Yoswa 19
19
Ekitundu ekyaweebwa ekika kya Simyoni
1Akalulu ak'okubiri bwekaakubibwa ekika kya Simyoni ne kirondebwa, ne kiweebwa ekitundu kyakyo ekyali wakati wekyo ab'ekika kya Yuda kye bafuna.#Lub 49:7 2Ekitundu kyabwe kyalimu ebibuga bino: Beeruseba oba Seba, ne Molada;#1 Byom 4:28-33 3Kazalusuali, Bala, ne Ezemu; 4Erutoladi, Besuli, ne Koluma; 5Zikulagi, Besumalukabosi ne Kazalususa; 6Besulebaosi ne Salukeni; ebibuga byonna byali ebibuga kkumi na bisatu, n'ebyalo byabyo; 7Waliwo ne bibuga bino: Ayini, Limmoni, Eseri ne Asani; bye bibuga bina, n'ebyalo byabyo, 8Ebibuga ebyo n'ebyalo ebibyetoolodde okutuukira ddala ku Baalasubeeri ye Laama, obukiikaddyo; bwe butaka obwaweebwa ekika kya Simyoni ng'enda zaabwe bwe zaali. 9Obutaka obw'ekika kya Simyoni; bwali wamu n'obw'ekika kya Yuda, olw'okuba omugabo ogw'abaana ba Yuda gw'abayitirirako obunene, ab'ekika kya Simyoni kyebaava bafuna obutaka wakati mu butaka bw'ekika kya Yuda.
Ekitundu ekyaweebwa ekika kya Zebbulooni
10Akalulu ak'okusatu bwekaakubibwa, ekika kya Zebbulooni ne kirondebwa. Ekitundu kye bafuna kyatuuka ku Salidi; 11Okuva awo ensalo yaabwe yalaga bugwanjuba okutuuka e Malala neyeyongerayo e Dabbesesi okutuukira ddala ku mugga Yokuneamu;#Yos 12:22 12okuva e Salidi n'egenda ku ludda olw'ebuvanjuba okutuukira ddala ku nsalo ya Kisulosutaboli, neyeyongerayo ku Daberasi netuuka e Yafiya; 13okuva awo n'eyita ku ludda olw'ebuvanjuba n'etuuka e Gasukeferi neyeyongerayo e Esukazini n'ekoma ku Limmoni ekituuka ku Nea; 14Ku luuyi olw'obukiikakkono ensalo yeetooloola netuuka ku Kannasoni neyeyongerayo n'ekoma ku kiwonvu Ifutakeri; 15Ensalo yabwe yatwaliramu ebibuga kkumi na bibiri (12), n'ebyalo byamu, ebimu ku bibuga ebyo bye bino: Kattasi, Nakalali, Simuloni, Idala ne Besirekemu.#Balam 1:30 16Obwo bwe butaka obwaweebwa ekika kya Zebbulooni, ebibuga ne byalo byabyo ng'enda zaabwe bwe zaali.
Ekitundu ekyaweebwa ekika kya Isakaali
17Akalulu ak'okuna bwekaakubibwa, ekika kya Isakaali n'ekirondebwa, n'ekiweebwa obutaka bwakyo. 18Ekitundu kye bafuna kyalimu: Yezuleeri, Kesulosi ne Sunemu; 19Kafalaimu, Sioni ne Anakalasi; 20Labbisi, Kisioni ne Ebezi; 21Lemesi, Engannimu, Enkadda ne Besupazzezi; 22ensalo n'etuuka ku Taboli, Sakazuma ne Besusemesi; n'ekoma ku mugga Yoludaani; bye bibuga kkumi na mukaaga (16), n'ebyalo byabyo. 23Obwo bwe butaka obwaweebwa ekika kya Isakaali ng'enda zaabwe bwe zaali.
Ekitundu ekyaweebwa ekika kya Aseri
24Akalulu ak'okutaano bwekaakubibwa, ekika kya Aseri n'ekirondebwa n'ekiweebwa obutaka bwakyo ng'enda zaabwe bwe zaali. 25Ekitundu kye bafuna kyalimu: Kerukasi, Kali, Beteni ne Akusafu; 26Alammereki, Amadi ne Misali; n'okutuuka ku Kalumeeri ne Sikolulibunasi ku luuyi olw'ebugwanjuba; 27Ensalo yabwe ne yeyongerayo ku luuyi olw'ebuvanjuba n'etuuka ku Besudagoni, ne ku Zebbulooni, ne ku kiwonvu Ifutakeri ku bukiikakkono, neyeyongerayo okutuuka e Besuemeki ne Neyeri. Okuva awo yeyongerayo e Kabuli mu bukiikakkono;#1 Bassek 9:13 28neyeyongerayo e Ebuloni, Lekobu, Kammoni, Kana, okutuukira ddala e Sidoni;#Balam 1:31 29ensalo neweta okudda Laama netuuka ku kibuga Ttuulo ekiriko ekigo; neweta nedda e Kosa okutuuka ku nnyanja eyawakati. 30Waliwo ne bibuga bino: Uma, Afiki ne Lekobu; ebibuga byonna byali abiri mu bibiri (22), n'ebyalo byabyo. 31Obwo bwe butaka obwaweebwa ekika kya Aseri ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga n'ebyalo byabyo.
Ekitundu ekyaweebwa ekika kya Nafutaali
32Akalulu ak'omukaaga bwekaakubibwa ekika kya Nafutaali n'ekirondebwa, n'ekiweebwa obutaka bwakyo ng'enda zaabwe bwe zaali. 33Ensalo yaabwe yava e Kerefu netuuka ku mwera gwe Zaanannimu neyeyongerayo okutuuka Adaminekebu, ne Yabuneeri ne Lakkumu n'ekoma ku Yoludaani, 34ensalo neweta nedda ku luuyi olw'ebugwanjuba okutuuka Azunosutaboli neyeyongerayo netuuka ku Kukkoki ne Zebbulooni ku luuyi olw'obukiikaddyo; neva awo yeyongerayo okutuuka ku Aseri ku luuyi olw'ebugwanjuba, neyita ku Yuda n'ekoma ku Yoludaani ebuvanjuba. 35N'ebibuga bye bafuna ebiriko ebigo byali: Ziddimu, Zeri, Kammasi, Lakkasi ne Kinneresi; 36Adama, Laama, ne Kazoli;#Yos 11:1,20 37Kesedi, Ederei, ne Enkazoli; 38Ironi, Migudaleri, Kolemu, Besuanasi ne Besusemesi; ebibuga byonna byali kkumi na mwenda, n'ebyalo byabyo. 39Obwo bwe butaka bwe kika kya Nafutaali ne bibuga ne byalo byabyo ng'enda zaabwe bwe zaali.
Ekitundu ekyaweebwa ekika kya Ddaani
40Akalulu ak'omusanvu bwekaakubibwa ekika kya Ddaani n'ekirondebwa, n'ekiweebwa obutaka bwakyo ng'enda zaabwe bwe zaali. 41Ekitundu kye bafuna kyalimu: Zola, Esutaoli, ne Irusemesi; 42Saalabbini, Ayalooni ne Isula;#Balam 1:35 43Eroni, Timuna ne Ekuloni;#Balam 14:1 44Eruteke, Gibbesoni ne Baalasi; 45Yekudi, Beneberaki ne Gasulimmoni; 46Meyalakoni, ne Lakoni n'okutukira ddala ku nsalo ne Yafo.#Bik 9:36,43 47Awo ab'omu kika kya ddaani bwe baafiirwa ekitundu kyabwe, ne bagenda e Lesemu, ne bakirumba ne bakirwanyisa, ne bakiwamba, ne batta abantu baamu bonna, ne bakituuma erinnya Ddaani, erya jjajjaabwe.#Balam 1:34,35; 18:1,27-31 48Obwo bwe butaka obw'ekika kya Ddaani, ebibuga ne byalo byabyo ng'enda zaabwe bwe zaali.
Okugabanya ensi okwasembayo
49Abaana ba Isiraeri bwe bamala okugabanyamu ensi ebitundu, buli kika ne kifuna ekitundu kyakyo, awo ne balyoka bawa Yoswa mutabani wa Nuuni ekitundu ekikye; 50nga Mukama bwe yalagira ne bamuwa ekibuga Timunasusera kyeyasaba ekiri mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu; naakizimba n'abeera omwo.#Yos 24:30, Balam 2:9
51Obwo bwe butaka Eriyazaali kabona ne Yoswa omwana wa Nuuni n'abakulu b'ebika eby'abaana ba Isiraeri bwe baagaba nga bakuba obululu mu Siiro mu maaso ga Mukama mu mulyango ogw'eweema ey'okusisinkanirangamu. Bwe batyo bwe baamalira ddala okugabanya ensi.#Yos 14:1; 18:1,10
Attualmente Selezionati:
Yoswa 19: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: