2 Samwiri 19
19
Yowaabu anenya Dawudi
1Awo ne babuulira Yowaabu nti, “Laba, kabaka akaaba amaziga akungubagira Abusaalomu.” 2Awo ku lunaku olwo essanyu ery'obuwanguzi ate nerifuuka kukungubaga eri abantu bonna; kubanga abantu bawulira ku lunaku olwo nti, “Kabaka akungubagira mutabani we.” 3Abantu ne badda mu kibuga ku lunaku olwo nga basooba, ng'abantu abakwatiddwa ensonyi bwe basooba nga badduse mu lutalo. 4Kabaka n'abikka ku maaso ge, kabaka n'akaaba n'eddoboozi ddene nti, “Woowe! mwana wange Abusaalomu, woowe Abusaalomu, mwana wange, mwana wange!” 5Awo Yowaabu n'ayingira mu nnyumba eri kabaka, n'amugamba nti, “Olwaleero oswazizza abaddu bo bonna n'obamalamu amaanyi, abaawonyezza leero obulamu bwo n'obulamu bwa batabani bo ne bawala bo n'obulamu bwa bakazi bo n'obulamu bw'abazaana bo; 6kubanga oyagala abakukyawa, n'okyawa abo abakwagala. Olwaleero olagidde ddala lwatu nti abakulu mu ggye lyo n'abaddu bo, tobalabamu mugaso. Olwaleero ntegedde nti singa Abusaalomu abadde mulamu, ffe fenna nga tufudde, wandisanyuse nnyo. 7Kale nno situka ofulume oyogere bulungi n'abaddu bo; kubanga ndayira Mukama, bw'otoofulume, abasajja bonna bajja kukwabuulira ekiro kino; ekyo kijja kukuviiramu akabi akasinga ke wali olabye okuva mu buto bwo n'okutuusa kati.” 8Awo kabaka n'asituka n'atuula mu mulyango. Ne babuulira abantu bonna nti, “Laba, kabaka atudde mu mulyango;” abantu bonna ne bajja ne baakuŋŋaanira waali.#2 Sam 18:24,33
Kabaka Dawudi addayo mu Yerusaalemi
Mu kiseera ekyo Abaisiraeri baali badduse nga buli muntu azeeyo mu nnyumba ye. 9Abantu bonna ne bakayana bokka na bokka mu bika bya Isiraeri byonna nga boogera nti, “Kabaka Dawudi ye yatuwonya mu mukono gw'abalabe baffe, n'atulokola mu mukono gw'Abafirisuuti; naye yadduka Abusaalomu nnava mu nsi ye.#2 Sam 5:20; 8:1-14 10Ate ne Abusaalomu gwe twafukako amafuta okutufuga afiiridde mu lutalo. Kale nno kaakano kiki ekitulobera okwogera ku kigambo eky'okukomyawo kabaka Dawudi?”
11Awo kabaka Dawudi n'atumira Zadoki ne Abiyasaali bakabona ng'ayogera nti, “Mugambe abakadde ba Yuda nti, ‘Lwaki mmwe muluddewo okuwagira ekigambo eky'okukomyawo kabaka mu nnyumba ye; kubanga ebigambo bya Isiraeri yenna eby'okukomyawo kabaka mu nnyumba ye bituuse gyali.#2 Sam 15:29 12Mmwe baganda bange ab'omusaayi gwange ddala. Kale lwaki mmwe munaasembayo okuwagira kabaka okudda mu nnyumba ye?’#2 Sam 5:1 13Era mugambe Amasa nti, ‘Ggwe ow'omusaayi gwange ddala, bw'otoobe mukulu wa ggye lyange mu kifo kya Yowaabu okuva kati, wakiri Katonda anzite.’ ”#2 Sam 8:16; 17:25 14Bw'atyo Dawudi naagonza emitima gy'abasajja bonna aba Yuda ne babeera ng'omuntu omu; n'okutuma ne batumira kabaka nga boogera nti, “Komawo ggwe n'abaddu bo bonna.” 15Awo kabaka n'akomawo n'atuuka ku mugga Yoludaani. Ab'ekika kya Yuda ne bagenda e Girugaali okusisinkana kabaka n'okumusomosa omugga Yoludaani.
