Ekyabalamuzi 4
4
Omulamuzi Debola ne Balaki
1Ekudi bweyamala okufa, abaana ba Isiraeri ne baddamu nate okukola ekyali mu maaso Mukama ekibi,#Balam 2:19 2Mukama n'abagabula mu mukono gwa Yabini, kabaka wa Kanani, eyafugiranga mu Kazoli; n'omugabe w'eggye yali Sisera, eyabeeranga mu Kalosesi eky'ab'amawanga.#Yos 11:1,10, Balam 2:14, 1 Sam 12:9, Zab 83:9 3Yabini yalina amagaali lwenda (900), ag'ebyuma, n'afuga Isiraeri n'obukambwe okumala emyaka abiri (20). Abaisiraeri ne bakaabirira Mukama abayambe.#Balam 1:19; 3:9
4Debola, nnabbi, muka Lappidosi ye yalamulanga Isiraeri mu biro ebyo. 5Yatuulanga wansi w'olukindu lwa Debola olwali wakati w'e Laama n'e Beseri mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi; eyo abaana ba Isiraeri gye bagenda nga okubasalira emisango. 6Awo n'atumya Balaki mutabani wa Abinoamu mu kibuga Kedesu eky'omu Nafutaali, n'amugamba nti, “Mukama, Katonda wa Isiraeri, akulagidde nti, ‘Twala abasajja omutwalo gumu (10,000), ku b'omu Kika kya Nafutaali n'ekya Zebbulooni, bakuŋŋaanire ku Lusozi Taboli.#Yos 19:37, Balam 8:18, Beb 11:32 7Sisera omugabe wa Yabini, nja kumuleeta okukulwanyisa ku mugga Kisoni, ajja kujja n'amagaali ge n'abalwanyi be, nange nja kumugabula mu mukono gwo. ’ ”#Balam 3:28; 4:13; 5:21, 1 Bassek 18:40, Zab 83:9 8Balaki n'amugamba nti, “Bw'oligenda nange, kale nange ndigenda, naye bw'otoligenda nange, nange sirigenda.” 9Debola n'amugamba, “Mazima ndigenda naawe, naye ekitiibwa eky'obuwanguzi tekiriba kikyo, kubanga Mukama aligabula Sisera mu mukono gw'omukazi.” Awo Debola n'asituka, n'agenda ne Balaki e Kedesi. 10Balaki n'akunga ab'ekika kya Zebbulooni n'ekya Nafutaali abasajja omutwalo gumu (10,000), ne bamugoberera ne bakuŋŋaanira e Kedesi; ne Debola n'agenda wamu nabo.#Balam 5:18 11Mu kiseera ekyo, Keberi Omukeeni yali yeeyawudde ku Bakeeni banne, abaana ba Kobabu kitaawe wa muka Musa, n'asimba eweema ye awali omwera mu Zaanannimu, okumpi ne Kedesi.#Kubal 10:29, Balam 1:16 12Awo bwe babuulira Sisera nti Balaki mutabani wa Abinoamu ayambuse ku lusozi Taboli, 13Sisera n'akuŋŋaanya amagaali ge gonna, amagaali ag'ekyuma lwenda (900), n'abantu bonna abaali naye, okuva ku Kalosesi eky'ab'amawanga okutuusa ku mugga Kisoni.#Balam 4:3 14Debola n'agamba Balaki nti, “Genda! Mukama akukulembedde. Olwaleero akuwadde okuwangula Sisera.” Awo Balaki n'akkirira olusozi Taboli wamu ne basajja be omutwalo gumu (10,000).#Ma 9:3, 2 Sam 5:24, Zab 68:7, Is 52:12 15Mukama n'afufuggaza Sisera n'amagaali ge gonna n'eggye lye lyonna n'eby'okulwanyisa, mu maaso ga Balaki. Sisera n'ava mu ggaali ye, n'addusa bigere.#Kuv 14:14, Yos 10:10 16Balaki n'awondera amagaali n'eggye lya Sisera okutuuka e Kalosesi eky'ab'amawanga; eggye lya Sisera lyonna nerisanyizibwawo, newatasigala muntu.
17Naye Sisera n'adduka n'ebigere n'atuuka mu weema ya Yayeeri muka Keberi Omukeeni; kubanga Yabini kabaka we Kazoli n'ennyumba ya Keberi Omukeeni baali balina emirembe.#Balam 5:24 18Yayeeri n'afuluma okusisinkana Sisera, n'amugamba nti, “Kyama, mukama wange, oyingire ewange; totya.” N'akyama n'ayingira ewuwe mu weema n'amubikkako ekikunta. 19N'amugamba nti, “Nkwegayiridde, mpa otuzzi nnywe; kubanga ennyonta ennuma.” N'asumulula eddiba ery'amata, n'amunywesa, n'amubikkako.#Balam 5:25 20N'amugamba nti, “Yimirira mu mulyango gw'eweema, awo olunaatuuka, omuntu yenna bw'anajja n'akubuuza n'ayogera nti, ‘Omusajja yenna ali muno?’ naawe onooyogera nti Nedda.” 21Awo Yayeeri muka Keberi n'addira enkondo y'eweema, n'addira ennyondo mu mukono gwe, n'amusemberera ng'asooba, n'amukomerera enkondo mu kyenyi, n'eyitamu n'ekwata n'ettaka; kubanga yali yeebase otulo tungi; n'azirika n'afa.#Balam 5:26 22Balaki bwe yajja ng'awondera Sisera, Yayeeri n'afuluma okumusisinkana, n'amugamba nti, “Jjangu nkulage omusajja gw'onoonya.” Awo Balaki n'ayingira ne Yayeeri, n'asanga Sisera ng'agaŋŋalamye afudde, nga n'enkondo ekomereddwa mu kyenyi kye. 23Bw'atyo ku lunaku olwo, Katonda n'awa Abaisiraeri okuwangula Yabini kabaka wa Kanani. 24Omukono gw'abaana ba Isiraeri ne gweyongerayongera okunyigiriza Yabini kabaka wa Kanani okutuusa lwe bamuzikiririza ddala.
Attualmente Selezionati:
Ekyabalamuzi 4: LBR
Evidenzia
Copia
Confronta
Condividi
Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi
All rights are reserved to the Bible Society of Uganda.

: