Awo Mwoyo n'agamba Filippo nti: “Weeyongereyo okwatagane n'ekigaali ekyo.” Filippo n'addukanako, n'amuwulira ng'asoma Yisaaya omulanzi, n'amubuuza nti: “Olowooza by'osoma obitegeera?” Ye n'addamu nti: “Nnyinza ntya okubitegeera okuggyako nga waliwo annambika?” N'asaba Filippo alinnye atuule naye.