Lukka 7:7-9

Lukka 7:7-9 LUG68

era kyenvudde nnema okwesaanyiza nzekka okujja gy'oli, naye yogera kigambo bugambo, n'omwana wange anaawona. Kubanga nange ndi muntu mutwalibwa, nga nnina basserikale be ntwala: bwe ŋŋamba omu nti Genda, agenda, n'omulala nti Jjangu, ajja, n'omuddu wange nti Kola kino, akola. Yesu bwe yawulira ebyo n'amwewuunya n'akyukira ebibiina ebyali bimugoberera n'agamba nti Mbagamba nti Sirabanga kukkiriza kunene nga kuno newakubadde mu Isiraeri.