Logo YouVersion
Icona Cerca

Ekyabalamuzi 1

1
Ekikolo ky'obutali bwesigwa bwa baana ba Isiraeri
(1:1—3:6)
Ab'ekika kya Yuda n'ekya Simyoni bawamba Adonibezeki
1Awo Yoswa bwe yamala okufa, abaana ba Isiraeri ne babuuza Mukama nti, “Kika ki ekinaasooka okulumba Abakanani okubalwanyisa?”#Kubal 27:21, Yos 24:29, Balam 20:18, 2 Sam 2:1 2Mukama n'addamu nti, “Ekika kya Yuda ky'ekinasooka okulumba; mbawadde okuwangula ensi eyo.” 3Ab'ekika kya Yuda ne bagamba ab'ekika kya Simyoni nti, “Mujje tugende fenna mu kitundu ekyatuweebwa tulwanyise Abakanani nga tuli wamu; era naffe bwe tutyo tuligenda nammwe mu kitundu kyammwe ekyabaweebwa.” Awo ab'ekika kya Simyoni ne bagenda nabo.#Yos 19:1,9, Balam 1:17 4Awo Yuda n'alumba Abakanani n'Abaperizi, Mukama n'abawa okubawangulira mu Bezeki ne babattamu abasajja omutwalo gumu (10,000). 5Ne basanga Adonibezeki mu Bezeki, ne bamulwanyisa, ne batta Abakanani n'Abaperizi. 6Naye Adonibezeki n'adduka; ne bamuwondera, ne bamukwata, ne bamusalako engalo ze ensajja n'ebigere bye ebisajja. 7Adonibezeki n'agamba nti, “Bakabaka ensanvu (70) be nnatemako engalo zaabwe ensajja n'ebigere byabwe ebisajja, baakuŋŋaanyanga obukunkumuka bw'emmere wansi w'emmeeza yange. Kaakano Katonda ansansudde ekyo kye nnabakola.” Ne bamutwala e Yerusaalemi, era eyo gye yafiira.#Leev 24:19, 1 Sam 15:33, Luk 16:21
Ekika kya Yuda kiwangula Yerusaalemi ne Kebbulooni
8Awo ab'ekika kya Yuda ne baalumba Yerusaalemi ne bakiwangula ne batta abantu bamu, ne bakimenyamenya, ne bakyokya omuliro.#Yos 15:63, Balam 1:21, 2 Sam 5:6 9Bwe baava awo ne balumba Abakanani ab'omu nsi ey'ensozi, ne mu bisenyi, ne mu nsi enkalu ey'omu bukiikaddyo ne babalwanyisa.#Yos 9:1; 10:40 10Bwe baava eyo ne balumba Abakanani abaali mu Kebbulooni edda ekyayitibwanga Kiriasualuba; ne batta Sesayi, Akimaani ne Talumaayi.#Kubal 13:22, Yos 14:15 11Ab'ekika kya Yuda bwe baava eyo ne balumba ekibuga Debiri edda ekyayitibwanga Kiriasuseferi.#Yos 15:49 12Omu ku basajja ba Yuda ayitibwa Kalebu n'agamba nti, “Oyo alirumba Kiriasuseferi n'akiwangula ndimuwa muwala wange Akusa n'amuwasa.” 13Awo Osunieri mutabani wa Kenazi, muto wa Kalebu, n'akilwanyisa n'akiwangula. Kalebu n'amuwa muwala we Akusa amuwase.#Balam 3:9 14Ku lunaku olw'embaga ey'obugole bwabwe, Osunieri n'akuutira Akusa okusaba kitaawe amuwe ennimiro. Awo Akusa n'ava ku ndogoyi ye, n'akka wansi. Kalebu n'amubuuza nti, “Oyagala ki?” 15Akusa n'agamba nti, “Mpa ekirabo; olw'okuba wanteeka mu nsi ey'obukiikaddyo, ompe n'enzizi z'amazzi.” Kalebu n'amuwa enzizi ez'engulu n'ez'emmanga.
Obuwanguzi bw'ekika kya Yuda n'ekya Benyamini
16Abaana b'Omukeeni, mukoddomi wa Musa ne bagenda n'ab'ekika kya Yuda nga bava e Yeriko ekibuga eky'enkindu, ne balaga mu nsi enkalu eri mu bukiikaddyo obwa Aladi mu Buyudaaya ne bagenda ne batuula n'abantu beeyo.#Kuv 2:18; 3:1, Kubal 10:29, Ma 34:3, Balam 3:13; 4:11, 1 Sam 15:6; 27:10 17Ab'omu kika kya Yuda ne bagenda ne baganda babwe ab'omu kika kya Simyoni, ne bawangula Abakanani abaali mu kibuga Zefasi, ne bakizikiririza ddala ne bakituuma erinnya Koluma.#1:17 Koluma mu Lwebbulaniya kitegeeza, “Okuzikirira.”#Kubal 14:45; 21:3, Balam 1:3 18Era ab'ekika kya Yuda ne bawangula Ggaza, Asukulooni ne Ekuloni ne bitundu ebibyetoolodde.#Yos 11:22; 13:3 19Mukama yali wamu n'abe kika kya Yuda ne bawangula abantu abaali mu nsi ey'ensozi, wabula ne batasobola kuwangula abantu abaatulanga mu bisenyi, kubanga abantu abo balina amagaali ag'ebyuma.#Yos 17:16,18, Balam 1:9 20Awo Kalebu n'aweebwa Kebbulooni nga Musa bwe yalagira, n'agobamu abaana abasatu ab'Anaki.#Ma 1:36, Yos 14:9,13, Balam 1:10 21Naye ab'ekika kya Benyamini ne batagoba ba Yebusi ababeeranga mu Yerusaalemi; naye Abayebusi ne batuula wamu n'ab'ekika kya Benyamini mu Yerusaalemi n'okutuusa kaakano.#Yos 15:63, Balam 1:8
Ab'ekika kya Efulayimu n'ekya Manase bawangula Beseri
22N'ennyumba ya Yusufu, era n'abo ne balumba Beseri, Mukama n'aba wamu nabo. 23N'ennyumba ya Yusufu ne batuma abakessi okuketta Beseri, edda ekibuga kyayitibwanga, Luzi.#Lub 28:19; 48:3, Yos 16:2 24N'abakessi ne balaba omusajja ng'ava mu kibuga, ne bamugamba nti, “Tulage, tukwegayiridde, we tunaayingirira mu kibuga, naffe tunaakukola bulungi.”#Yos 2:12,14; 6:23 25N'abalaga we banaayingirira mu kibuga, era n'ebatta ab'omu kibuga bonna n'ekitala, okuggyako omusajja oyo n'ab'omu nnyumba ye yonna. 26Omusajja oyo n'agenda mu nsi ey'Abakiiti, n'azimbayo ekibuga, n'akituuma erinnya Luzi, eryo lye linnya lyakyo ne leero.#Yos 1:4
Abantu abatagobwa baana ba Isiraeri
27Ab'ekika kya Manase tebagoba bantu abaatuula mu Besuseani n'ebyalo byakyo, wadde ab'omu Taanaki n'ebyalo byakyo, oba ab'e Doli n'ebyalo byakyo, wamu n'ab'e Ibuleamu ne byalo byakyo, n'ab'omu Megiddo ne byalo byakyo; naye Abakanani ne beeyongera okubeera mu nsi eyo.#Yos 17:11-13 28Awo abaana ba Isiraeri bwe beeyongera okuba ab'amaanyi, ne bawaliriza Abakanani okubakoleranga emirimu, naye ne batabagoberamu ddala.
29Ab'ekika kya Efulayimu ne batagoba ba Kanani abaatuulanga mu Gezeri; naye Abakanani ne beeyongera okubeera mu Gezeri wamu nabo.#Yos 16:10, 1 Bassek 9:16
30Ab'ekika kya Zebbulooni ne batagoba bantu abaatuulanga mu Kituloni, ne Nakaloli; naye Abakanani ne batuula wamu nabo, ne babawaliriza okubakoleranga emirimu.#Yos 19:15; 21:35
31Ab'ekika kya Aseri ne batagoba bantu abaatuulanga mu bibuga: Akko, Sidoni, Alabu, Akuzibu, Keruba, Afiki ne Lekobu; 32naye ab'ekika kya Aseri ne batuula wamu n'Abakanani kubanga tebaabagoba mu nsi.#Yos 19:24-30
33Ab'ekika kya Nafutaali ne batagoba bantu abaatuulanga mu Besusemesi, wadde abaatuulanga mu Besuanasi; naye ne batuula wamu n'Abakanani abaali bannannyini nsi; kyokka abaatuulanga mu Besusemesi ne Besuanasi ne babawalirizibwa Abaisiraeri okubakoleranga emirimu.#Yos 19:38
34Abamoli baasindiikiriza ab'omu kika kya Ddaani ne babazzaayo mu nsi ey'ensozi, ne batabakkiriza kukka mu lusenyi.#Yos 19:47,48, Balam 18:1 35Abamoli ne bongera okubeera mu Ayalooni, ne mu Saalubimu ne ku lusozi Eresi. Naye ab'omu kika kya Efulayimu n'ab'omu kika kya Manase ne babasinza amaanyi, ne babawaliriza okubakoleranga emirimu.#Yos 19:42 36Okuva mu bukiikaddyo obwa Seera, ensalo y'Abamoli yayitiranga mu ntikko ya Akulabbimu.

Attualmente Selezionati:

Ekyabalamuzi 1: LBR

Evidenzia

Copia

Confronta

Condividi

None

Vuoi avere le tue evidenziazioni salvate su tutti i tuoi dispositivi?Iscriviti o accedi