1
Olubereberye 37:5
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Yusufu n'aloota ekirooto, n'akibuulira baganda be; ne beeyongera nate okumukyawa.
Yenzanisa
Ongorora {{vhesi}}
2
Olubereberye 37:3
Isiraeri yayagala Yusufu okusinga abaana be bonna, kubanga gwe yazaala ng'akaddiye; n'amutungira ekyambalo eky'amabala amangi.
3
Olubereberye 37:4
Baganda ba Yusufu ne balaba nga kitaabwe amwagala nnyo okubasinga bonna; ne bamukyawa, ne batayogera naye bya mirembe wabula eby'okuyomba.
4
Olubereberye 37:9
N'aloota nate ekirooto ekirala, n'akibuulira baganda be n'ayogera nti, “Laba, nnaloose ekirooto ekirala; ng'enjuba n'omwezi n'emmunyeenye ekkumi n'emu (11) nga binvuunamira.”
5
Olubereberye 37:11
Baganda be ne bamukwatirwa obuggya; naye kitaawe n'akuumanga ebigambo ebyo bye yayogera.
6
Olubereberye 37:6-7
N'abagamba nti, “Mbeegayiridde, muwulire ekirooto kino kye nnaloose; Kale twabadde tusiba ebinywa by'eŋŋaano mu nnimiro, ekinywa ekyange ne kisituka, ne kyesimba. Ebinywa ebyammwe ne bijja ne bikyetooloola, ne bivuunamira ekinywa ekyange.”
7
Olubereberye 37:20
Kale nno mujje tumutte, tumusuule mu bumu ku bunnya, tulyogera nti, Ensolo enkambwe ye yamulya; ne tulyoka tulaba ebirooto bye bwe biriba.”
8
Olubereberye 37:28
Abasuubuzi Abamidiyaani bwe baali bayitawo, baganda ba Yusufu ne bamusika ne bamuggya mu bunnya, ne bamutunda mu ba Isimaeri abo, ebitundu by'effeeza abiri (20). Ne batwala Yusufu mu Misiri.
9
Olubereberye 37:19
Ne bagambagana nti, “Laba, ssekalootera wuuyo ajja.
10
Olubereberye 37:18
Ne bamulengera ng'akyali wala, era bwe yali nga tannabatuukako, ne beekobaana okumutta.
11
Olubereberye 37:22
Lewubeeni era n'agamba nti, “Temuyiwa musaayi. Mumusuule mu bunnya buno obuli mu ddungu, naye temumukolako kabi.” Yayogera bw'atyo ng'ayagala amuwonye, amuddize kitaawe.