16Awo Simeeyi mutabani wa Gera, Omubenyamini ow'e Bakulimu n'ayanguwa n'aserengeta wamu n'abasajja ba Yuda okusisinkana ne kabaka Dawudi.#2 Sam 16:5, 1 Bassek 2:8 17N'ajja n'abasajja lukumi (1,000) Ababenyamini. Ne Ziba omuddu w'omu nnyumba ya Sawulo ne batabani be kkumi na bataano (15) n'abaddu be abiri (20), ne baserengeta ku Yoludaani nga kabaka abalaba.#2 Sam 16:1-4; 19:29 18Ne basomoka omugga okuwerekera ab'omu nnyumba ya kabaka, n'okukola buli ky'asiima.
Dawudi asonyiwa Simeeyi
Kabaka bwe yali ng'agenda okusomoka Yoludaani, Simeeyi mutabani wa Gera n'avuunama mu maaso ge. 19Simeeyi n'agamba nti, “Mukama wange tonvunaana musango newakubadde okujjukira ekyo ekitasaana nze omudduwo kyennakola mukama wange kabaka lwe wava mu Yerusaalemi. Era mukama wange kabaka oleme kukisiba ku mwoyo.#2 Sam 16:5-13 20Kubanga nze omuddu wo, mmanyi nga nnayonoona. Era olwaleero kyenvudde nzija, nga nze nsoose ab'ennyumba ya Yusufu bonna okuserengeta okusisinkana mukama wange kabaka.” 21Naye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'addamu n'ayogera nti, “Simeeyi tattibwe olwa kino kubanga yakolimira oyo Mukama gwe yafukako amafuta?”#2 Sam 16:9, Bik 23:5 22Dawudi n'ayogera nti, “Kiki kyenina nammwe mmwe batabani ba Zeruyiya, mmwe okubeera leero abalabe bange? Olwaleero wanaabawo anattibwa mu Isiraeri? Kuba simanyi nga nze kabaka wa Isiraeri leero?”#1 Sam 11:13, 2 Sam 16:10 23Kabaka n'agamba Simeeyi nti, “Toofe.” Kabaka n'amulayirira.#1 Bassek 2:8,9,37,46
Dawudi akwatirwa Mefibosesi ekisa
24Awo Mefibosesi mutabani wa Sawulo n'aserengeta okusisinkana ne kabaka; era yali tanaabanga bigere newakubadde okumwa ebirevu newakubadde okwoza engoye ze okuva ku lunaku kabaka lwe yagenderako okutuusa ku lunaku lwe yakomawo emirembe.#2 Sam 9:6 25Awo olwatuuka bwe yatuuka e Yerusaalemi okusisinkana ne kabaka, kabaka n'amubuuza nti, “ Kiki ekyakulobera okugenda nange, Mefibosesi?” 26N'addamu nti, “Mukama wange, kabaka, nga nze omudduwo bwendi omulema n'agamba omuddu wange ateeke amatandiiko ku ndogoyi yange ngyebagale ŋŋende naawe; naye naandyamu olukwe.#2 Sam 9:3 27Nampayiriza gyoli, nze omuddu wo, mukama wange kabaka. Naye mukama wange, kabaka aliŋŋaanga malayika wa Katonda. Kale kola ekyo ky'olaba nga kirungi.#2 Sam 14:17,20; 16:3 28Ab'omu nnyumba ya kitange baali ba kuttirwa mu maaso go, mukama wange kabaka. Naye n'ontuuza nze omuweereza wo, mu abo abaliira ku mmeeza yo. Kale nsinziira ku ki nate okusaba ekisingawo?”#2 Sam 9:7 29Awo Kabaka n'amugamba nti, “Ne bw'otooyongere kwogera bingi bwe bityo, nze ŋŋambye nti ettaka muligabane ggwe ne Ziba.”#2 Sam 16:4 30Mefibosesi n'agamba kabaka nti, “Ziba abitwale byonna kasita ggwe mukama wange kabaka okomyewo mirembe mu lubiri lwo.”
