1
Yokaana 16:33
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Ebyo mbibabuulidde, mube n'emirembe mu nze. Mu nsi mulina ennaku: naye mugume; nze mpangudde ensi.”
Yenzanisa
Ongorora {{vhesi}}
2
Yokaana 16:13
Naye bw'alijja oyo Omwoyo ow'amazima, anaabaluŋŋamyanga mu mazima gonna: kubanga taayogerenga ku bubwe yekka; naye byonna by'anaawuliranga by'anaayogeranga: ye anaababuuliranga ebigenda okujja.
3
Yokaana 16:24
Okutuusa leero temusabanga kigambo mu linnya lyange: musabe, muliweebwa, essanyu lyammwe lituukirire.”
4
Yokaana 16:7-8
Naye nze mbagamba amazima; kibasaanira mmwe nze okugenda; kubanga nze bwe sirigenda, Omubeezi talibajjira; naye bwe ndigenda ndimutuma gye muli. Ye bw'alijja, alirumiriza ensi olw'ekibi, n'olw'obutuukirivu, n'olw'omusango
5
Yokaana 16:22-23
Kale nammwe kaakano munakuwala: naye ndibalaba nate, n'emitima gyammwe girisanyuka, n'essanyu lyammwe tewali muntu aliribaggyako. Ne ku lunaku luli temulibaako kye munsaba. Ddala ddala mbagamba nti Buli kye mulisaba Kitange, alikibawa mu linnya lyange.
6
Yokaana 16:20
Ddala ddala mbagamba nti mmwe mulikaaba mulikuba ebiwoobe, naye ensi erisanyuka: mmwe mulinakuwala, naye ennaku yammwe erifuuka ssanyu.