ABAROOMA 13

13
Okuwulira abafuzi
1Buli muntu awulirenga abafuzi, kubanga obuyinza bwonna buva eri Katonda, era abafuzi abaliwo, Katonda ye yabateekawo. 2N'olwekyo ajeemera abafuzi, aba ajeemedde abo Katonda be yateekawo. Era abajeema, balyereetera omusango, 3kubanga abafuzi tebaba ba kutiisa abo abakola obulungi, wabula abo abakola obubi. Oyagala obutatiisibwa mufuzi? Kale kola bulungi, olwo ajja kukusiima, 4kubanga ye muweereza wa Katonda ku lw'obulungi bwo. Naye bw'okola obubi tya, kubanga obuyinza bw'alina si bwa bwereere. Ye muweereza wa Katonda, era ye abonereza abakola obubi.
5N'olwekyo musaanidde okuba abawulize, si lwa kutya kubonerezebwa kwokka, naye n'olw'obulungi bw'emyoyo gyammwe.
6Era kyemuva muwa omusolo, kubanga abafuzi baba baweereza ba Katonda, bwe banyiikirira emirimu gyabwe.#Laba ne Mat 22:21; Mak 12:17; Luk 20:25 7Kale bonna mubawenga bye muteekwa okubawa: asolooza omusolo mugumuwe, asolooza empooza mugimuwe, ateekwa okutiibwa mumutye, n'oweekitiibwa mukimuwe.
Okwagalana era n'okuyambagana
8Temubeeranga na bbanja eri muntu n'omu, wabula okwagalananga, kubanga ayagala muntu munne aba atuukirizza Amateeka. 9Ebiragiro bino: “Toyendanga, tottanga muntu, tobbanga, tobeeranga na kwegomba kubi”, n'ebiragiro ebirala, byonna bigattiddwa mu kimu ekigamba nti: “Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala ggwe wennyini.”#Laba ne Kuv 20:13-15,17; Ma 5:17-19,21; Leev 19:18 10Alina okwagala, takola muntu munne kabi. N'olwekyo okwagala kyekuva kutuukiriza Amateeka gonna.
11Ate ebyo nga bikyali awo, mumanyi nti kino kye kiseera, essaawa etuuse, mmwe okuzuukuka mu tulo, kubanga kaakano okulokolebwa kwaffe kuli kumpi okusinga we twatandikira okukkiriza. 12Ekiro kinaatera okuggwaako, olunaku lusembedde. Kale tuve mu ebyo bye tubadde tukola mu kizikiza, tukwate ebyokulwanyisa bye tunaakozesa emisana. 13Tube n'empisa ezisaanira abantu abali mu kitangaala, sso si ez'abo abali mu kizikiza. Tuleme kwemalira mu binyumu ne mu kutamiira, newaakubadde mu bwenzi ne mu bukaba, wadde mu kuyombanga ne mu buggya. 14Naye mwambale Mukama Yesu Kristo, mulemenga kuwa mubiri bbeetu okukolanga bye gwegomba.

선택된 구절:

ABAROOMA 13: LBwD03

하이라이트

복사

비교

공유

None

모든 기기에 하이라이트를 저장하고 싶으신가요? 회원가입 혹은 로그인하세요