ABAROOMA 7
7
Okulabira ku bufumbo
1Abooluganda, (njogera n'abo abategeera amateeka), temumanyi nti amateeka omuntu gamufuga ng'akyali mulamu? 2Ekyokulabirako: omukazi omufumbo etteeka limulagira okubeera ne bba, nga bba oyo akyali mulamu. Bba bw'afa, omukazi oyo aba takyafugibwa tteeka eryo. 3N'olwekyo omukazi bw'aba n'omusajja omulala, ng'ate bba akyali mulamu, ayitibwa mwenzi. Kyokka bba bw'afa, aba takyasibibwa tteeka eryo. Era bw'afumbirwa omusajja omulala, olwo taba mwenzi.
4Nammwe bwe mutyo bwe muli, baganda bange. Mwafa ne mwawukanira ddala n'Amateeka, kubanga muli bitundu bya mubiri gwa Kristo. Era kaakano muli ba Kristo oyo eyazuukira tulyoke tube n'obulamu obugasa mu kuweereza Katonda.
5Bwe twali nga tukyafugibwa omubiri, Amateeka gaayongera amaanyi mu kwegomba kwaffe okubi, ne kukola mu mibiri gyaffe, okufa ne kweyongera. 6Naye kaakano tetukyafugibwa Mateeka, kubanga twafa ne twawukana n'Amateeka agaatufuula abasibe. N'olwekyo Katonda tumuweereza mu ngeri empya eya Mwoyo Mutuukirivu, sso si mu ngeri enkadde ey'okugoberera Amateeka amawandiike.
Amateeka n'ekibi
7Kale tugambe tutya? Tugambe nti Amateeka kye kibi? Nedda, si bwe kiri. Naye sandimanye kibi, singa tewali Mateeka. Sandimanye kiyitibwa kwegomba kubi, singa Amateeka tegagamba nti: “Teweegombanga.”#Laba ne Kuv 20:17; Ma 5:21 8Naye ekibi bwe kyayita mu kiragiro, ne kindeetera okwegomba okubi okwa buli ngeri. Awatali mateeka, ekibi kiba kifudde.
9Nze nali mulamu nga tewali mateeka. Naye ekiragiro bwe kyajja, ekibi ne kiramuka, 10ne kindeetera okufa. Olwo ekiragiro ekyali eky'okundeetera obulamu, ne kinviiramu okufa. 11Ekibi bwe kyayita mu kiragiro, ne kinnimbalimba, ne kinzita nga kisinziira mu kiragiro.#Laba ne Nta 3:13 12N'olwekyo Amateeka ku bwago matukuvu, n'ebiragiro bitukuvu, bituufu era birungi.
13Kale olwo ekirungi kye kyandeetera okufa? Nedda, si bwe kiri. Naye ekibi kye kyandeetera okufa nga kiyita mu kirungi, ekibi kiryoke kyeyoleke nga bwe kiri ekibi, era olw'ekiragiro, ekibi ekyo kiryoke kyeyongere okulagira ddala obubi bwakyo.
Olutalo mu muntu
14Tumanyi nti Amateeka galiwo lwa bya mwoyo, naye nze nfugibwa mubiri, ndi muddu wa kibi. 15Kye nkola sikitegeera, kubanga kye njagala si kye nkola, wabula kye nkyawa ate kye nkola.#Laba ne Bag 5:17 16Bwe nkola kye ssaagala kukola ekyo kiraga nti nzikiriza nti Amateeka malungi. 17Kubanga si nze nkikola, wabula ekibi ekibeera mu nze kye kikikola.
18Mmanyi nti mu nze, ng'omuntu obuntu, temuli kalungi n'akamu, kubanga newaakubadde nga njagala okukola ekirungi, naye nnemwa okukikola. 19Ekirungi kye njagala si kye nkola, wabula ekibi kye ssaagala kye nkola. 20Kale oba nga nkola ekyo kye ssaagala, kwe kugamba nti si nze nkikola, wabula ekibi ekibeera mu nze kye kikikola.
21Kale kino kye ndaba mu nze: bwe njagala okukola ekirungi, ate nnondawo kukola kibi. 22Mu mwoyo gwange nsanyukira etteeka lya Katonda. 23Naye mu mubiri gwange nsangamu ekirala ekirwanyisa etteeka eryo, amagezi gange lye gasemba, ne kinfuula omuddu w'etteeka ly'ekibi ekiri mu mubiri gwange.
24Nze nga ndi muntu munaku! Ani alimponya omubiri guno oguntwala mu kufa? 25Katonda yeebazibwe ankolera ekyo ng'ayita mu Yesu Kristo Mukama waffe.
Kale bwe ntyo bwe ndi: mu kutegeera kwange, nze ngoberera mateeka ga Katonda, naye mu kwegomba kwange, ngoberera tteeka lya kibi.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.