Okubala 2
2
Enteekateeka y'ebika mu Lusiisira
1Awo Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti, 2“Abaana ba Isiraeri banaasiisiranga buli muntu okuliraana n'ebendera ye, awali obubonero bw'ennyumba za bakitaabwe; banaasiisiranga nga batunuulidde Eweema ey'okusisinkanirangamu enjuyi zaayo zonna.#Kubal 1:52 3Era abo abanaasiisiranga ku luuyi olw'ebuvanjuba okutunuulira enjuba gy'eva, banaabanga ba bendera ya lusiisira lwa Yuda, ng'eggye lyabwe bwe liri; era Nakusoni mutabani wa Amminadaabu ye anaabanga omukulu w'abaana ba Yuda.#Kubal 1:7 4Era eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo, baali emitwalo musanvu mu lukaaga (70,600). 5N'ekika kya Isakaali be banaasiisiranga okumuliraana; era Nesaneeri mutabani wa Zuwaali ye anaabanga omukulu w'abaana ba Isakaali; 6n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku lyo, baali emitwalo etaano mu enkumi nnya mu bina (54,400). 7N'ekika kya Zebbulooni, era Eriyaabu mutabani wa Keroni ye anaabanga omukulu w'abaana ba Zebbulooni. 8N'eggye lye n'abo abaabalibwa ku lyo baali emitwalo etaano mu kasanvu mu bina (57,400). 9Bonna abaabalibwa ku lusiisira lwa Yuda baali kasiriivu mu emitwalo munaana mu kakaaga mu bina (186,400). Abo be banaasookanga okutambula.#Kubal 10:14-16
10“Ku luuyi olw'obukiikaddyo we wanaabanga ebendera ey'olusiisira lwa Lewubeeni ng'eggye lyabwe bwe liri; era Erizuuli mutabani wa Sedewuli, ye anaabanga omukulu w'abaana ba Lewubeeni. 11N'eggye lye, n'abo abaabalibwa ku lyo baali emitwalo ena mu kakaaga mu bitaano (46,500). 12N'ekika kya Simyoni be banaasiisiranga okumuliraana, era Serumyeri mutabani wa Zulisadaayi ye anaabanga omukulu w'abaana ba Simyoni; 13n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo etaano mu kenda mu bisatu (59,300) 14n'ekika kya Gaadi; era Eriyasaafu mutabani wa Leweri ye anaabanga omukulu w'abaana ba Gaadi;#Kubal 1:14 15n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu ataano (45,650). 16Bonna abaabalibwa mu lusiisira lwa Lewubeeni baali kasiriivu mu emitwalo etaano mu lukumi mu bina mu ataano (151,450). Bano be banaabanga abokubiri okutambula.#Kubal 10:18-20
17“Awo Eweema ey'okusisinkanirangamu n'eryoka etambuzibwa, wamu n'olusiisira lw'Abaleevi wakati mu nsiisira; nga bwe basiisira, bwe banaasitulanga bwe batyo, buli muntu mu kifo kye, awali ebendera zaabwe.#Kubal 10:17,21
18“Ku luuyi olw'ebugwanjuba we wanaabanga ebendera ey'olusiisira lwa Efulayimu ng'eggye lyabwe bwe liri; era Erisaama mutabani wa Ammikudi ye anaabanga omukulu w'abaana ba Efulayimu. 19N'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo, baali emitwalo ena mu bitaano (40,500). 20N'ekika kya Manase kye kinaamuddiriranga; era Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli ye anaabanga omukulu w'abaana ba Manase; 21n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu bibiri (32,200) 22n'ekika kya Benyamini; era Abidaani mutabani wa Gidiyooni ye anaabanga omukulu w'abaana ba Benyamini; 23n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu bina (35,400). 24Bonna abaabalibwa ku lusiisira lwa Efulayimu baali kasiriivu mu kanaana mu kikumi (108,100), ng'eggye lyabwe bwe lyali. Abo be banaabanga ab'okusatu mu kutambula.#Kubal 10:22-24
25“Ku luuyi olw'obukiikakkono we wanaabanga ebendera ey'olusiisira lwa Ddaani ng'eggye lyabwe bwe liri; era Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi ye anaabanga omukulu w'abaana ba Ddaani. 26N'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu (62,700). 27N'ekika kya Aseri be banaasiisiranga okumuliraana; era Pagiyeeri mutabani wa Okulaani ye anaabanga omukulu w'abaana ba Aseri; 28n'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo ena mu lukumi mu bitaano (41,500). 29N'ekika kya Nafutaali; era Akira mutabani wa Enani ye anaabanga omukulu w'abaana ba Nafutaali. 30N'eggye lye n'abo abaabalibwa ku bo baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu bina (53,400). 31Bonna abaabalibwa ku lusiisira lwa Ddaani baali kasiriivu mu emitwalo etaano mu kasanvu mu lukaaga (157,600) Abo be banaasembangayo okutambula ng'ebendera bwe ziri.”#Kubal 10:25-27
32Abo be baabalibwa ku baana ba Isiraeri ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali; bonna abaabalibwa ku nsiisira ng'eggye lyabwe bwe lyali baali obusiriivu mukaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano (603,550).#Kubal 1:46 33Naye Abaleevi tebaabalibwa mu baana ba Isiraeri; nga Mukama bwe yalagira Musa.#Kubal 1:47 34Abaana ba Isiraeri bwe baakola bwe batyo; nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa, bwe baasiisiranga bwe batyo awali ebendera zaabwe, era bwe batyo bwe baatambulanga, buli muntu ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali.
Attualmente Selezionati:
Okubala 2: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: