Logotipo da YouVersion
Ícone de Pesquisa

Zabbuli 136

136
Okwagala kwa Katonda okw'olubeerera
1Mumwebaze Mukama, kubanga mulungi:
Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.#Zab 106:1
2Mumwebaze Katonda wa bakatonda;
Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.#Ma 10:17, Kub 17:14
3Mumwebaze Mukama w'abaami;
Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
4Oyo akola eby'amagero ebikulu yekka;
Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.#Zab 72:18
5Oyo eyakola eggulu n'amagezi;
Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.#Lub 1:1, Nge 3:19, Yer 10:12
6Oyo eyayaliira ensi waggulu ku mazzi;
Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.#Lub 1:6, Zab 24:2, Is 42:5
7Oyo eyakola ebyaka ebikulu;
Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.#Lub 1:16
8Enjuba okufuga emisana;
Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
9Omwezi n'emmunyeenye okufuga ekiro;
Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
10Oyo eyakubira e Misiri ababereberye baabwe;
Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.#Kuv 12:29, Zab 78:51
11N'aggyamu Isiraeri wakati mu bo;
Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
12Yabaggyamu n'omukono gwe ogw'amaanyi gwe yagolola,
Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
13Oyo eyayawulamu wakati Ennyanja Emmyufu;
Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.#Kuv 14:21,22, Zab 78:13
14N'ayisa Isiraeri wakati mu yo;
Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
15Naye n'asaanyaawo Falaawo n'eggye lye mu Nnyanja Emmyufu.
Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.#Zab 14:7
16Oyo eyakulembera abantu be mu ddungu;
Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.#Ma 8:15
17Oyo eyakuba bakabaka ab'amaanyi;
Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.#Zab 135:10-12
18N'atta bakabaka abaatiikirivu;
Kubanga okuwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
19Sikoni kabaka w'Abamoli;
Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
20Ne Ogi kabaka w'e Basani;
Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
21N'agaba ensi yaabwe okuba obusika;
Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
22Okuba obusika eri Isiraeri omuddu we;
Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
23Eyatujjukira bwe twajeera;
Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna:
24N'atuwonya eri abalabe baffe;
Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.#Zab 107:2
25Awa eby'okulya ebirina emibiri byonna;
Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.#Zab 104:27
26Mumwebaze Katonda ow'omu ggulu;
Kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.#Ezer 5:12, Nek 1:4

Atualmente Selecionado:

Zabbuli 136: LBR

Destaque

Copiar

Comparar

Compartilhar

None

Quer salvar seus destaques em todos os seus dispositivos? Cadastre-se ou faça o login

Vídeo para Zabbuli 136