ABAROOMA 1
1
1Nze Pawulo omuweereza wa Kristo Yesu, nayitibwa okuba omutume, ne nnondebwa okubunyisa Amawulire Amalungi agava eri Katonda.
2Amawulire Amalungi ago Katonda ge yasuubiriza edda mu byawandiikibwa, ng'ayita mu balanzi be, 3agafa ku Mwana we. Ng'omuntu, Omwana oyo yazaalibwa nga muzzukulu wa Dawudi. 4Kyokka olw'obuyinza bwe, obusibuka mu butukuvu bwe yalina mu mwoyo, era n'olw'okuzuukira kwe, yakakasibwa nti Mwana wa Katonda. Ye Yesu Kristo Mukama waffe, 5eyatukwatirwa ekisa ne tuba abatume, tutuuse amawanga gonna ku buwulize obuva mu kumukkiriza. 6Nammwe muli mu abo, abaayitibwa okuba aba Yesu Kristo.
7Mmwe mwenna abaagalwa ba Katonda abali e Rooma, era abaayitibwa okuba abantu be, Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo babakwatirwe mmwe ekisa, era babawe emirembe.
Okwebaza Katonda
8Okusooka, neebaza Katonda wange nga mpita mu Yesu Kristo, ku lwammwe mwenna, kubanga okukkiriza kwammwe kwogerwako mu nsi yonna. 9Katonda gwe mpeereza n'omutima gwange gwonna, nga ntegeeza abantu Amawulire Amalungi ag'Omwana we, ye alaba bwe mbajjukira bulijjo mu ssaala zange, 10nga mmwegayirira nti ye bw'asiima, ntambule bulungi, nsobole olumu okutuuka gye muli, 11kubanga neegomba okubalabako, mbasobozese okufuna ekirabo ekigasa omwoyo. 12Kwe kugamba: tusanyukire wamu olw'okukkiriza kwaffe, okwammwe n'okwange.
13Abooluganda, njagala mumanye nti emirundi mingi nayagala okujja gye muli, nkole omulimu ogw'omugaso ne mu mmwe, nga bwe ngukola mu b'amawanga amalala. Naye n'okutuusa kaakano nkyalemeseddwa.#Laba ne Bik 19:21 14Nnina obuvunaanyizibwa okuyamba Abayonaani n'ab'amawanga agatannagunjuka, abayigirize n'abatali bayigirize. 15Nammwe abali e Rooma, kyenva njagala ennyo okubategeeza Amawulire Amalungi.
Amaanyi g'Amawulire Amalungi
16Amawulire Amalungi tegankwasa nsonyi, kubanga ge maanyi ga Katonda agalokola bonna abakkiriza, ng'Abayudaaya be basooka, ne kuddako ab'amawanga amalala.#Laba ne Mak 8:38 17Mu Mawulire Amalungi, obutuukirivu obuva eri Katonda mwe bulabikira. Obutuukirivu obwo Katonda abutuwa lwa kukkiriza, era bweyongerera mu kukkiriza, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Omutuukirivu anaabeeranga mulamu lwa kukkiriza.”#Laba ne Hab 2:4
Omusango gw'okwonoona gusinga abantu bonna
18Katonda ng'asinziira mu ggulu, alaga bw'asunguwalira abantu bonna abatamussaamu kitiibwa era ababi, abaziyiza amazima okumanyibwa olw'empisa zaabwe embi. 19Ebisoboka okumanyibwa ku Katonda, babiraba bulungi, kubanga Katonda yabibalaga. 20Okuviira ddala ku kutondebwa kw'ensi, embeera ye eterabika, kwe kugamba obuyinza bwe obutaggwaawo era n'obwakatonda bwe, birabikira ddala bulungi, nga bitegeererwa mu ebyo bye yatonda. N'olwekyo tebalina kyakwewolereza, 21kubanga newaakubadde nga Katonda baamumanya, kyokka tebaamussaamu kitiibwa nga Katonda, wadde okumwebaza, wabula ebirowoozo byabwe byadda mu bitagasa, emitima gyabwe emisirusiru ne gijjuzibwa ekizikiza.#Laba ne Beef 4:17-18 22Mu kweyita abagezi, baafuuka basiru. 23Ekitiibwa kye bandiwadde Katonda ataggwaawo, ne bakiwa ebifaananyi by'abantu obuntu, n'eby'ebinyonyi, n'eby'ensolo, n'eby'ebyewalula.#Laba ne Ma 4:16-18
24Katonda kyeyava abaleka, emitima gyabwe ne girulunkanira eby'ensonyi, ne bawemula emibiri gyabwe bokka na bokka. 25Baagaana amazima agafa ku Katonda, ne bakkiriza eby'obulimba, ne basinzanga, era ne baweerezanga ebitonde, mu kifo ky'Omutonzi atenderezebwa emirembe n'emirembe. Amiina.
26Katonda kyeyava abaleka ne bafugibwa okwegomba kwabwe okubi: abakazi baabwe ne bagaana ebyo emibiri gyabwe bye gyatonderwa, ne bagikozesanga ebyo bye gitaatonderwa. 27N'abasajja ne bakolanga bwe batyo: ne balekayo okumanyanga abakazi, ne babugujjanga okwegomba basajja bannaabwe, era ne bakolanga nabo eby'ensonyi, bwe batyo ne beereetera ekibonerezo ekigwanira okwonoona kwabwe.
28Era nga bwe baagaana okumanya Katonda, ne Katonda kyeyava abaleka ne bagwagwawala emitima, ne bakolanga ebitasaana. 29Bajjudde ebyonoono ebya buli ngeri, obubi, omululu, n'ettima. Bajjudde obuggya, obussi bw'abantu, obuyombi, n'okulowooza obubi ku balala. Bageya, 30basalaganako ebigambo, bakyawa Katonda, bavuma bannaabwe, beekulumbaza, beewaanawaana, era banoonyereza amakubo ag'okukola ebibi. Tebawulira bazadde baabwe. 31Basirusiru tebalina mazima, tebaagalana era tebalina kusaasira.
32Newaakubadde bamanyi nga Katonda asala omusango nti abakola ebyo basaanidde kufa, naye babikola. Ate tebakoma ku kubikola kwokka, naye basiima n'abo ababikola.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.