1
ABAROOMA 7:25
Luganda DC Bible 2003
LBwD03
Katonda yeebazibwe ankolera ekyo ng'ayita mu Yesu Kristo Mukama waffe. Kale bwe ntyo bwe ndi: mu kutegeera kwange, nze ngoberera mateeka ga Katonda, naye mu kwegomba kwange, ngoberera tteeka lya kibi.
비교
ABAROOMA 7:25 살펴보기
2
ABAROOMA 7:18
Mmanyi nti mu nze, ng'omuntu obuntu, temuli kalungi n'akamu, kubanga newaakubadde nga njagala okukola ekirungi, naye nnemwa okukikola.
ABAROOMA 7:18 살펴보기
3
ABAROOMA 7:19
Ekirungi kye njagala si kye nkola, wabula ekibi kye ssaagala kye nkola.
ABAROOMA 7:19 살펴보기
4
ABAROOMA 7:20
Kale oba nga nkola ekyo kye ssaagala, kwe kugamba nti si nze nkikola, wabula ekibi ekibeera mu nze kye kikikola.
ABAROOMA 7:20 살펴보기
5
ABAROOMA 7:21-22
Kale kino kye ndaba mu nze: bwe njagala okukola ekirungi, ate nnondawo kukola kibi. Mu mwoyo gwange nsanyukira etteeka lya Katonda.
ABAROOMA 7:21-22 살펴보기
6
ABAROOMA 7:16
Bwe nkola kye ssaagala kukola ekyo kiraga nti nzikiriza nti Amateeka malungi.
ABAROOMA 7:16 살펴보기