YouVersion Logo
Search Icon

MATAYO 1

1
Olulyo lwa Yesu
(Laba ne Luk 3:23-38)
1Luno lwe lulyo lwa Yesu Kristo, muzzukulu wa Dawudi, muzzukulu wa Aburahamu.
2Aburahamu yazaala Yisaaka, Yisaaka n'azaala Yakobo, Yakobo n'azaala Yuda ne baganda be, 3Yuda n'azaala Pereezi ne Zera mu Tamari; Pereezi n'azaala Hezirooni, Hezirooni n'azaala Raamu; 4Raamu n'azaala Amminadabu, Amminadabu n'azaala Naasoni, Naasoni n'azaala Salumooni; 5Salumooni n'azaala Bowaazi mu Rahabu, Bowaazi n'azaala Obedi mu Ruusi, Obedi n'azaala Yesse;
6Yesse n'azaala Dawudi Kabaka, Dawudi n'azaala Solomooni mu eyali muka Wuriya: 7Solomooni n'azaala Rehobowaamu, Rehobowaamu n'azaala Abiya, Abiya n'azaala Asa; 8Asa n'azaala Yehosafaati, Yehosafaati n'azaala Yoraamu, Yoraamu n'azaala Wuzziya; 9Wuzziya n'azaala Yotamu, Yotamu n'azaala Ahazi, Ahazi n'azaala Heezeekiya; 10Heezeekiya n'azaala Manasse, Manasse n'azaala Amoni, Amoni n'azaala Yosiya; 11Yosiya n'azaala Yekoniya ne baganda be, mu biseera abantu ba Yisirayeli mwe baawaŋŋangusirizibwa e Babilooni.#Laba ne 2 Bassek 24:14-15; 2 Byom 36:10; Yer 27:20
12Nga bamaze okuwaŋŋangusirizibwa e Babilooni, Yekoniya n'azaala Seyalutiyeli, Seyalutiyeli n'azaala Zerubabbeeli; 13Zerubabbeeli n'azaala Abiwuudi, Abiwuudi n'azaala Eliyakimu, Eliyakimu n'azaala Azori; 14Azori n'azaala Sadoki, Sadoki n'azaala Akimu, Akimu n'azaala Eliwuudi; 15Eliwuudi n'azaala Eleyazaari, Eleyazaari n'azaala Matani, Matani n'azaala Yakobo; 16Yakobo n'azaala Yosefu bba Mariya, Mariya eyazaala Yesu ayitibwa Kristo.
17Kale nno emirembe gyonna, okuva ku Aburahamu okutuuka ku Dawudi, emirembe kkumi n'ena; okuva ku Dawudi okutuuka ku kuwaŋŋangusirizibwa e Babilooni, emirembe kkumi n'ena; ate okuva ku kuwaŋŋangusirizibwa e Babilooni okutuuka ku Kristo, emirembe kkumi n'ena.
Okuzaalibwa kwa Yesu Kristo
(Laba ne Luk 2:1-7)
18Okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti: Mariya nnyina bwe yali ng'akyayogerezebwa Yosefu, nga tebannafumbiriganwa, n'alabika ng'ali lubuto ku bwa Mwoyo Mutuukirivu.#Laba ne Luk 1:27 19Awo Yosefu bba, kubanga yali muntu mulungi, n'atayagala kumuswaza, n'alowooza okumulekayo mu kyama. 20Yali akyalowooza ebyo, malayika wa Mukama n'amulabikira mu kirooto, n'amugamba nti: “Yosefu, muzzukulu wa Dawudi, leka kutya kutwala Mariya mukazi wo, kubanga ali lubuto ku bwa Mwoyo Mutuukirivu. 21Alizaala omwana wa bulenzi, n'omutuuma erinnya lye YESU; kubanga ye wunyo alirokola abantu be mu bibi byabwe.”#1:21 YESU: Erinnya eryo mu Lwebureeyi litegeeza nti: “Mukama ye Mulokozi,” oba “Mukama ye alokola.”#Laba ne Luk 1:31
22Ebyo byonna byabaawo, okutuukiriza Mukama kye yayogerera mu mulanzi nti: 23“Omuwala embeerera aliba olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi. Erinnya lye, balimuyita Emmanweli” (eritegeeza nti: “Katonda ali naffe”).#Laba ne Yis 7:14
24Yosefu bwe yazuukuka mu tulo, n'akola nga malayika bw'amulagidde: n'atwala mukazi we. 25Kyokka teyamumanya okutuusa lwe yamala okuzaala#1:25 okutuusa lwe yamala okuzaala …: Kino kigenderera kukakasa nti Yosefu si ye kitaawe yennyini ow'Omwana Yesu, wabula nga yali mukuza bukuza. omwana, Yosefu n'atuuma omwana oyo erinnya lye Yesu.#Laba ne Luk 2:21

Currently Selected:

MATAYO 1: LB03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy