1
Olubereberye 37:5
EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
LBR
Yusufu n'aloota ekirooto, n'akibuulira baganda be; ne beeyongera nate okumukyawa.
Konpare
Eksplore Olubereberye 37:5
2
Olubereberye 37:3
Isiraeri yayagala Yusufu okusinga abaana be bonna, kubanga gwe yazaala ng'akaddiye; n'amutungira ekyambalo eky'amabala amangi.
Eksplore Olubereberye 37:3
3
Olubereberye 37:4
Baganda ba Yusufu ne balaba nga kitaabwe amwagala nnyo okubasinga bonna; ne bamukyawa, ne batayogera naye bya mirembe wabula eby'okuyomba.
Eksplore Olubereberye 37:4
4
Olubereberye 37:9
N'aloota nate ekirooto ekirala, n'akibuulira baganda be n'ayogera nti, “Laba, nnaloose ekirooto ekirala; ng'enjuba n'omwezi n'emmunyeenye ekkumi n'emu (11) nga binvuunamira.”
Eksplore Olubereberye 37:9
5
Olubereberye 37:11
Baganda be ne bamukwatirwa obuggya; naye kitaawe n'akuumanga ebigambo ebyo bye yayogera.
Eksplore Olubereberye 37:11
6
Olubereberye 37:6-7
N'abagamba nti, “Mbeegayiridde, muwulire ekirooto kino kye nnaloose; Kale twabadde tusiba ebinywa by'eŋŋaano mu nnimiro, ekinywa ekyange ne kisituka, ne kyesimba. Ebinywa ebyammwe ne bijja ne bikyetooloola, ne bivuunamira ekinywa ekyange.”
Eksplore Olubereberye 37:6-7
7
Olubereberye 37:20
Kale nno mujje tumutte, tumusuule mu bumu ku bunnya, tulyogera nti, Ensolo enkambwe ye yamulya; ne tulyoka tulaba ebirooto bye bwe biriba.”
Eksplore Olubereberye 37:20
8
Olubereberye 37:28
Abasuubuzi Abamidiyaani bwe baali bayitawo, baganda ba Yusufu ne bamusika ne bamuggya mu bunnya, ne bamutunda mu ba Isimaeri abo, ebitundu by'effeeza abiri (20). Ne batwala Yusufu mu Misiri.
Eksplore Olubereberye 37:28
9
Olubereberye 37:19
Ne bagambagana nti, “Laba, ssekalootera wuuyo ajja.
Eksplore Olubereberye 37:19
10
Olubereberye 37:18
Ne bamulengera ng'akyali wala, era bwe yali nga tannabatuukako, ne beekobaana okumutta.
Eksplore Olubereberye 37:18
11
Olubereberye 37:22
Lewubeeni era n'agamba nti, “Temuyiwa musaayi. Mumusuule mu bunnya buno obuli mu ddungu, naye temumukolako kabi.” Yayogera bw'atyo ng'ayagala amuwonye, amuddize kitaawe.
Eksplore Olubereberye 37:22