Logo YouVersion
Icona Cerca

Yoswa 3

3
Abaana ba Isiraeri basomoka Yoludaani
1Yoswa n'akeera enkya n'agolokoka, ne bava mu Sittimu, ne batuuka ku Yoludaani, ye n'abaana ba Isiraeri bonna; ne basulawo nga tebannasomoka. 2Oluvannyuma lwe nnaku ssatu abakulembeze ne bayita wakati mu lusiisira;#Yos 1:10,11 3ne balagira abantu, nga boogera nti, “Bwe munaalaba essanduuko ey'endagaano ya Mukama Katonda wammwe, ne bakabona Abaleevi nga bagyetisse, ne mulyoka muva mu kifo kyammwe, ne mugigoberera.#Ma 31:9,25 4Naye wanaabaawo ebbanga wakati wammwe nayo, ng'emikono enkumi bbiri (2,000) egigerebwa, temugisemberera, mulyoke mumanye ekkubo eribagwanidde okuyitamu; kubanga okutuuka kaakano temunnayita mu kkubo lino.”#Kuv 19:12 5Yoswa n'agamba abantu nti, “Mwetukuze, kubanga enkya Mukama anaakola eby'amagero mu mmwe.”#Kuv 19:10,14,15, Leev 20:7, Kubal 11:18, Yos 7:13 6Yoswa n'agamba bakabona, ng'ayogera nti, “Musitule essanduuko ey'endagaano, musomoke mukulembere abantu.” Ne basitula essanduuko ey'endagaano n'ebakulembera abantu. 7Mukama n'agamba Yoswa nti, “Leero n'atanula okukugulumiza mu maaso g'Abaisiraeri bonna, bamanye nti, nga bwe nnali ne Musa, bwe ntyo bwe nnaabeeranga naawe.#Yos 1:5; 4:14, 1 Byom 29:25 8Era onoolagira bakabona abasitula essanduuko ey'endagaano, ng'oyogera nti, ‘Bwe munaatuuka ku mabbali g'amazzi aga Yoludaani, munaayimirira mu mazzi ago.’ ”#Yos 3:17
9Yoswa n'agamba abaana ba Isiraeri nti, “Mujje wano, muwulire ebigambo bya Mukama Katonda wammwe.” 10Yoswa n'ayogera nti, “Ku kino kwe munaamanyira nga Katonda omulamu ali mu mmwe, era nga talirema kugoba mu maaso gammwe Abakanani, n'Abakiiti, n'Abakiivi, n'Abaperizi, n'Abagirugaasi, n'Abamoli, n'Abayebusi.#Kuv 33:2, Ma 7:1, Zab 44:2 11Laba, essanduuko ey'endagaano ya Mukama w'ensi zonna, ebakulembera okusomoka Yoludaani. 12Kale kaakano mwerondere abasajja kkumi na babiri (12) mu bika bya Isiraeri, buli kika omu.#Kubal 13:2, Yos 4:2,4 13Awo, ebigere bya bakabona abasitula essanduuko ya Mukama, Mukama w'ensi zonna bwe biribeera mu mazzi ga Yoludaani, amazzi ga Yoludaani ne galyoka gayimirizibwa okukulukuta, amazzi agava engulu; ne gayimirira entuumu wamu.”#Kuv 15:8, Zab 78:13; 114:3 14Awo, abantu bwe baava mu weema zaabwe, okusomoka Yoludaani, bakabona abaasitula essanduuko ey'endagaano nga bakulembedde abantu;#Bik 7:44,45 15era abaasitula essanduuko bwe baatuuka ku Yoludaani, ebigere bya bakabona abaasitula essanduuko ne byennyika ku mabbali g'amazzi (kubanga Yoludaani gwanjaala ku ttale lyagwo lyonna mu biro byonna eby'amakungula),#Yos 4:18; 5:10,12, 1 Byom 12:15 16amazzi agaava engulu ne galyoka gayimirira ne getuuma entuumu wamu, wala nnyo, ku Adamu, ekibuga ekiriraanye e Zalesani; n'ago agakka ku nnyanja ey'e Alaba, ye nnyanja ey'omunnyo, ne gaggweerawo ddala, abantu ne basomokera awaliraanye e Yeriko.#Kuv 14:22 17Bakabona abaasitula essanduuko ey'endagaano ya Mukama ne bayimirira ne banywera ku lukalu wakati mu Yoludaani, n'Abaisiraeri bonna ne bayita awakalu, okutuusa eggwanga lyonna lwe lyayitira ddala mu Yoludaani.#Kuv 14:29

Attualmente Selezionati:

Yoswa 3: LBR

Evidenzia

Copia

Confronta

Condividi

None

Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi