1
Ekyabalamuzi 7:2
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Mukama n'agamba Gidyoni nti, “Abantu abali naawe bayitiridde obungi nze okuwa okuwangula Abamidiyaani, kubanga Abaisiraeri bayinza okunneenyumiririzaako nga bagamba nti, ‘bawangudde lwa maanyi gaabwe.’
Confronta
Esplora Ekyabalamuzi 7:2
2
Ekyabalamuzi 7:7
Mukama n'agamba Gidyoni nti, “Nnaabalokola n'abasajja bisatu (300) abaakombye n'olulimi, ne ngabula Abamidiyaani mu mukono gwo; naye abantu abalala bonna beddireyo ewaabwe.”
Esplora Ekyabalamuzi 7:7
3
Ekyabalamuzi 7:3
Kale nno kaakano langirira mu bantu nti, ‘Buli atya era akankana, addeyo ewaabwe, ave ku lusozi Gireyaadi.’ ” Awo abantu emitwalo ebiri mu enkumi bbiri (22,000) ne baddayo ewaabwe, abantu omutwalo gumu (10,000) ne basigala.
Esplora Ekyabalamuzi 7:3
4
Ekyabalamuzi 7:4
Mukama n'agamba Gidyoni nti, “Abantu bakyali bangi; baserengese ku mazzi nange n'abakugeresezza eyo; awo olunaatuuka, eyo gwe nnaakugamba nti, ‘anaagenda naawe,’ ye anaagenda naawe; n'oyo gwe nnaakugamba nti, ‘taagende naawe,’ era taagende naawe.”
Esplora Ekyabalamuzi 7:4
5
Ekyabalamuzi 7:5-6
Gidyoni n'aserengesa abantu ku mazzi. Mukama n'amugamba nti, “Buli anaakomba amazzi n'olulimi lwe ng'embwa bw'ekomba, mwawule ku buli anaafukamira ku maviivi ge okunywa amazzi.” N'omuwendo gw'abo abaakomba n'olulimi, nga batadde engalo ku mumwa, baali abasajja bisatu (300), naye abantu abalala bonna ne bafukamira ku maviivi gaabwe okunywa amazzi.
Esplora Ekyabalamuzi 7:5-6