8:16-18, 1 Bassek 4:3-6 24Adolaamu ye yali omusolooza w'omusolo; ne Yekosafaati mutabani wa Akirudi ye yali omujjukiza;#1 Bassek 12:18 25Seva ye yali omuwandiisi; ne Zadoki ne Abiyasaali be baali bakabona;#2 Sam 15:24; 19:11 26ne Ira Omuyayiri naye yali kabona wa Dawudi.
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.