1
Matayo 26:41
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Mutunule musabe, muleme okuyingira mu kukemebwa: omwoyo gwe gwagala naye omubiri gwe munafu.
Porównaj
Przeglądaj Matayo 26:41
2
Matayo 26:38
Awo n'abagamba nti Omwoyo gwange guliko ennaku nnyingi, zigenda kunzita: mubeere wano, mutunule nange.
Przeglądaj Matayo 26:38
3
Matayo 26:39
N'atambulako katono, n'avuunama, n'asaba, n'agamba nti Ai Kitange, ekikompe kino kinveeko, oba kiyinzika: naye si nga nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw'oyagala.
Przeglądaj Matayo 26:39
4
Matayo 26:28
kubanga kino gwe musaayi gwange ogw'endagaano, oguyiika ku lw'abangi olw'okuggyawo ebibi.
Przeglądaj Matayo 26:28
5
Matayo 26:26
Era baali bakyalya, Yesu n'atoola omugaati, ne yeebaza, n'agumenyamu; n'awa abayigirizwa, n'agamba nti Mutoole, mulye; guno gwe mubiri gwange.
Przeglądaj Matayo 26:26
6
Matayo 26:27
N'atoola ekikompe, ne yeebaza, n'abawa ng'agamba nti Munywe ku kino mwenna
Przeglądaj Matayo 26:27
7
Matayo 26:40
N'adda eri abayigirizwa, n'abasanga nga beebase, n'agamba Peetero nti Kazzi temuyinzizza kutunula nange n'essaawa emu?
Przeglądaj Matayo 26:40
8
Matayo 26:29
Naye mbagamba nti Sirinywa n'akatono okusooka leero ku guno ogubala ku muzabbibu, okutuusa ku lunaku luli lwe ndigunywa omuggya awamu nammwe mu bwakabaka bwa Kitange.
Przeglądaj Matayo 26:29
9
Matayo 26:75
Peetero n'ajjukira ekigambo Yesu kye yagamba nti Enkoko eneeba tennaba kukookolima ononneegaanira emirundi esatu. N'afuluma ebweru, n'akaaba nnyo amaziga.
Przeglądaj Matayo 26:75
10
Matayo 26:46
Muyimuke tugende: laba, andyamu olukwe anaatera okutuuka.
Przeglądaj Matayo 26:46
11
Matayo 26:52
Awo Yesu n'amugamba nti Ekitala kyo kizze mu kifo kyakyo: kubanga abo bonna abakwata ekitala balifa kitala.
Przeglądaj Matayo 26:52