EBIKOLWA 14

14
Mu Yikoniyo
1Awo Pawulo ne Barunaba bwe baatuuka mu Yikoniyo, era ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya, ne bayigiriza. Abantu bangi nnyo, Abayudaaya n'Abayonaani, ne bakkiriza. 2Naye Abayudaaya abamu abaagaana okukkiriza, ne bassa omutima omubi mu b'amawanga amalala okukyawa abakkiriza.
3Pawulo ne Barunaba ne bamalayo ebbanga ddene nga bayigiriza n'obuvumu ebya Mukama. Era Mukama n'akakasanga bye bayigiriza ku kisa kye, ng'abakozesa ebyewuunyo n'ebyamagero. 4Abantu b'omu kibuga ne beesalamu, abamu ne babeera ku ludda lw'Abayudaaya, abalala ne babeera ku ludda lw'abatume.
5Awo ab'amawanga amalala n'Abayudaaya awamu n'abakulu baabwe, ne beekoba okulumba abatume, n'okubakuba amayinja. 6Bo bwe baakitegeera, ne baddukira mu Lisitura ne Derube, ebibuga by'e Likawooniya, ne mu bitundu ebibiriraanye. 7Ne babeera eyo nga bategeeza abantu Amawulire Amalungi.
Mu Lisitura ne Derube
8Mu Lisitura mwalimu omusajja omugongobavu w'ebigere, nga mulema okuva lwe yazaalibwa, era nga tatambulangako. Yali atudde awo, 9n'awulira Pawulo by'ayogera. Pawulo bwe yamutunuulira n'alaba ng'akkiriza ng'ayinza okuwonyezebwa. 10Pawulo n'akangula ku ddoboozi n'agamba nti: “Situka oyimirire.” N'asituka mangu, n'atambula.
11Awo ekibiina ky'abantu bwe kyalaba Pawulo ky'akoze, ne kireekaana n'eddoboozi ery'omwanguka mu lulimi Olulikoniyo nga kigamba nti: “Balubaale basse gye tuli nga bafaanana ng'abantu!” 12Barunaba ne bamuyita Zeewo, Pawulo ne bamuyita Erume, kubanga ye yayogera.
13Awo kabona wa Zeewo, eyalina essabo mu maaso g'ekibuga, n'aleeta ku nzigi z'ekibuga ente n'ebimuli eby'okubambika, ng'ayagala abantu bonna bamwegatteko okutambira. 14Kyokka abatume Barunaba ne Pawulo bwe baawulira ekyo, ne bayuza ebyambalo byabwe olw'okukiwakanya, ne bafubutuka nga balaga mu bantu, nga bwe baleekaana nti: 15“Bannaffe, lwaki mukola ebyo? Naffe tuli bantu buntu nga mmwe, ababaleetedde Amawulire Amalungi, mulyoke muleke ebyo ebitagasa, mudde eri Katonda Nnannyinibulamu, eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja, ne byonna ebibirimu.#Laba ne Kuv 20:11; Zab 146:6
16“Mu mirembe egyayita, Katonda yaleka abantu bonna ne bayisa nga bwe baayagalanga. 17Kyokka teyeekweka. Bulijjo yeeyolekeranga mu birungi by'akola, gamba abatonnyeseza enkuba, abaza ebibala byammwe mu biseera byabyo, abawa emmere, era ajjuza emitima gyammwe essanyu.” 18Newaakubadde baayogera ebyo, era kata balemwe okuziyiza abantu okubatambirira.
19Awo Abayudaaya abamu ne bava e Lisitura ne Yikoniyo, ne bafukuutirira abantu, ne bakuba Pawulo amayinja. Ne bamuwalula, ne bamufulumya ebweru w'ekibuga, nga balowooza nti afudde. 20Kyokka abayigirizwa bwe baamwetooloola, n'asituka, n'ayingira mu kibuga. Olunaku olwaddirira, Pawulo ne Barunaba ne balaga e Derube.
Okuddayo mu Antiyookiya eky'e Siriya
21Pawulo ne Barunaba ne bategeeza abantu mu Derube Amawulire Amalungi, ne bafuna abayigirizwa bangi. Olwo ne baddayo mu Lisitura ne mu Yikoniyo, ne mu Antiyookiya eky'e Pisidiya, 22nga banyweza emyoyo gy'abayigirizwa, era nga babakuutira banyweze okukkiriza kwabwe. Ne babagamba nti: “Tuteekwa okuyita mu bizibu bingi okuyingira Obwakabaka bwa Katonda.”
23Bwe baamala okuteeka abakulembeze mu buli kibiina ky'abakkiriza Kristo, n'okusinza Katonda era nga bwe basiiba, ne babakwasa Mukama gwe bakkiriza. 24Ne bayita mu Pisidiya, ne batuuka mu Panfiliya. 25Ne bategeeza abantu ekigambo kya Katonda mu Peruga, ne baserengeta mu Ataliya. 26Bwe baavaayo, ne basaabala ne baddayo mu Antiyookiya, mu kusooka bannaabwe gye baabakwasiza Katonda abayambe, bwe baali nga bagenda okutandika omulimu guno, gwe baali baakamaliriza.
27Bwe baatuukayo, ne bakuŋŋaanya ekibiina ky'abakkiriza Kristo, ne babategeeza byonna Katonda bye yabakozesa, era nga bw'asobozesezza ab'amawanga amalala okukkiriza. 28Ne bamalayo ebbanga ddene nga bali n'abayigirizwa.

선택된 구절:

EBIKOLWA 14: LBwD03

하이라이트

복사

비교

공유

None

모든 기기에 하이라이트를 저장하고 싶으신가요? 회원가입 혹은 로그인하세요