Logo YouVersion
Icona Cerca

Yoswa 21

21
1Awo abakulu b'ennyumba za bakitaabwe ez'Abaleevi ne bajja eri Eriyazaali kabona n'eri Yoswa omwana wa Nuuni n'eri abakulu b'ennyumba za bakitaabwe ez'ebika eby'abaana ba Isiraeri;#Yos 14:1 2ne babagambira mu Siiro mu nsi ya Kanani nti, “Mukama yalagira ng'ayita mu Musa okutuwa ebibuga eby'okubeeramu, n'ebyalo ebiriraanye, (ettale ery'okulundiramu) ente zaffe.”#Kubal 35:2, Yos 18:1 3Abaana ba Isiraeri ne bawa Abaleevi mu busika bwabwe, nga Mukama bwe yalagira, ebibuga bino n'ettale lyabyo.
4N'akalulu ne kavaamu enda ez'Abakokasi, n'abaana ba Alooni kabona, abaali ab'ekika ky'Abaleevi, ne baweebwa akalulu mu kika kya Yuda, ne mu kika eky'Abasimyoni, ne mu kika kya Benyamini, ebibuga kkumi na bisatu (13).#Kuv 6:16,20,23, Kubal 3:17-20
5N'abaana ba Kokasi abalala ne baweebwa akalulu mu nda ez'ekika kya Efulayimu, ne mu kika kya Ddaani, ne mu kitundu eky'ekika kya Manase, ebibuga kkumi (10).
6N'abaana ba Gerusoni ne baweebwa akalulu mu nda ez'ekika kya Isakaali, ne mu kika kya Aseri, ne mu kika kya Nafutaali, ne mu kitundu eky'ekika kya Manase mu Basani, ebibuga kkumi na bisatu (13).
7Abaana ba Merali ne baweebwa ng'enda zaabwe bwe zaali mu kika kya Lewubeeni, ne mu kika kya Gaadi, ne mu kika kya Zebbulooni, ebibuga kkumi na bibiri (12).
8N'abaana ba Isiraeri ne babawa n'obululu Abaleevi ebibuga ebyo n'ettale lyabyo, nga Mukama bwe yalagira ng'ayita mu Musa.#Yos 14:3-5 9Ne babawa mu kika eky'abaana ba Yuda, ne mu kika eky'abaana ba Simyoni, ebibuga bino ebigenda okumenyebwa, 10ne biba by'abaana ba Alooni, ab'enda ez'Abakokasi, ab'omu baana ba Leevi; kubanga omugabo gwabwe gwe gwasooka. 11Ne babawa Kiriasualuba, (Aluba oyo yali) kitaawe wa Anaki, (ye Kebbulooni), mu nsi ey'ensozi eya Yuda, n'ebyalo byakyo ebikyetoolodde.#Yos 14:13-15; 20:7, 1 Byom 6:54-60 12Naye ennimiro z'ekibuga n'ebyalo byakyo ne babiwa Kalebu omwana wa Yefune okuba obusika bwe.
13Ne bawa abaana ba Alooni kabona, Kebbulooni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Libuna n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; 14ne Yattiri n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ne Esutemoa n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; 15ne Koloni n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ne Debiri n'ebyalo byakyo ebiriraanye; 16ne Aini n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ne Yuta n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, (ne) Besusemesi n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga mwenda (9) mu bika ebyo ebibiri. 17Ne mu kika kya Benyamini, Gibyoni n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, Geba n'ebyalo byakyo ebikiriraanye;#Yos 9:3 18Anasosi n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ne Alumoni n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga bina (4).#Yer 1:1 19Ebibuga byonna eby'abaana ba Alooni, bakabona, byali ebibuga kkumi na bisatu (13) n'ebyalo byabyo ebibiriraanye.
20N'enda ez'abaana ba Kokasi, Abaleevi, be baana ba Kokasi abalala, ne balya ebibuga eby'akalulu kaabwe mu kika kya Efulayimu.#1 Byom 6:66-70 21Ne babawa Sekemu n'ebyalo byakyo ebikiriraanye mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Gezeri n'ebyalo byakyo ebiriraanye;#Yos 20:7 22ne Kibuzaimu n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ne Besukolooni n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga bina (4). 23Ne mu kika kya Ddaani, Eruteke n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, Gibbesoni n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; 24Ayalooni n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, Gasulimmoni n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga bina (4). 25Ne mu kitundu eky'ekika kya Manase, Taanaki, n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ne Gasulimmoni n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga bibiri (2). 26Ebibuga byonna eby'enda ez'abaana ba Kokasi abalala byali kkumi (10) n'ebyalo byabyo ebibiriraanye.
