Zabbuli 135
135
Katonda asaana okutenderezebwa
1Mutendereze Mukama.
Mutendereze erinnya lya Mukama;
Mumutendereze, mmwe abaddu ba Mukama;#Zab 104:35; 113:1
2Mmwe abaweereza mu nnyumba ya Mukama,
Mu mpya z'ennyumba ya Katonda waffe.#Ma 10:8, Zab 92:13
3Mutendereze Mukama;
kubanga Mukama mulungi;
Muyimbe okutendereza erinnya lye;
kubanga lya ssanyu.#Zab 100:5; 147:1
4Kubanga Mukama yeerondera Yakobo okuba owuwe,
Ne Isiraeri okuba eky'omuwendo gy'ali.#Kuv 19:5, Ma 7:6,7
5Kubanga mmanyi nga Mukama mukulu,
Era nga Mukama waffe asinga bakatonda bonna.#Kuv 18:11, Zab 95:3
6Buli ky'ayagadde Mukama akikoze,
Mu ggulu ne mu nsi,
mu nnyanja ne mu by'obuziba byonna.#Zab 106:1; 115:3
7Alagira ebire ne byekulumulula okuva ku nkomerero y'ensi;
Atonnyesa enkuba erimu okumyansa;
Asumuluula empewo mu mawanika ge.#Yob 38:22,25, Yer 10:13, Zek 10:1
8Ye yakuba ababereberye ab'e Misiri,
Ab'abantu era n'ab'ensolo.#Kuv 12:29, Zab 78:51
9Yaweereza obubonero n'eby'amagero wakati mu ggwe, ggwe Misiri,
Ku Falaawo, ne ku baddu be bonna.#Ma 6:22
10Eyakuba amawanga amangi,
N'atta bakabaka ab'amaanyi;#Zab 136:17-22
11Sikoni kabaka w'Abamoli,
Ne Ogi kabaka w'e Basani,
N'amatwale gonna aga Kanani:#Kubal 21:21-26,33-35, Yos 12:7-24
12N'agaba ensi yaabwe okuba obusika,
Obusika eri Isiraeri abantu be.#Yos 23:4,5
13Erinnya lyo, Ayi Mukama, lya lubeerera ennaku zonna;
Limanyibwa, Ayi Mukama, okutuusa emirembe gyonna.#Kuv 3:15, Zab 102:12
14Kubanga Mukama aliggyako abantu be omusango,
Era alisaasira abaweereza be,#Ma 32:36, Zab 90:13
15Ebifaananyi eby'amawanga ebya ffeeza, ne zaabu,
Bikolebwa n'amikono gy'abantu.#Zab 115:4-8
16Birina emimwa, naye tebyogera;
Birina amaaso, naye tebiraba;
17Birina amatu, naye tebiwulira;
Ne mu kamwa kaabyo temuyitamu mukka.
18Ababikola balibifaanana;
na buli abyesiga alibifaanana.
19Mmwe ennyumba ya Isiraeri,
mutendereze Mukama;
Mmwe ennyumba ya Alooni,
mutendereze Mukama;#Zab 115:9-11
20Mmwe ennyumba ya Leevi,
mutendereze Mukama;
Mmwe abatya Mukama,
mutendereze Mukama.
21Mukama ali mu Sayuuni atenderezebwe,
Atenderezebwe oyo abeera mu Yerusaalemi.
Mutendereze Mukama.#Zab 132:14
Atualmente Selecionado:
Zabbuli 135: LBR
Destaque
Copiar
Comparar
Compartilhar
Quer salvar seus destaques em todos os seus dispositivos? Cadastre-se ou faça o login
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.