Dawudi akwatirwa Baluzirayi ekisa
31Awo Baluzirayi Omugireyaadi n'aserengeta okuva e Logerimu; okuwerekera ku kabaka okusomoka Yoludaani. 32Era Baluzirayi yali musajja mukadde nnyo, nga awezzezza emyaka kinaana (80), yali mugagga nnyo era ye yawanga kabaka eby'okulya ebbanga lyonna lyeyamala e Makanayimu.#2 Sam 17:27-29, 1 Bassek 2:7 33Awo Kabaka n'agamba Baluzirayi nti, “Jjangu tugende ffenna, tuliirenga wamu e Yerusaalemi.” 34Baluzirayi n'addamu kabaka nti, “Nsigazaayo emyaka emmeka ndyoke ŋŋende naawe e Yerusaalemi? 35Kaakati mpezeza emyaka kinaana (80). Nkyayinza okwawula ebirungi n'ebibi? Oba okuwomerwa byendya oba bye nnywa? Wadde okuwuliriza amaloboozi g'abasajja n'abakazi abayimba? Lwaki omuddu wo azitoowerera mukama wange kabaka?#Zab 90:10 36Omuddu yayagala kusomoka busomosi Yoludaani okuwerekera kabaka; kale lwaki mukama wange kabaka ampa empeera eyenkanidde awo? 37Nkwegayiridde kkiriza omuddu wo nzireyo nfiire mu kibuga ky'ewaffe, awali entaana ya kitange n'eya mmange. Naye omuddu wo Kimamu wuuno, ye aba agenda naawe, mukama wange kabaka; era alimukolera kyonna ky'olisiima.”#1 Bassek 2:7 38Kabaka n'addamu nti, “Kimamu ajja kugenda nange, era ndimukola kyonna ky'osiima. Era naawe kyonna ky'oyagala nkukolere, nja kukikukolera.” 39Abantu bonna ne basomoka Yoludaani awamu ne kabaka; kabaka n'anywegera Baluzirayi n'amusabira omukisa; Baluzirayi n'addayo ewaabwe.
Ab'omu Kika kya Yuda n'Abaisiraeri bakaayanira kabaka
40Awo kabaka n'agenda e Girugaali, ne Kimamu n'agenda naye; ekika kyonna ekya Yuda n'ekitundu ky'abantu ba Isiraeri ne bagenda naye.#Yos 4:19 41Awo abantu bonna aba Isiraeri ne bagenda eri kabaka Dawudi ne bamubuuza nti, “Lwaki baganda baffe ab'ekika kya Yuda bakusomosezza Yoludaani, ggwe n'ab'omu nnyumba yo n'abasajja bo mu nkukuttu?”#2 Sam 19:15 42Awo ab'ekika kya Yuda bonna ne baddamu abantu ba Isiraeri nti, “Kubanga kabaka atuli kumpi mu luganda; lwaki ekyo kibasunguwaza? Tulina ekintu kyonna ekya kabaka kye tulidde oba alina ekirabo kyonna kyatuwadde?”#2 Sam 19:12 43Abaisiraeri nabo ne baddamu ab'omu kika kya Yuda nti, “Obwannannyini bwe tulina ku kabaka bwa mirundi kkumi (10). Era Dawudi waffe, n'okusinga bw'ali owammwe. Kale lwaki mwatunyoomye? Si ffe twasooka okuleeta ekirowoozo eky'okukomyawo kabaka waffe?” Naye ebigambo ebya b'omu kika kya Yuda byali bikambwe okusinga eby'Abaisiraeri.#1 Bassek 11:30,31
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.