ABAROOMA 2
2
Katonda asala omusango mu bwenkanya
1Kale munnange ggwe asalira abalala omusango, ne bw'obeera ani, tolina kyakwewolereza. Mu kusalira abalala omusango, naawe oba ogwesalidde okukusinga, kubanga bo bye bakola, naawe agusala by'okolera ddala.#Laba ne Mat 7:1; Luk 6:37 2Tumanyi ng'abakola ebyo, Katonda abasalira omusango okubasinga, nga tasaliriza. 3Kale ggwe munnange, asalira abakola ebyo omusango okubasinga, ate nga naawe by'okola, olowooza nti oliwona omusango Katonda gw'alisala? 4Oba, ekisa kya Katonda ekingi n'obukwatampola, n'okugumiikiriza kwe, by'ogaya? Tomanyi nga Katonda akukwatirwa ekisa olyoke weenenye?
5Naye olw'obukakanyavu bw'omutima gwo ogutayagala kwenenya, weeterekedde okusalirwa omusango n'obukambwe, ku lunaku Katonda lw'aliragirako obusungu bwe ng'asala omusango awatali kusaliriza. 6Aliwa abantu bonna empeera, ng'asinziira ku bye baakola.#Laba ne Zab 62:12; Nge 24:12
7Abo abanyiikira okukola ebirungi nga baluubirira okufuna ekitiibwa n'ettendo n'obutafa, alibawa obulamu obutaggwaawo. 8Naye abo ab'empaka era abatagoberera mazima, ne bagoberera ekitali kituufu, Katonda alibasunguwalira, n'abakambuwalira.
9Abantu bonna abakola ebibi balibonyaabonyezebwa ne balumizibwa, ng'Abayudaaya be basooka, ne kuddako ab'amawanga amalala. 10Naye bonna abakola obulungi, baliweebwa ekitiibwa n'ettendo n'emirembe, ng'Abayudaaya be basooka, ne kuddako ab'amawanga amalala, 11kubanga Katonda tasosola mu bantu.#Laba ne Ma 10:17
12Bonna aboonoona nga tebamanyi Mateeka, balizikirizibwa nga tebavunaanibwa Mateeka. Ate bonna aboonoona nga bamanyi Amateeka, balisalirwa omusango okusinziira mu Mateeka, 13kubanga abatuukirivu mu maaso ga Katonda, si be bo abawulira obuwulizi Amateeka, wabula abo abakola bye galagira.
14Ab'amawanga amalala abatalina Mateeka bwe bakolera ku kutegeera kwabwe, ne batuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, be baba bafuuse amateeka agabafuga, newaakubadde nga tebalina Mateeka gali, 15kubanga balaga nti Amateeka kye galagira kiwandiikiddwa mu mitima gyabwe. Kino n'eddoboozi ly'omutima gwabwe likikakasa, kubanga ebirowoozo byabwe emirundi egimu bibalumiriza omusango, ate emirundi emirala bibawolereza. 16Era okusinziira ku Mawulire Amalungi, ge ntegeeza abantu, ku bwa Yesu Kristo bwe kityo bwe kiriba, ku lunaku Katonda lw'alisalirako abantu omusango olw'ebyo bye baakisa.
Abayudaaya n'Amateeka
17Naye ggwe eyeeyita Omuyudaaya, weesigama ku Mateeka, ne weenyumiririza mu Katonda. 18Omanyi Katonda by'ayagala okole, era wayigirizibwa mu Mateeka okulondawo ekisinga obulungi. 19Okakasa nti oli mukulembeze wa bazibe b'amaaso, era amulisa abali mu kizikiza; 20aluŋŋamya abatalina magezi, era omuyigiriza w'abaana abato, kubanga mu Mateeka, mw'oggya byonna eby'amagezi n'eby'amazima.
21Kale ggwe ayigiriza abalala, lwaki ggwe teweeyigiriza? Ggwe ategeeza abantu obutabbanga, ate ggwe obba? 22Ogamba abalala nti temwendanga, ate ggwe n'oyenda? Okyawa ebitali Katonda, ate n'obba eby'omu masabo? 23Weenyumiririza mu mateeka ga Katonda, ate n'omuswaza ng'ogamenya? 24Kyawandiikibwa nti: “Mmwe muleetera erinnya lya Katonda okuvumibwa ab'amawanga amalala.”#Laba ne Yis 52:5
25Okukomolebwa kugasa bw'okwata Amateeka, naye bw'ojeemera Amateeka, oba ng'atali mukomole. 26Kale atali mukomole bw'akwata ebiragiro ebiri mu Mateeka, talibalibwa ng'eyakomolebwa? 27Oyo ataakomolebwa mu mubiri, kyokka n'atuukiriza ebyo Amateeka bye galagira, talikusalira omusango okukusinga ggwe omumenyi w'Amateeka, newaakubadde ng'olina ebyawandiikibwa mu Mateeka, era nga wakomolebwa?
28Omuyudaaya ddala, si y'oyo alabikira ku byokungulu. Era okukomolebwa okw'amazima, si kwe kwo okwokungulu ku mubiri. 29Naye Omuyudaaya ddala ye Muyudaaya munda, eyafuna okukomolebwa okw'amazima, okutali kwa kungulu ku mubiri, wabula okw'omu mutima. Omuntu ng'oyo tatendebwa bantu, wabula Katonda.#Laba ne Ma 30:6
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.