ABAROOMA 3
3
Omuyudaaya talina ky'asinza balala
1Kale Omuyudaaya kiki ky'asinza abalala? Oba okukomolebwa kugasa ki? 2Kugasa mu ngeri yonna. Okusookera ddala, Abayudaaya be baakwasibwa ekigambo kya Katonda. 3Kale kiba kitya abamu ku bo bwe bataba beesigwa? Obuteesigwa bwabwe buliggyawo obwesigwa bwa Katonda? 4Nedda, tekisoboka. Katonda aba wa mazima, buli muntu ne bw'aba omulimba, nga bwe kyawandiikibwa nti:
“Oba mutuufu
mu bigambo byo.
Bw'osalirwa omusango
ggwe osinga.”#Laba ne Zab 51:4
5Naye oba nga ffe okuba ababi kiragira ddala nga Katonda bw'asala omusango mu bwenkanya, tunaagamba tutya? Tugambe nti Katonda bw'atubonereza aba mubi? Njogera ng'abantu bwe boogera. 6Nedda, tekisoboka. Katonda bw'ataba mwenkanya, ate olwo ayinza atya okulamula ensi?
7Naye obulimba bwange bwe bwongera okulaga nga Katonda bw'ali ow'amazima, n'aweebwa ekitiibwa, nze ate lwaki mba nkyasalirwa omusango okunsinga ng'omwonoonyi? 8Era lwaki tetugamba–nga bwe batuwaayiriza era ng'ambamu bwe batulumiriza nti bwe tugamba–nti tukle ebibi mulyoke muveemu ebirungi? – ng'abamu bwe batuwaayiriza nti bwe tugamba. Abo basaanidde okusalirwa omusango okubasinga.
Tewali muntu n'omu mutuukirivu
9Kale olwo ffe Abayudaaya tulina kye tusinza abalala? Nedda, tetukirina, nga bwe nasoose okulaga nti abantu bonna, Abayudaaya n'ab'amawanga amalala, bafugibwa kibi, 10nga bwe kyawandiikibwa nti:
“Tewali mutuukirivu wadde omu.#Laba ne Zab 14:1-3; 53:1-3
11Tewali ategeera,
wadde anoonya Katonda.
12Bonna baawaba,
bonna awamu baakola ebitasaana.
Tewali akola kirungi, wadde omu bw'ati.
13Emimiro gyabwe ye ntaana eyasaamiridde.
Ennimi zaabwe
bazoogeza bya bukuusa.
Bye boogera bya kabi
ng'obusagwa bw'enswera.#Laba ne Zab 5:9; 140:3
14Akamwa kaabwe
kajjudde ebikolimo
n'ebigambo eby'obukambwe.#Laba ne Zab 10:7
15Banguwa okugenda okutta abantu.#Laba ne Yis 59:7-8
16Buli gye bayita
baleetera abantu okuzikirira
era n'okunakuwala.
17Tebamanyi kuleetera bantu mirembe.
18Era tebafa
ku kussaamu Katonda kitiibwa.”#Laba ne Zab 36:1
19Tumanyi nti byonna ebiri mu Mateeka bikwata ku abo abafugibwa Amateeka ago, waleme kubaawo yeewolereza, wabula ab'oku nsi bonna Katonda abasalire omusango. 20Mu maaso ge, tewali muntu n'omu alibalwa okuba omutuukirivu olw'okutuukiriza ebiri mu Mateeka. Amateeka kye gakola, kwe kumanyisa omuntu nti akoze kibi.#Laba ne Zab 143:2; Bag 2:16
Obutuukirivu buva mu kukkiriza
21Naye kaakano obutuukirivu obuva eri Katonda nga tebuyita mu Mateeka, bulabise, era bukakasibwa Amateeka n'abalanzi, 22bwe butuukirivu Katonda bw'awa abantu bonna abakkiriza Yesu Kristo, kubanga bonna tewali njawulo.#Laba ne Bag 2:16 23Bonna baayonoona, ne balemwa okutuuka ku kitiibwa Katonda kye yayagala babeere nakyo.
24Katonda olw'ekisa kye, yabawa obutuukirivu bwa buwa, kubanga baanunulibwa Yesu Kristo. 25Yesu oyo mu kufa kwe, yateekebwawo okuba omutango gw'ebibi by'abamukkiriza. Bw'atyo Katonda n'alaga nga bw'ali omutuukirivu, kubanga mu kugumiikiriza kwe, ebibi ebyakolebwa edda yabiyisaako amaaso, 26alyoke akakase mu kiseera kino, nga bw'ali omutuukirivu, era nga bw'awa obutuukirivu buli muntu akkiriza Yesu.
27Kale ekitwenyumirizisa kiki? Tekiriiwo. Lwaki tekiriiwo? Olw'ebyo bye tukola? Nedda, naye lwa kukkiriza. 28Tukakasiza ddala nti omuntu aba mutuukirivu lwa kukkiriza, sso si lwa kutuukiriza ebyo Amateeka bye galagira.
29Kazzi Katonda wa Bayudaaya bokka? Ab'amawanga amalala bo si waabwe? Ddala nabo waabwe, 30kubanga Katonda ali omu, era abakomole alibawa obutuukirivu ng'asinziira ku kukkiriza kwabwe, n'abatali bakomole alibubawa olw'okukkiriza kwabwe.#Laba ne Ma 6:4; Bag 3:20 31N'olwekyo Amateeka tugaggyawo olw'okukkiriza okwo? Nedda, tekisoboka, naye tuganyweza bunyweza.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.