Logo YouVersion
BibliaPlanyNagrania wideo
Pobierz aplikację
Wybór języka
Ikona wyszukiwania

Popularne wersety biblijne z ENTANDIKWA 27

1

ENTANDIKWA 27:28-29

Luganda DC Bible 2003

LBwD03

Katonda akuwenga ku musulo oguva mu ggulu, era agimusenga ennimiro zo. Akuwenga eŋŋaano nnyingi n'omwenge ogw'emizabbibu mungi. Abantu bakuweerezenga, n'amawanga gakuvuunamirenga. Ofugenga baganda bo n'abaana ba nnyoko bakuvuunamirenga. Buli akukolimira akolimirwenga, era buli akusabira omukisa, naye gumuweebwenga.”

Porównaj

Przeglądaj ENTANDIKWA 27:28-29

2

ENTANDIKWA 27:36

Luganda DC Bible 2003

LBwD03

Esawu n'agamba nti: “Si kyeyava ayitibwa Yakobo? Lyamutuukira ddala bulungi, kubanga guno omulundi gwakubiri ng'atwala ekifo kyange. Yanzigyako obukulu bwange, ne kaakano laba anzigyeeko omukisa gwange.” Awo n'agamba nti: “Nze tonterekeddeeyo ku mukisa?”

Porównaj

Przeglądaj ENTANDIKWA 27:36

3

ENTANDIKWA 27:39-40

Luganda DC Bible 2003

LBwD03

Awo Yisaaka kitaawe n'amuddamu nti: “Ennimiro zo teziibengamu bugimu, era toofunenga musulo oguva mu ggulu. Oneeyimirizangawo na kitala kyo, era onooweerezanga muganda wo. Naye bw'olyesumattula, olyeyambula ekikoligo kye mu bulago bwo.”

Porównaj

Przeglądaj ENTANDIKWA 27:39-40

4

ENTANDIKWA 27:38

Luganda DC Bible 2003

LBwD03

Esawu n'awanjagira kitaawe nti: “Olina omukisa gumu gwokka, taata? Mpa nange omukisa, ayi kitange!” N'aleekaana nnyo, n'akaaba.

Porównaj

Przeglądaj ENTANDIKWA 27:38

Bezpłatne plany czytania i rozważania na temat: ENTANDIKWA 27

Poprzedni rozdział
Następny rozdział
YouVersion

Zachęcanie i wzywanie cię do codziennego szukania bliskości z Bogiem.

Misja

O YouVersion

Praca

Wolontariat

Blog

Prasa

Przydatne linki

Pomoc

Wesprzyj

Przekłady Biblii

Biblie audio

Języki Biblii

Werset dnia


Cyfrowa misja

Life.Church
Polski

©2026 Life.Church / YouVersion

Polityka prywatnościRegulamin
Program ujawniania luk w zabezpieczeniach
FacebookTwitterInstagramYoutubePinterest