EBIKOLWA 13

13
Okulondebwa n'okutumibwa kwa Barunaba ne Sawulo
1Mu kibiina ky'abakkiriza Kristo ekyali mu Antiyookiya, mwalimu abalanzi n'abayigiriza: Barunaba ne Simyoni eyayitibwanga Omuddugavu, ne Lukiyo ow'e Kireene, ne Manayeni eyakulira awamu n'omufuzi Herode, ne Sawulo. 2Bwe baali nga baweereza Mukama era nga basiiba, Mwoyo Mutuukirivu n'abagamba nti: “Munjawulire Barunaba ne Sawulo, bakole omulimu gwe mbayitidde.” 3Awo bwe baamala okusiiba n'okwegayirira Katonda, ne babassaako emikono, ne babatuma.
Barunaba ne Sawulo mu Kipuro
4Awo Barunaba ne Sawulo bwe baamala okutumibwa Mwoyo Mutuukirivu, ne baserengeta e Selewukiya, ne basaabala, ne bagenda e Kipuro. 5Bwe baatuuka e Salamisi, ne bayigiriza ekigambo kya Katonda mu makuŋŋaaniro g'Abayudaaya. Baali ne Yowanne Mariko ng'abaweereza. 6Bwe baayitaayita mu kizinga kyonna okutuuka e Paafo, ne basanga Omuyudaaya omulaguzi, omulanzi ow'obulimba, erinnya lye Bari-Yesu. 7Yali wamu n'omufuzi ow'ekizinga ekyo, omusajja omugezi, erinnya lye Serugiyo Pawulo. Omufuzi oyo n'ayita Barunaba ne Sawulo, ng'ayagala okuwulira ekigambo kya Katonda. 8Kyokka Eluma, amakulu nti omulaguzi, n'abawakanya ng'ayagala omufuzi aleme kukkiriza.
9Awo Sawulo, era amanyiddwa nga Pawulo, n'ajjula Mwoyo Mutuukirivu, n'asimba Eluma amaaso, 10n'agamba nti: “Ggwe omwana wa Sitaani! Ggwe omulabe w'obutuukirivu bwonna, ojjudde obukuusa bwonna. Tolirekayo kuggya bantu mu makubo ga Mukama amagolokofu? 11Kaakano Mukama ajja kukubonereza: ojja kuba muzibe, nga tolaba njuba okumala akaseera.” Amangwago ekifu n'ekizikiza ne bibikka amaaso ge, ne gaziba. N'awammanta ng'anoonya ow'okumukwata ku mukono. 12Awo omufuzi bwe yalaba ebibaddewo, n'akkiriza, nga yeewuunya nnyo okuyigiriza okufa ku Mukama.
Mu Antiyookiya eky'e Pisidiya
13Awo Pawulo ne banne ne basaabala okuva e Paafo, ne batuuka e Peruga eky'omu Panfiliya. Yowanne ye n'abaawukanako, n'addayo e Yerusaalemu. 14Kyokka bo ne bava e Peruga, ne batuuka mu Antiyookiya eky'omu Pisidiya. Ku lunaku olwa Sabbaato ne bayingira mu kkuŋŋaaniro, ne batuula.
15Ebitundu ebiggyibwa mu mateeka ga Musa ne mu byawandiikibwa abalanzi bwe byaggwa okusoma, abakulu b'ekkuŋŋaaniro, ne batumira ba Pawulo nga bagamba nti: “Abooluganda, oba nga mulina ekigambo eky'okubuulira abantu, mukibabuulire.” 16Pawulo bwe yasituka n'abawenya n'omukono, n'agamba nti:
“Mmwe Abayisirayeli, nammwe abalala abassaamu Katonda ekitiibwa, muwulire. 17Katonda w'Abayisirayeli yalonda bajjajjaffe, n'abafuula eggwanga eddene bwe baali mu nsi y'e Misiri. Oluvannyuma n'abaggyayo n'obuyinza bwe obungi.#Laba ne Kuv 1:7; 12:51 18N'abeera nabo mu ddungu, okumala emyaka ng'amakumi ana, ng'abagumiikiriza.#Laba ne Kubal 14:34; Ma 1:31 19Bwe yamala okuzikiriza amawanga omusanvu agaali mu nsi y'e Kanaani, n'abawa ensi eyo okuba obutaka bwabwe.#Laba ne Ma 7:1; Yos 14:1 20Emyaka ng'ebikumi bina mu ataano bwe gyayitawo, n'abawa abalamuzi, okutuusa mu biseera bya Samweli omulanzi.#Laba ne Balam 2:16; 1 Sam 3:20 21Awo bwe baasaba okuweebwa kabaka, Katonda n'abawa Sawulo, omwana wa Kiisi, ow'omu Kika kya Benyamiini, n'abafugira emyaka amakumi ana.#Laba ne 1 Sam 8:5; 10:21
22“Bwe yamuggyaawo, n'abateerawo Dawudi okuba kabaka waabwe, Katonda gwe yayogerako nti: ‘Nzudde Dawudi omwana wa Yesse, ye musajja gwe nsiima, anaakolanga byonna bye njagala.’#Laba ne 1 Sam 13:14; 16:12; Zab 89:20
23“Katonda ng'atuukiriza ekyo kye yasuubiza, aleetedde Yisirayeli Omulokozi Yesu, ng'amuggya mu zzadde lya Dawudi. 24Yesu bwe yali nga tannatandika mulimu gwe, Yowanne yategeeza abantu ba Yisirayeli bonna beenenye babatizibwe.#Laba ne Mak 1:4; Luk 3:3 25Era Yowanne bwe yali ng'amaliriza omulimu gwe, n'agamba abantu nti: ‘Mundowooza kuba ani? Nze siri oyo gwe mulindirira, wabula ye anvaako mabega, era sisaanira na kusumulula buguwa bwa ngatto ze.’#Laba ne Mat 3:11; Mak 1:7; Luk 3:16; Yow 1:20,27
26“Mmwe abooluganda, bazzukulu ba Aburahamu, nammwe abalala abassaamu Katonda ekitiibwa, ebigambo bino eby'obulokozi byaweerezebwa ffe. 27Abantu b'omu Yerusaalemu, awamu n'abakulu baabwe, Yesu tebaamumanya nti ye mulokozi, wadde okutegeera ebigambo by'abalanzi ebisomebwa buli Sabbaato. Kyokka baabituukiriza, bwe baasalira Yesu omusango attibwe. 28Newaakubadde tebaazuula nsonga emussa, baasaba Pilaato, Yesu attibwe.#Laba ne Mat 27:22-23; Mak 15:13-14; Luk 23:21-23; Yow 19:15
29“Bwe baamala okutuukiriza ebyawandiikibwa byonna ebimwogerako, ne bamuwanula ku musaalaba, ne bamuteeka mu ntaana.#Laba ne Mat 27:57-61; Mak 15:42-47; Luk 23:50-56; Yow 19:38-42 30Kyokka Katonda n'amuzuukiza. 31N'amala ennaku nnyingi ng'alabikira abo abaayambuka naye e Yerusaalemu nga bava e Galilaaya. Abo kaakano be bamumanyisa mu bantu.#Laba ne Bik 1:3
