Baali bamuyimbira oluyimba oluggya nti,
“Ggw’osaanidde okutoola omuzingo gw’ekitabo,
n’okusumulula ebigusibye n’okuguzingulula,
kubanga wattibwa,
omusaayi gwo ne gununula abantu ba Katonda okubaggya mu buli kika,
na buli lulimi, na buli ggwanga, na buli nsi.