1
Abaruumi 7:25
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Nneebaza Katonda ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe. Kale bwe kityo nze nzekka mu magezi ndi muddu wa mateeka ga Katonda, naye mu mubiri wa tteeka lya kibi.
Yenzanisa
Ongorora {{vhesi}}
2
Abaruumi 7:18
Kubanga mmanyi nga mu nze, gwe mubiri gwange, temutuula kirungi; mpulira nga njagala okukola ekirungi, naye nga sisobola.
3
Abaruumi 7:19
Kubanga kye njagala ekirungi ssikikola, naye kye ssaagala ekibi kye nkola.
4
Abaruumi 7:20
Naye oba nga kye ssaagala kye nkola, si nze nkikola nate, wabula ekibi ekituula mu nze.
5
Abaruumi 7:21-22
Bwe kityo ndaba etteeka nti, nze bwe njagala okukola ekirungi, ekibi kimbeera kumpi. Kubanga nsanyukira amateeka ga Katonda mu muntu ow'omunda
6
Abaruumi 7:16
Naye oba nga kye ssaagala kye nkola, nzikiriza nga amateeka amalungi.