1
Matayo 19:26
Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya
LUG68
Yesu n'abatunuulira n'abagamba nti mu bantu ekyo tekiyinzika; naye Katonda ayinza byonna.
Porównaj
Przeglądaj Matayo 19:26
2
Matayo 19:6
obutaba babiri nate, naye omubiri gumu. Kale Katonda kye yagatta awamu, omuntu takyawulangamu.
Przeglądaj Matayo 19:6
3
Matayo 19:4-5
N'addamu n'agamba nti Temusoma nti oyo eyabakola olubereberye nga yabakola omusajja n'omukazi, n'agamba nti Omuntu kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina, yeetabe ne mukazi we; nabo bombi banaabanga omubiri gumu?
Przeglądaj Matayo 19:4-5
4
Matayo 19:14
Naye Yesu n'agamba nti Mubaleke abaana abato, temubagaana kujja gye ndi: kubanga abali ng'abo obwakabaka obw'omu ggulu bwe bwabwe.
Przeglądaj Matayo 19:14
5
Matayo 19:30
Naye bangi ab'olubereberye abaliba ab'oluvannyuma; n'ab'oluvannyuma abaliba ab'olubereberye.
Przeglądaj Matayo 19:30
6
Matayo 19:29
Na buli muntu yenna eyaleka ennyumba, oba ba luganda, oba bannyina, oba kitaawe, oba nnyina, oba baana, oba byalo, olw'erinnya lyange, aliweebwa emirundi kikumi, era alisikira obulamu obutaggwaawo.
Przeglądaj Matayo 19:29
7
Matayo 19:21
Yesu n'amugamba nti Bw'oyagala okuba eyatuukirira, genda otunde ebibyo, ogabire abaavu, oliba n'obugagga mu ggulu: olyoke ojje, ongoberere.
Przeglądaj Matayo 19:21
8
Matayo 19:17
N'amugamba nti Kiki ekikumbuuzisa eky'ekigambo ekirungi? Omulungi ali Omu: naye bw'oyagala okuyingira mu bulamu, wuliranga amateeka.
Przeglądaj Matayo 19:17
9
Matayo 19:24
Era nate mbagamba nti Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo y'empiso, okukira omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.
Przeglądaj Matayo 19:24
10
Matayo 19:9
Era mbagamba nti Buli anaagobanga mukazi we, wabula okumulanga ogw'obwenzi, n'awasa omulala, ng'ayenze: n'oyo awasa eyagobebwa ng'ayenze.
Przeglądaj Matayo 19:9
11
Matayo 19:23
Yesu n'agamba abayigirizwa be nti Mazima mbagamba nti Kizibu omuntu omugagga okuyingira mu bwakabaka obw'omu ggulu.
Przeglądaj Matayo 19:23