1
Abaruumi 4:20-21
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Teyalekayo kukkiriza, era teyabuusabuusa mu ebyo Katonda bye yamusuubiza, naye n'afuna amaanyi olw'okukkiriza, ng'agulumiza Katonda, era ng'ategeerera ddala nga bye yasuubiza era ayinza n'okubikola.
Yenzanisa
Ongorora {{vhesi}}
2
Abaruumi 4:17
Kyawandiikibwa nti, “Nkufudde jjajja w'amawanga amangi,” mu maaso g'oyo gwe yakkiriza, ye Katonda, azuukiza abafu, era ayita ebitaliiwo ng'ebiriwo.
3
Abaruumi 4:25
eyaweebwayo olw'ebyonoono byaffe n'azuukira olw'okutuweesa obutuukirivu.
4
Abaruumi 4:18
Ibulayimu yakkiriza n'asuubira awatasuubirikika, alyoke abeerenga jjajja w'amawanga amangi, nga bwe kyayogerwa nti, “Ezzadde lyo liriba bwe lityo.”
5
Abaruumi 4:16
Kale ebyo Katonda bye yasuubiza bisinzira mu kukkiriza, okusuubiza kulyoke kubeerenga kwa kisa, era kunywere eri ezzadde lyonna, si eri ab'omu mateeka bokka, naye era n'eri ab'omu kukkiriza kwa Ibulayimu, ye jjajjaffe fenna.
6
Abaruumi 4:7-8
“Baweereddwa omukisa abaggibwako ebyonoono byabwe, Ebibi byabwe byabikkibwako. Aweereddwa omukisa omuntu Mukama gw'atalibalira kibi.”
7
Abaruumi 4:3
Kubanga ebyawandiikibwa byogera bitya? Ibulayimu n'akkiriza Katonda, ne kumubalirwa okuba obutuukirivu.