27(Ne bawa) abaana ba Gerusoni, ab'enda ez'Abaleevi, mu kitundu eky'ekika kya Manase Golani mu Basani n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi; ne Beesutera n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga bibiri (2).#Yos 20:8, 1 Byom 6:71-76 28Ne mu kika kya Isakaali, Kisioni n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, Daberasi n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; 29Yalamusi n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, Engannimu n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga bina (4). 30Ne mu kika kya Aseri, Misali n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, Abudoni n'ebyalo byakyo ebiriraanye; 31Kerukasi n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ne Lekobu n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga bina (4). 32Ne mu kika kya Nafutaali, Kedesi mu Ggaliraaya n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Kammasudoli n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ne Kalutani, n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga bisatu (3). 33Ebibuga byonna eby'Abagerusoni ng'enda zaabwe bwe zaali byali ebibuga kkumi na bisatu (13) n'ebyalo byabyo ebibiriraanye.
34(Ne bawa) enda ez'abaana ba Merali, (be) Baleevi abalala, mu kika kya Zebbulooni, Yokuneamu n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ne Kaluta n'ebyalo byakyo ebikiriraanye,#1 Byom 6:77-81 35Dimuna n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, Nakalali n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga bina (4). 36Ne mu kika kya Lewubeeni, Bezeri n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ne Yakazi n'ebyalo byakyo ebikiriraanye,#Yos 20:8 37Kedemosi n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ne Mefaasi n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga bina (4). 38Ne mu kika kya Gaadi, Lamosi mu Gireyaadi n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Makanayimu n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; 39Kesuboni n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, Yazeri n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; byonna ebibuga bina (4).#Yos 13:26 40Ebyo byonna byali bibuga by'abaana ba Merali ng'enda zaabwe bwe zaali, ze nda endala ez'Abaleevi; n'akalulu kaabwe kaali ebibuga kkumi na bibiri (12).
41Ebibuga byonna eby'Abaleevi (ebyali) wakati mu butaka obw'abaana ba Isiraeri byali ebibuga ana mu munaana (48) n'ebyalo byabyo ebibiriraanye.#Kubal 35:7 42Ebibuga ebyo byonna byalina ebyalo byabyo ebibyetoolodde; era bwe byali bwe bityo ebibuga ebyo byonna.
43Mukama bwe yawa bw'atyo Abaisiraeri ensi yonna gye yalayirira okuwa bajjajjaabwe; ne bagirya, ne bagibeeramu.#Lub 13:15; 16:3; 28:13 44Mukama n'abawummuza enjuyi zonna, nga byonna bye yalayirira bajjajjaabwe; so tewali muntu mu balabe baabwe bonna eyayimirira mu maaso gaabwe; Mukama yawaayo abalabe baabwe bonna mu mukono gwabwe.#Ma 7:24, Yos 2:24; 11:23; 23:9 45Tewali kigambo ekitaatuuka mu birungi byonna Mukama bye yagamba ennyumba ya Isiraeri; byonna byatuuka.#Yos 23:14, Is 55:11

Attualmente Selezionati:

Yoswa 21: LBR

Evidenzia

Copia

Confronta

Condividi

None

Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi