Abo abawadde obusobozi, okukola buli ngeri ya mirimu gyonna: egy'omusazi w'amayinja, n'egy'omudaliza, egya kaniki, n'egy'olugoye olw'effulungu, n'egy'olumyufu, n'egya bafuta ennungi, n'egy'omulusi. Basobola okukola emirimu gyonna egya buli ngeri, era n'okuyiiya eby'amagezi.