ABAROOMA 14
14
Obutasalira balala musango
1Atali munywevu mu kukkiriza temumugobaganyanga, naye era temuwakananga naye ku ebyo by'abuusabuusaamu.#Laba ne Bak 2:16 2Waliwo akkiriza nti ayinza okulya buli ekiriibwa. Naye atali munywevu mu kukkiriza, alekerayo ddala okulya ennyama. 3Oyo alya buli ekiriibwa alemenga kunyooma oyo atakirya. N'oyo atakirya, tanenyanga oyo akirya, kubanga Katonda teyamwegobaako. 4Ggwe ani anenya omuweereza w'omulala? Mukama we ye asalawo oba akola bulungi oba akola bubi. Era ajja kukola bulungi, kubanga Mukama ye amusobozesa okuyimirirawo.
5Omu alowooza olunaku olumu okusinga olulala obukulu, omulala alowooza nti ennaku zonna zenkanankana. Buli muntu anywererenga ku ky'alowooza okuba ekituufu. 6Oyo akuza olunaku, akikola lwa kuwa Mukama kitiibwa. N'oyo alya buli ekiriibwa, akirya lwa kuwa Mukama kitiibwa, kubanga yeebaza Katonda. Era n'oyo atakirya, akireka lwa kuwa Mukama kitiibwa, era yeebaza Katonda.
7Tewali muntu mu ffe abeera mulamu ku bubwe yekka, era tewali afa ku bubwe yekka. 8Bwe tubeera abalamu, tuba balamu ku bwa Mukama. Era bwe tufa, tufa ku bwa Mukama. N'olwekyo oba tuba balamu oba tufa, tuba ba Mukama. 9Kristo kyeyava afa n'azuukira, alyoke abeerenga Mukama w'abafu n'abalamu.
10Kale ggwe, lwaki onenya muganda wo? Oba ggwe, lwaki onyooma muganda wo? Ffenna tuliyimirira mu maaso g'entebe ya Katonda kw'asalira emisango,#Laba ne 2 Kor 5:10 11kubanga kyawandiikibwa nti:
“Mukama agamba nti:
nga bwe ndi omulamu,
buli muntu alinfukaamirira.
Era buli muntu
alintendereza nze Katonda.”#Laba ne Yis 45:23
12N'olwekyo buli muntu mu ffe alyennyonnyolerako mu maaso ga Katonda.
Obuteesittaza balala
13Kale tulekere awo okunenyagananga, naye mumalirire obutaleetawo kyesittaza wa luganda oba ekimusuula mu kibi. 14Nga bwe ndi obumu ne Mukama waffe Yesu Kristo, mmanyi era nkakasa nga tewali kyakulya kizira ku bwakyo, wabula kiba kya muzizo eri oyo akirowooza nti kya muzizo. 15Bw'onakuwaza muganda wo olw'emmere gy'olya, oba tokyafugibwa kwagalana. Oyo Kristo gwe yafiirira tomulekanga kuzikirira olw'ekyo ky'olya. 16Kale ekyo mmwe kye muyita ekirungi, kiremenga kuvumibwa. 17Obwakabaka bwa Katonda tebuli mu kulya na kunywa, wabula mu butuukirivu na mirembe na ssanyu, Mwoyo Mutuukirivu by'atuwa. 18Aweereza bw'atyo Kristo, asanyusa nnyo Katonda, era abantu bamusiima.
19Kale tunyiikirirenga ebireeta emirembe n'ebiyamba buli omu okuzimba munne. 20Toyonoonanga mulimu gwa Katonda olw'ebyokulya. Ebyokulya byonna birungi, naye ekibi kwe kulya ekyo ekireetera abalala okugwa mu kibi. 21Kirungi obutalyanga nnyama, newaakubadde okunywanga omwenge, wadde okukolanga ekirala kyonna ekyesittaza muganda wo [oba ekimunyiiza oba ekimunafuya].
22Ggwe ky'okkiriza, kikuumenga nga kimanyiddwa ggwe ne Katonda. Wa mukisa ateesalira musango kumusinga mu ebyo by'alowooza okuba ebituufu. 23Kyokka oyo abuusabuusa, bw'alya azza musango, kubanga akola ekyo omutima gwe kye gutakkiriza. Era buli ekitava mu kukkiriza, kiba kibi.
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.