Okubala 17
17
Omuggo gwa Alooni guloka
1Mukama n'agamba Musa nti, 2“Gamba abaana ba Isiraeri, bakuwe emiggo kkumi n'ebiri (12), gumu okuva ku buli mukulu w'ekika, owandiike erinnya lya buli mukulu w'ekika ku muggo gwe. 3Era owandiike erinnya lya Alooni ku muggo gw'ab'ekika kya Leevi, kubanga buli mukulu wa Kika anaaba n'omuggo gumu. 4Era onoogiteeka mu Weema ey'okusisinkanirangamu, mu maaso g'essanduuko ey'endagaano we nsisinkanira nammwe.#Kuv 25:22 5Kale olunaatuuka, omuntu gwe nnaalonda omuggo gwe gunaaloka, ekyo kye kinaamalawo okwemulugunya kw'abaana ba Isiraeri okw'olutata.”#Kubal 16:5,11 6Musa n'agamba abaana ba Isiraeri; era abakulu baabwe bonna ne bamuwa emiggo. Buli mukulu wa kika omuggo gumu, ng'ebika byabwe bwe biri, gy'emiggo kkumi n'ebiri (12); n'omuggo gwa Alooni gwali wamu nagyo. 7Musa n'ateeka emiggo mu Weema, mu maaso g'essanduuko ey'endagaano.#Kuv 38:21 8Ku lunaku olwaddirira, Musa bwe yayingira mu Weema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama, n'alaba ng'omuggo gwa Alooni ogw'ab'omu kika kya Leevi, gulose ne guleeta omutunsi, ne gusansula, ne gubala ebibala nga byengevu. 9Musa n'aggyayo emiggo gyonna, n'agifulumya n'agitwalira abaana ba Isiraeri bonna ne bagikebera, buli mukulu wa kika n'atwala ogugwe. 10Mukama n'agamba Musa nti, “Zzaayo omuggo gwa Alooni mu maaso g'essanduuko ey'endagaano, gukuumibwenga, gube akabonero akalabula abajeemu, nti bajja kufa, bwe batakomya kunneemulugunyiza.”#Kubal 16:38, Beb 9:4 11Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira.
12Abaana ba Isiraeri ne bagamba Musa nti, “Laba, tuzikirira, tufudde, fenna tufudde. 13Oba nga buli anaasemberanga okumpi n'Eweema ya Mukama anaafanga, olwo ffenna tetuuzikirire ne tuggwaawo?”#Kubal 1:53; 18:5
Attualmente Selezionati:
Okubala 17: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: