Yoswa 1
1
Abaana ba Isiraeri beetegeka okuyingira mu nsi ensuubize (1:1—5:15)
1Awo olwatuuka Musa omuweereza wa Mukama, bwe yamala okufa, Mukama n'agamba Yoswa, omwana wa Nuuni, omuweereza wa Musa, ng'ayogera nti,#Kubal 12:7, Ma 1:38; 34:5, Beb 3:5 2“Musa, omuweereza wange, afudde; kale kaakano golokoka, osomoke omugga guno Yoludaani, ggwe n'abantu bano bonna, muyingire mu nsi gye mbawa bo, abaana ba Isiraeri. 3Buli kifo kye mulirinnyamu ekigere kyammwe, nkibawadde mmwe, nga bwe nnasuubiza Musa.#Ma 11:24 4Okuva mu ddungu n'olusozi luno Lebanooni, okutuuka ku mugga omunene Fulaati, ensi yonna ey'Abakiiti, era n'okutuuka ku nnyanja ennene ku luuyi olw'ebugwanjuba, we waliba esalo yammwe.#Lub 15:18, Kuv 23:31, Kubal 34:3-12 5Tewalibeera muntu yenna aliyimirira mu maaso go ennaku zonna ez'obulamu bwo; nga bwe nnabeeranga ne Musa, bwe ntyo bwe nnaabeeranga naawe; siikwabulirenga so siikulekenga.#Lub 28:15, Kuv 3:12, Ma 3:28; 7:24; 31:6,7,8, Yos 1:17,18; 3:7; 6:27, Beb 13:5 6Ddamu amaanyi, guma omwoyo; kubanga ggwe olisobozesa abantu bano okusikira ensi eno gye nnalayirira okuwa bajjajjaabwe. 7Naye mala okuddamu amaanyi, n'okuguma ennyo omwoyo, weekuumenga okole ng'amateeka gonna bwe gali, Musa, omuweereza wange, ge yakulagira. Togaviirangako ddala n'akatono, olyoke oweebwenga omukisa buli gy'onoogendanga yonna.#Ma 5:32; 28:14, Yos 23:6 8Ekitabo kino eky'amateeka tekiivenga mu kamwa ko, naye onookirowoolezangamu emisana n'ekiro, olyoke weekuumenga okukola nga byonna bwe biri ebikiwandiikiddwamu; kubanga bw'otyo bw'onooterezanga ekkubo lyo era bw'otyo bw'onooweebwanga omukisa.#Zab 1:2; 119:15 9Si nze nkulagidde? Ddamu amaanyi, guma omwoyo; totyanga, so teweekanganga; kubanga Mukama Katonda wo ali naawe buli gy'onoogendanga yonna.”#Ma 7:21; 31:6-8, Yos 1:18
Yoswa awa abantu ebiragiro
10Yoswa n'alyoka alagira abakulembeze b'abantu nti, 11“Muyite wakati mu lusiisira, mulagire abantu nti, ‘Mwetegekere emmere; kubanga mu nnaku ssatu mugenda kusomoka omugga guno Yoludaani, okuyingira mu nsi, Mukama Katonda wammwe gy'abawa okubeeramu.’ ”#Ma 9:1; 11:13
12Yoswa n'agamba ab'ekika kya Lewubeeni n'ekya Gaadi, n'ekitundu eky'ekika kya Manase nti 13“Mujjukire ekigambo Musa omuweereza wa Mukama kye yabagamba, ng'ayogera nti, ‘Mukama Katonda wammwe abawa ekifo eky'okuwummula, era alibawa ensi eno.’#Kubal 32:20-28 14Bakazi bammwe, n'abaana bammwe abato, n'ebisibo byammwe, balisigala mu nsi eno Musa gye yabawa emitala wa Yoludaani; naye abasajja bonna abazira, abalwanyi, balisomoka nga bakutte eby'okulwanyisa byabwe nga bakulembeddemu baganda baabwe; 15okutuusa Mukama lw'alimala okuwa baganda bammwe ekiwummulo, awamu nammwe, olwo n'abo baatwale ensi Mukama, Katonda wammwe gy'abawa bo. Olwo ne mulyoka muddayo mu butaka bwammwe bwe mwafuna ebuvanjuba bw'Omugga Yoludaani, Musa omuweereza wa Mukama bwe yabawa.”#Ma 3:20, Yos 22:4 16Ne bamuddamu Yoswa nti, “Byonna by'otulagidde tulibikola, era buli gy'onootutumanga tunaagendanga. 17Nga bwe twawuliranga Musa mu bigambo byonna, naawe tunaakuwuliranga bwe tutyo; kyokka Mukama Katonda wo abe naawe, nga bwe yali ne Musa.#Yos 1:5 18Buli muntu yenna anaajeemeranga ekiragiro kyo, era ataawulirenga bigambo byo mu byonna by'onoomulagiranga, anattibwanga; naye ddamu amaanyi, guma omwoyo.”#Ma 17:12
Attualmente Selezionati:
Yoswa 1: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: