1
Ebikolwa by'Abatume 7:59-60
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Ne bakuba amayinja Suteefano bwe yasaba n'agamba nti, “ Mukama wange Yesu, toola omwoyo gwange.” N'afukamira n'akaaba n'eddoboozi ddene nti, “Mukama wange, tobabalira kibi kino.” Bwe yamala okwogera ebyo naafa.
Yenzanisa
Ongorora {{vhesi}}
2
Ebikolwa by'Abatume 7:49
“ ‘Eggulu ye ntebe yange, N'ensi ye ntebe y'ebigere byange: Nnyumba ki gye mulinzimbira? bw'ayogera Mukama: Oba kifo ki mwe ndiwummulira?
3
Ebikolwa by'Abatume 7:57-58
Ne baleekaana n'eddoboozi ddene, ne baziba amatu gaabwe, ne bamweyiwako n'omwoyo gumu, ne bamusindiikiriza ebweru w'ekibuga, ne bamukuba amayinja. Abajulirwa ne bateeka engoye zaabwe ku bigere by'omulenzi, erinnya lye Sawulo.