32“Kale Amawulire Amalungi ge tubaleetera gaagano nti: Katonda bwe yazuukiza Yesu, yatuukiriza ekyo kye yasuubiza bajjajjaffe, ku lwaffe bazzukulu baabwe, 33nga bwe kyawandiikibwa mu Zabbuli eyookubiri nti: ‘Oli Mwana wange, olwa leero nkuzadde.’#Laba ne Zab 2:7 34Okukakasa nti Katonda yamuzuukiza, takyaddamu kufa, Katonda kyava agamba nti: ‘Ndibawa emikisa emitukuvu era egy'enkalakkalira, gye nawa Dawudi.’#Laba ne Yis 55:3 35Ne mu Zabbuli endala agamba nti: ‘Tolireka mutukuvu wo kuvunda.’#Laba ne Zab 16:10 36Dawudi bwe yamala okukola emirimu Katonda gye yamuteekerateekera mu bulamu bwe, n'afa, n'aziikibwa awali bajjajjaabe, n'avunda. 37Kyokka oyo Katonda gwe yazuukiza teyavunda. 38N'olwekyo mmwe mwenna abooluganda, mutegeere nti ku bw'oyo, tubategeeza nga bwe muyinza okusonyiyibwa ebibi byammwe. 39Era byonna bye mutaayinza kuggyibwako mu mateeka ga Musa, buli akkiriza Yesu bimuggyibwako.
40“Kale mwekuume, ekyo kireme kubabaako, ekyayogerwa abalanzi nti:
41‘Kale mmwe abanyooma,
mwewuunye, muzikirire,
kubanga nkola omulimu
mu biseera byammwe,
omulimu gwe mutalikkiriza,
newaakubadde nga waliwo agubannyonnyola.’ ”#Laba ne Hab 1:5
42Pawulo ne Barunaba bwe baali bafuluma mu kkuŋŋaaniro, abantu ne babasaba beeyongere okubategeeza ebigambo ebyo ku Sabbaato eddirira. 43Bonna bwe baava mu kkuŋŋaaniro, bangi ku Bayudaaya ne ku b'amawanga amalala abasoma Ekiyudaaya ne bagoberera Pawulo ne Barunaba. Mu kunyumya nabo, Pawulo ne Barunaba ne babakuutira banywerere mu kwesiga ekisa kya Katonda.
44Ku Sabbaato eyaddirira, kumpi buli muntu eyali mu kibuga n'ajja okuwulira ekigambo kya Katonda. 45Abayudaaya bwe baalaba abantu abangi bwe batyo, ne bajjula obuggya, ne bawakanya ebyayogerwa Pawulo, era ne bamuvuma. 46Awo Pawulo ne Barunaba ne boogera n'obuvumu, ne bagamba nti: “Mmwe mubadde muteekwa okusooka okubuulirwa ekigambo kya Katonda. Naye nga bwe mukigaanyi, ne mulaga mmwe mwennyini nga temusaanira kufuna bulamu obutaggwaawo, kale ka tubaleke, tugende eri ab'amawanga amalala, 47kubanga ekyo Mukama kye yatulagira okukola bwe yagamba nti: ‘Nkutaddewo obe ekitangaala mu b'amawanga amalala, obe omulokozi w'ensi zonna.’ ”#Laba ne Yis 42:6; 49:6
48Ab'amawanga amalala bwe baawulira ebyo, ne basanyuka, ekigambo kya Katonda ne bakissaamu ekitiibwa. Abo Katonda be yateekerateekera obulamu obutaggwaawo, ne bakkiriza. 49Ekigambo kya Katonda ne kibuna mu kitundu ekyo kyonna. 50Naye Abayudaaya ne bafukuutirira abakulu b'ekibuga n'abakazi abeekitiibwa era abajjumbizi b'eddiini, ne bayigganya Pawulo ne Barunaba, ne babagoba mu kitundu ekyo. 51Kyokka Pawulo ne Barunaba ne bakunkumulira abantu abo enfuufu ey'oku bigere byabwe, ne balaga mu Yikoniyo.#Laba ne Mat 10:14; Mak 6:11; Luk 9:5; 10:11 52Abayigirizwa ne bajjula essanyu ne Mwoyo Mutuukirivu.

선택된 구절:

EBIKOLWA 13: LBwD03

하이라이트

복사

비교

공유

None

모든 기기에 하이라이트를 저장하고 싶으신가요? 회원가입 혹은 로그인하세요