Makko 5:35-36

Makko 5:35-36 LUG68

Awo bwe yali akyayogera, abaava ew'omukulu w'ekkuŋŋaniro ne bajja, nga bagamba nti Omuwala wo afudde; oteganyiza ki nate Omuyigiriza? Naye Yesu n'atassaako mwoyo ku kigambo ekyogeddwa, n'agamba omukulu w'ekkuŋŋaaniro nti Totya, kkiriza bukkiriza.