Eby'Abaleevi 21
21
Obutukuvu bwa bakabona
1Mukama n'agamba Musa nti, “Yogera ne bakabona, batabani ba Alooni, obagambe nti Tewabangawo muntu yenna ku bo, eyeeyonoona ng'akoma ku w'oluganda lwe afudde;#Ez 44:25 2Okuggyako abo abamuli okumpi mu luganda: nnyina ne kitaawe, mutabani we ne muwala we, ne muganda we, 3oba mwannyina atannafumbirwa, ali mu mikono gye. 4Teyeeyonoonanga olw'abo abafudde ku buko. 5Tebeesalanga kiwalaata, wadde okukomola ekirevu, n'okwesala emisale ku mibiri gyabwe.#Leev 19:27,28, Ma 14:1, Ez 44:20 6Banaabanga batukuvu eri Katonda waabwe, so tebavumisanga linnya lya Katonda waabwe; kubanga bawaayo ebiweebwayo ebya Mukama ebyokebwa n'omuliro, gwe mugaati gwa Katonda waabwe; kyebanaavanga babeera abatukuvu.#Leev 3:11; 18:21; 19:12 7Kabona tawasanga mukazi mwezi, oba eyagwagwawazibwa, oba eyagobebwa bba; kubanga kabona mutukuvu eri Katonda we.#Leev 21:14, Ez 44:22 8Kyonoovanga omutukuza; kubanga awaayo omugaati gwa Katonda wo; anaabanga mutukuvu gy'oli; kubanga nze Mukama abatukuza ndi mutukuvu.#Leev 20:7,8; 22:9,16 9Era muwala wa kabona yenna, bw'aneevumisanga nga yeefuula omwenzi, ng'avumisa kitaawe; anaayokebwanga omuliro.”#Lub 38:24
10“N'oyo anaabanga kabona asinga obukulu, eyafukibwako amafuta, n'ayawulibwa okwambala ebyambalo by'obwa kabona, tasumululenga nviiri ze, so taayuzenga byambalo bye olw'okukungubaga.#Kuv 29:29, Leev 10:6; 16:32, Kubal 35:25 11Taasembererenga mulambo gwonna, wadde ogwa kitaawe oba ogwa nnyina,#Leev 21:1,2, Kubal 19:14 12so talekanga mirimu gy'awatukuvu olw'abafu, kubanga yafukibwako amafuta amatukuvu aga Katonda.#Leev 8:12,30; 10:7 13Era anaawasanga omukazi atannamanya musajja.#Ez 44:22 14Tawasanga nnamwandu, oba eyagobebwa bba, oba eyagwagwawazibwa, oba omwenzi, wabula awasanga omuwala ow'omu bantu be, atannamanya musajja. 15So tavumisanga zzadde lye mu bantu be; kubanga nze ndi Mukama amutukuza.” 16Mukama n'agamba Musa nti,#Leev 21:8 17Gamba Alooni nti, “Buli muntu yenna ow'oku zzadde lyo mu mirembe gyabwe gyonna anaabangako obulema, tasemberanga okuwaayo ekiweebwayo eky'omugaati gwa Katonda we.#Leev 10:3, Kubal 16:5 18Omuntu yenna anaabangako obulema: omuzibe w'amaaso, awenyera, eyayonooneka ennyindo, oba aliko ekintu kyonna ekikyamu ku mubiri gwe,#Leev 22:22-24, Ma 23:1 19eyamenyeka okugulu, eyamenyeka omukono, 20ow'ebbango, omutuutuuli, aliko obulema ku liiso, alina obuwere, omubootongo, oba eyayatika enjagi; 21tewabangawo muntu wa ku zzadde lya Alooni kabona, aliko obulema, anaasemberanga okuwaayo ebiweebwayo ebya Mukama ebyokebwa n'omuliro n'ekiweebwayo eky'omugaati gwa Katonda. 22Ow'engeri eyo, anaalyanga ku mugaati gwa Katonda we, ku mugaati omutukuvu ennyo, era ne ku mutukuvu.#Leev 14:13; 24:9, Kubal 18:9,19 23Kyokka tayingiranga awali eggigi, so tasembereranga kyoto, kubanga aliko obulema; alemenga okuvumisa awatukuvu wange: kubanga nze ndi Mukama abitukuza.” 24Awo Musa n'agamba Alooni ne batabani be, ne Isiraeri yenna ebigambo ebyo.
Attualmente Selezionati:
Eby'Abaleevi 21: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: